Abataka mwatuweebudde nnyo – Owek. Henry Mubiru
Omukiise wa Ssuubi lya Buganda mu lukiiko lwa Buganda, Owek. Henry Mubiru Kasakya avumiridde abataka b’Ebika abagambibwa okuba nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yabagulidde ettaka oluvannyuma lw’okumusisinkana n’aluŋŋamya nti kino bakikola mu bukyamu. Ono agamba nti Abataka ssiga ddene nnyo mu Bwakabaka era alyawulamu abeera anafuya Buganda n’asaba olukiiko okuyingira mu nsonga eno bataase ebinaddirira.
Olukiiko lwa Buganda lutudde omulundi ogusoose
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Olwa leero Olukiiko lwa Buganda lutudde omulundi ogusoose mu lutuula luno olwa 31. Essira tulitadde ku kwogera kwa Ssaabasajja Kabaka bwe yali aggulawo Olukiiko luno wiiki ewedde. Olukiiko lusabye Bajjajja Abataka abakulu ab’obusolya okufuna okulambikibwa okuva ewa Ssaabasajja nga tebanabaako nsonga zonna zaakwekulaakulanya ze beenyigiramu wamu n’okulaba nga Ssaabataka abalung’amya ku […]
NUP amaanyi gaayo gali mu Buganda – Kiwanda
Hon. Godfrey Kiwanda; “National Unity Platform kibiina kya Kitundu (Buganda). Bagenda e Bugwanjuba gyebatalina yadde Omubaka yadde omu. Mu Buvanjuba balinayo 3 oba 5. Amaanyi gaabwe Gali wano mu Massekkati.” Wabula mu lukungaana lw’ekibiina olusoose mu Kibuga Mbarara lwetabiddwamu abantu bangi ddala.
Pulezidenti Museveni asonyiye abasibe 200
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asonyiye abasibe 200 nga mubano mwemuli Jimmy Rwamafwa, ngono yali muwandiisi omukulu mu Public Service eyasingisibwa omusango gwokuwuwutanya ensimbi. Rwamafa yakwatibwa mu August 2015 lwakubulankanya ensimbi eziri eyo mu buwumbi 88 zeyali agamba nti yaziwaayo mu kittavvu ky’abakozi ekya NSSF Uganda nga zino zaali z’Abakozi ba Gavumenti beyali amanyi omulungi bano […]
Kyagulanyi njakufa naawe osaaga – Hon. Nsereko
Omubaka Muhammad Nsereko avuddeyo nayanukula Omukulembeze wa National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine eyavuddeyo namunenya nga agamba nti yakoze bubi okwanika embeera ya Hon. Ssegiriinya Muhammad atuuke nokutandika okumusondera ensimbi so nga Omubaka alina yinsuwa y’obulamu emuweebwa Palamenti wabula nga yabuuka mitendera obutagifunirawo mu budde.
NEMA ekoze ekikwekweto e Kajjansi
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi ekya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda kyakoze ekikwekweto e Kajjansi ku Flyover aba Takisi webabadde bayiye ettaka mu mwala nebakolawo ppaaka. NEMA egamba nti bano egenda kubaggulako omusango bavunaanibwe.
Engeye ewangudde engabo yokubaka
E Wankulukuku, Emmamba Nnamakaka ekubye Enkima mu kubaka ku goolo 42 ku 35, n’ekwata ekyokusatu. Omutima Omusagi gukubye Enseenene, n’egukwata ekyokusatu mu gw’abaami, so nga Engeye ewangudde engabo y’Okubaka bw’ekubye Ennyonyi Ennyange 37 ku 36.
Bobi Wine ne Mikie Wine balabiseeko e Wankulukuku
Bazzukulu ba Kayiira, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine wamu ne muto we Michael Mukwaya MIKIE WINE mu kisaawe e Wankulukuku okuwagira ekika kyabwe mu mpaka ez’akamalirizo ez’Ebika by’Abaganda. #BikaFinal2023
Ssaabasajja asiimye nalamusa ku Bobi Wine
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nalamusa ku Mukulembeze wa National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine.