Sipiika agaanyi Ababaka okwogerera Bbanka y’Ensi yonna ebisongovu
Omumyuka wa Siipika, Thomas Tayebwa avuddeyo nagaana Ababaka okuddamu okubaako kyeboogera ku nsonga za Bbanka y’Ensi yonna okuteeka envumbo ku Uganda. Ono agamba nti Gavumenti eri mu nteeseganya ne Bbanka eno nga ebimu ku bigambo Ababaka bye bakozesa biyinza okwongera okusajjula embeera. Sipiika asinzidde ku bigambo Ababaka byebabadde boogera naddala eby’omubaka wa Munisipaali ya Bugiri, […]
Bbaasi ebadde etambuze abayizi eyabise omupiira nekwata omuliro
Abayizi 70 ssaako abasomesa 13 ab’essomero lya Pallisa Girls Primary School basimattuse okufa, bbaasi mwebabadde batambulira bweyabise omupiira nekwata omuliro okukkakana nga yonna eweddewo. Byabaddewo akawungeezi k’eggulo ku lutindo lw’e Atooti mu Disitulikiti y’e Ngora.
Poliisi ekutte abagoba ababadde bavuga endiima ku Entebe Express way
Ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka kitandise ekikwekweto kya Fika-Salaama ku nguudo ezenjawulo nga batandikidde ku luguudo lwa Entebe Express Way. Waliwo omugoba akwatiddwa kkamera ngavuga supiidi 120 so nga ku luguudo luno supiidi ekirizibwa eri 100. Ono akubiddwa lisiiti ya mitwalo 20. #FikaSalaamaXtra
Aboluganda lwa Ssegiriinya muleete ebiwandiiko by’eddwaliro – Sipiika Tayebwa
Omumyuuka wa Sipiika Rt. Hon. Thomas Tayebwa avuddeyo nasaba ab’Oluganda lw’Omubaka wa Kawempe North Hon. Ssegiriinya Muhammad okutwala ku Palamenti ebiwandiiko bye ebyeddwaliro biweebwe Uganda Medical Board okulaba nti bamukiriza okufuna obujanjabi ebweru w’Eggwanga. #PlenaryUg
Kituufu omubaka Ssegiriinya teyagoberera mitendera – Hon. Mpuuga
Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza Palamenti nti Kkampuni za yinsuwa ezimu ezafunibwa Palamenti okubawa obuweereza bwa yinsuwa y’ebyobulamu eri Ababaka nti zibawa byoya byanswa nga zibawa Panadol yekka so nga ziweebwa ssente mpitirivu. Okwogera bino abadde ayanukula omumyuuka wa Sipiika Rt. Hon. Thomas Tayebwa ku nsonga z’Omubaka wa Kawempe North […]
Kkooti eyongezzaayo okuwulira emisango egivunaanibwa Minisita Lugoloobi
Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi mu Kampala eyongezzaayo okuwulira omusango oguvunaanibwa Minisita Amos Lugoloobi olw’Omulamuzi aguli mu mitambo, Margret Tibulya obutalabikako. Amos Lugoloobi avunaanibwa omusango gw’okubba amabaati agaali gaweereddwa abawejjere be Karamoja nagaseresa ebiyumba by’embuzi ku ffaamu ye.
Kkampuni za yinsuwa Ababaka zibawa panadol – LOP Mathias Mpuuga
Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga avuddeyo nategeeza Palamenti nti Kkampuni za yinsuwa ezimu ezafunibwa Palamenti okubawa obuweereza bwa yinsuwa y’ebyobulamu eri Ababaka nti zibawa byoya byanswa nga zibawa Panadol yekka so nga ziweebwa ssente mpitirivu. Okwogera bino abadde ayanukula omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa ku nsonga z’Omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegiriinya gwebanenya […]
Kkampuni ya Russia tetugiwanga ku lukusa kukozesa kkamera za Poliisi – Minisita Otafiire
Minisita Kahinda Otafiire avuddeyo neyegaana ebigambibwa nti yakiriza kkampuniy ya Russia Joint Stock Company Global Security eyaweebwa eddimu lyokukola nnamba z’ebidduka eza digito okukozesa kkamera za Uganda Police Force enkettabikolwa oluvannyuma lw’Ababaka okwoleka obweralikirivu bwabwe nti Kkampuni eno yandiba ngeyingira mu byokwerinda by’eggwanga nga terina lukusa. Otafiire ategeezezza nti talina kyamanyi ku Kkampuni eno nti […]
Ebbaluwa gyenawandiikira Pulezidenti bagikweka – Maj. Gen. Otafiire
Minisita avunaanyizibwa ku Nsonga z’omunda mu Ggwanga Maj. Gen. Kahinda Otafiire nategeeza Palamenti nti ebbaluwa gyewandiikira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga muwabula ku Kkampuni yaba Russia eyaweebwa eddimu lyokukola nnamba z’ebidduka eza digito bweyakwekebwa abantu abamu nti era tasuubira nti yatuusibwa ewa Pulezidenti kuba nokutuusa kati tafunanga kuddibwamu kuva wa Pulezidenti.