Gavumenti eyisizza etteeka okusolooza omusolo ku social media

Pulezidenti Museveni atadde omukono ku mabago 9

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yatadde omukono ku mabago g’amateeka 9 okuli okugafuula amateeka nga kuliko nerya Islamic Banking gano kuliko; The Stamp Duty (Amendment) Act 2023, Value Added Tax (Amendment) No.2 Act 2023, Excise Duty Amendment (No.2) Act 2023, The Financial Institutions (Amendment) Act 2023, Tax Procedures Amendment Act 2023 & Income Tax (Amendment) No.2 […]

Abavubuka ba NUP basiimye Bobi Wine

Abavubuka Bannakibiina kya NUP okuva mu NUP/ People Power Youth Wing Buganda Region olunaku lw’eggulo bakyaddeko mu maka g’Omukulembeze wa NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine nebamwebaza okulaga ensi okunyigirizibwa Bannayuganda kwebayitamu ngayita mu documentary “The people’s President “.

Greenwood agenda kwabulira Manchester United

Kkiraabu ya Manchester United evuddeyo netegeeza nga omusambi Mason Greenwood bwagenda okwabulira kkiraabu eno oluvannyuma kwokutuuka kunzikiriziganya. Man U egamba nti oluvannyuma lwokukola okunoonyereza bakizudde nti ebyo ebyateekebwa ku mutimbagano tebyoleka bulungi kyaliwo wabula yadde ngebyo biri bityo Mason asanze akaseera akazibu okuddamu okusamba omupiira ku Old Trafford.

Poliisi e Yumbe ekyalemedde ebintu bayffe – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo; “Uganda Police Force e Yumbe ekyalemebedde ebintu bya NUP byeyawamba nga 14-August-2023 okuva mu bakunzi b’ekibiina bwebaali bakola emirimu gyabwe mu Disitulikiti. Bino mulimu kkaadi z’ekibiina, register ya bammemba, Reflector jackets zabavuzi ba piki piki ne T-shirts. Wadde nga tewali […]

Ssaabasajja atuguliddewo Olukiiko lwa Buganda – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atugguliddewo Olukiiko lwa Buganda, olutuula olwa 31, n’atukubiriza okwettanira obulimi, tubusomesa n’abaana okutuuka ku mutendera ogwa siniya. Ccuucu, era atulambise okussa essira ku misango egyekuusa ku ttaka, okulaba nga giwulirwa, n’okusalwa, okutaasa abagobwa ku ttaka. Atulambise tuweereze n’obumalirivu, obutaliimu nkwe, twagazise abavubuka obuweereza bw’Obwakabaka.”

Ssaabasajja akubirizza Abaami abaggya okubeera ekyokulabirako

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akulisizza Abaami abaweereddwa obuvunaanyizibwa obutali bumu era neyeebaza abaami abawummudde olw’ettofaali lyebatadde ku kuzimba Buganda. “Twagala abavubuka okwegomba obuweereza bwammwe, okulagira ddala nti tusobola okuweereza obulungi nga tugoberera amateeka n’ennono.” #olukiiko31

Abantu abasengulwa ku ttaka balina okufuna obwenkanya mu bwangu – Kabaka

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II: “Tukyawulira abantu baffe abasengulwa ku ttaka mu bitundu ebitali bimu. Bwebagenda mu mbuga z’amateeka, kitwala ebbanga ddene okuwulira emisango egikwata ku ttaka n’olwekyo tusaba nti abo abalamula emisango bawulirize emisango egyo mu bwangu.” #olukiiko31

Ssaabasajja Kabaka aguddewo Olukiiko lwa Buganda olwa 31

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agguddewo Olukiiko Olwa 31 olwa Buganda. Bino wammanga byebimu kyabyayogedde; “Tuyozaayoza abaami abalondeddwa. Tubaagaliza obuweereza obulungi, obujjudde Obumalirivu obutaliimu nkwe. Abavubuka balina okwegomba enkola zammwe. Nga bagoberera amateeka awamu n’ennono. Tusaba Abantu baffe okwetegereza enkola z’Abaami okubatwala nga ekyokulabirako okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Wadde waliwo okusomooza mu by’obulimi n’okugwa kw’ebbeeyi […]

Teri musawo asooka kubuuza mulwadde oba alya ebisiyaga – Hon. Asuman

Omubaka Asuman Basalirwa avuddeyo nawakanya ekyayogeddwa World Bank nti abali b’ebisiyaga bajja kusosolebwa mu kuweebwa obujanjabi olwenkyo kyebakiririzaamu. Basalirwa agamba nti teriiyo musawo mu Uganda asooka kubuuza mulwadde oba muli wa bisiyaga okumuwa obujanjabi nagamba nti kino kyakuwudiisa kwagala kuteekawo mbeera etaliiwo.