UNESCO eyagala amasiro gazzibwe ku lukalala lw’ebifo ebyobulambuzi
UNESCO evueddeyo newagira ekiteeso ekyokuggya Amasiro g’e Kasubi ku lukalala lw’ebifo ebyolekedde okusaanawo oluvannyuma lw’okuddamu okugazimba. Kino kizze oluvannyuma lw’Abakungu okuva mu UNESCO okulambula Amasiro gano mu June wa 2023 nebakikakasa nti buli kimu kikoleddwa bulungi kati ekisigadde ke Kakiiko ka World Heritage Committee akagenda okutuula e Riyadh mu Saudi Arabia okukakasa kino.
Bobi Wine ayuguumizza Fort Portal
Abantu beyiye ku nguudo mu Kibuga Fort Portal okwaniriza Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine enkya yaleero. Abantu bawuliddwako ku nguudo nga bayimba ‘People Power’. Kyagulanyi ali mu kitundu okuggulawo offiisi za NUP mu kitundu kino wamu n’okwogera okukunga obuwagizi bw’ekibiina. Wabula Uganda Police Force eyiye basajja baayo abawanbu […]
Akamyuufu ka NRM e Hoima kazzeemu ebbugumu
Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu National Resistance Movement – NRM Dr. Tanga Odoi avuddeyo nakakasa nti enteekateeka z’okulonda anaakwatira ekibiina bendera mu kalulu kokujjuza ekifo kya Ssentebe wa Disitulikiti ya Hoima eyafiira mu kabenje mu mwezi gw’okusatu 2023 bweziwedde. Tanga agambye nti abantu abawerera ddala 6 bebamaze okwewandiisa okuvuganya era asuubizza akalulu ak’amazima n’obwenkanya akatalabibwangako.
Akakiiko ka Palamenti kaagala Muky. Geraldine Ssali agobwe
Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byobusuubuzi olunaku olwaleero kasabye Omuwandiisi weggwanika ly’ensimbi, Ramathan Ggoobi agobe omuwandiisi Omukulu mu Minisitule y’Ebyobusuubuzi Geraldine Ssali, ku bigambibwa nti yadumuula ebisale byokudaabiriza ekizimbe kya Offiisi za Minisitule y’ebyobusuubuzi ku Farmers’ House okutuukira ddala ku buwumbi 2. Akakiiko kakizudde nti ono yakyuusa embalirira eyakolebwa mu kkontulakiti okugiggywa ku buwumbi 4.664 […]
Akakiiko ka Palamenti kaagala Transport Officer wa Minisitule yebyobusuubuzi akwatibwe
Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byobusuubuzi nekasaba abobuyinza okukwata era bavunaane akulira eby’entambula mu Minisitule y’ebyobusuubuzi Daniel Kalule lwakutondawo kkaadi z’amafuta ezempewo ekyaviirako eggwanga okufiirwa ensimbi obukadde 362,316,812. Kigambibwa nti Kalule yali yalaga nti amafuta gano gakozesebwa abakungu 3 mu Minisitule eno wabula nga bano bavaayo nebegaana nti ne kkaadi ezogerwako tebazirabangako.
Abawagizi ba NUP 11 tebaleeteddwa mu Kkooti
Emiranga okuva mu b’eŋŋanda z’abasibe Bannakibiina kya National Unity Platform 11 abavunaanibwa ogw’obutujju gibuutikidde kkooti ye Nabweru oluvannyuma lw’abantu baabwe obutaleetebwa mu kkooti olwaleero nga bwekibadde kisuuburwa. Munnamateeka waabwe Shamim Malende ategeezezza nti ebiragiro by’olunaku abasibe lwe banakomezebwawo abifunidde. Omusango guno gwongezeddwayo okutuuka nga 12 omwezi oguggya.
Pulezidenti Museveni yebazizza Janet olwokumukuliza abaana
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Maama Janet Kataaha Museveni nange twajaguza emyaka 50 mu bufumbo olunaku lweggulo mu Disitulikiti y’e Ntungamo. Nagambye ababaddewo nti oluvannyuma lwokuyita mu biseera bya ddukaduka, nakiriza nti bwokola emirimu gya Katonda, Katonda akukolera egigyo. Maama yannayamba okukola famire, era mwebaze olw’ebyo byonna byankoledde. Mwebaza okukuza abaana nga siriiwo. Yakikola nga siriiwo […]
Bbaasi ya Global egudde e Kyekurura
Akabenje kagudde ku luguudo lwa Kampala – Mbarara, Bbaasi ya kkampuni ya Global nnamba UBB 985M bwegudde Ddereeva bwemulemeredde olw’enkuba ebadde etonnya ng’oluguudo luseerera. Akabenje kagudde Kyekurura nga wakava e Kinoni mu Disitulikiti y’e Lwengo. Omuntu omu yalumiziddwa ennyo mu kabenje kano n’abalala nebabuukawo n’ebisago ebitonotono.
Kabaka tamanyi ku by’Abataka kugenda wa Museveni – Katikkiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga avuddeyo nategeeza Olukiiko lwa Buganda nga bw’atalina ky’amanyi ku Bataka abaasisinkanye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga ne Ssaabasajja yennyini omukulu w’Abataka talina kyakimanyiiko. Ono agamba okukulaakulanya abantu kirungi naye kirina kuyita mu mitendera n’asaba Pulezidenti nti bwaba alina obuyambi bw’ayagala okuwa Abataka ayite ewa Ssaabataka, Ssaabasajja Kabaka.