Kyagulanyi yebazizza abantu b’e Kabale

Poliisi eremesezza emotoka za Kyagulanyi okuyingira e Kabale

Abebyokwerinda nga bakulembeddwamu Uganda Police Force ne UPDF bagaanyi Omukulembeze w’ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine okuyingira ekibuga Kabale. Bakozesezza emotoka ezikiriza omuliro okuziba oluguudo oluyingira ekibuga Kabale.

Poliisi e Kabale ekutte emotoka y’ebyuuma aba NUP gibataddeyo okukozesa

Ab’ebyokwerinda bakedde kukwata mmotoka ebaddeko ebyuuma Bannakibiina kya National Unity Platform nga bakulembeddwamu Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine byebabadde bagenda okwogererako era nga mu kiseera kino emmotoka eno etwaliddwa ku kitebe kya Uganda Police Force ekikulu e Kabale. Embeera ekyali ya bunkenke ng’enguudo zonna ezoolekera ekibuga ky’e Kabale zisaliddwako abebyokwerinda nga n’abantu ababadde batandise okwesomba […]

Minisita Muyingo alagidde baggalewo amatendekero agasomesa abasawo agatali ku mutindo

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’Ebyenjigiriza eby’amatendekero agawaggulu Dr. John Chrysestom Muyingo alagidde Ssaabawandiisi wa Minisitule y’Ebyenjigiriza n’emizannyo okuggala amatendekero gonna agasomesa obusawo nga gakolera wabweru w’amateeka kubanga gano gasudde omutindo gw’ebyenjigiriza. Muyingo bino abyogeredde ku woofiisi ya Ssaabaminisita mu Kampala bw’abadde afulumya ebyava mu bigezo by’Abasawo ebyakolebwa mu mwezi gw’omukaaga omwaka guno.

Gen. Kayihura awumuziddwa mu maggye

Eyaliko Omuduumizi wa Uganda Police Force, Gen. Edward Kale Kayihura olunaku olwaleero agenda kuwummula emirimu gy’eggye lya UPDF mu butongole wamu n’abajaasi abalala 10 bwebenkanya eddaala. Bano bawummuziddwa Pulezidenti w’eggwanga era omuduumizi w’amaggye ow’okuntikko Gen. Yoweri Kaguta Museveni wamu n’abajaasi abalala 99 abali ku madaaala aga waggulu. Gen. Kayihura olunaku lw’eggulo Kkooti y’amaggye yalangiridde nga […]

Pulezidenti wa Cameroon akyuusizza mu baduumizi b’amaggye

Pulezidenti wa Cameroon Paul Biya 90, akoze enkyuukakyuuka mu baduumizi b’amaggye mu Ggwanga lye. Ono abadde mu buyinza okuva mu 1982 era nga ateeseteese mutabani we Franck Biya okuba nga amusikira. Biya yaliko Ssaabaminisita okuva mu 1975 – 1982.

Yintaneeti e Gabon bagizizzaako oluvannyuma lw’enaku 3

Yintaneeti eyagibwako okumala enaku 3 mu Ggwanga lya Gabon nga bagenda mu kalulu ka Pulezidenti eziddwako olwaleero oluvannyuma lw’ekibinja kya Bannamagye okulangirira nti bawambye Gavumenti era nebasazaamu ebyavudde mu kalulu ebyalaze nti Pulezidenti Ali Bongo Ondimba awangudde akalulu kano.

Kayihura agiddwako emisango egibadde gimuvunaanwa

Eyaliko omuduumizi wa Uganda Police Force Gen. Kale Kayihura Gauvmenti emuggyeeko emisango gyebadde emivunaana. Nga 24-August-2018, Kayihura yavunaanibwa emisango okuli okulemererwa okukuuma ebyokulwanyisa, okulemererwa okulondoola emirimu abasirikale be gyebaali bakola wamu n’okwenyigira mukuwamba abantu. Ono essaawa yonna awummuzibwa okuva mu ggye lya UPDF mu butongole.

Ab’e Mpologoma batabukidde ayagala okubabbako ettaka

Bazzukulu ba Namuguzi abeddira Mpologoma olunaku lweggulo bakedde kusimba lusuku ku ttaka ly’ekiggwa ky’Ekika eriweza square mile 1 ku butaka e Lwadda, Matugga mu Disitulikiti y’e Wakiso nga lino lyasendebwa omuntu atategeerekeka nga tebategezeddwa. Bano basabye Buganda Land Board okubawa ekyapa kyabwe basobole okubeera nobwannanyini obwenkomeredde.

Abasirikale e Gabon balangiridde nga bwebawambye obuyinza

Abamaggye 12 mu Ggwanga lya Gabon bagenze ku TV y’eggwanga nebalangirira nga bwebawambye obuyinza. Bano bategezezza nga bwebasazizzaamu ebyavudde mu kulonda Pulezidenti Ali Bongo Ondimba mweyalangiriddwa ng’omuwagunzi. Akakiiko k’ebyokulonda kategeezezza nti Bongo yabadde awangudde ebitundu 2 bya kusatu mu kalulu ab’oludda oluvugabya kebagambye nti kafumbekeddemu emivuyo. Okuwamba obuyinza kwandikomya obukulembeze obw’emyaka 53 nga famire ye […]