Abatuuze e Nabbaale bavudde mu mbeera nebagoba abeyita bannanyini ttaka kwebali
Olukiiko olwabadde luyitiddwa okwogera ku nsonga ze kibba ttaka mu Nakifuma Kalagi Town Council ne mu Nabbaale Town Council mu Disitulikiti y’e Mukono lwayabuse terunaggwa oluvannyuma lw’abatuuze okutabuka nebagoba abalutegese nga bagamba nti bano baabadde boogera kasasiro. Abatuuze bagamba nti ekibinja kino bakirabako ku byalo okuli; Lukyamu, Kito, ne Kijjo nga bino bisangibwa mu Nakifuma […]
World Bank ekole emirimu egyagitandikisaawo – Hon. Sarah Opendi
Omubaka Omukyala owa Disitulikiti y’e Tororo Sarah Opendi avuddeyo nasaba Bbanka y’Ensi yonna esigale ku byerina okukola nga okulwanyisa obwazu mu Nsi. Ono agamba nti Uganda siyakukiriza kutumbula bisiyaga ekikolimo ekimanyiddwa kyebatembeeya nga eddembe ly’obuntu. Bino abyogeredde mu lukuŋŋaana lwa Bannamawulire ku Palamenti bwabadde ayogera ku kyasalibwawo Bbanka y’Ensi ekyokukomya okuwa Uganda obuyambi olwokuyisa etteeka […]
Gavumenti tegeza neteesa ne World Bank – Hon. Nsaba Buturo
Omubaka akiikirira Bufumbira East Nsaba Buturo avuddeyo nawanjagira Gavumenit ya Uganda obutagezaako kuteesa na Bbanka y’Ensi yonna ku tteeka lya Anti-Homosexuality Act 2023, ono agamba nti singa Gavumenti enakiriza okuteesa kijja kuba kikakasa nti Abazungu bebalina okutusalirawo ku nsonga enkulu mu Uganda ne Afirika. Mu kiwandiiko kya Pulezidenti Museveni kyeyafulumya oluvannyuma lwa World Bank okulangirira […]
Omusajja aliko obulemu bamusiyagidde mu kivvulu kya MK Movement
Uganda Police Force mu Kibuga Soroti etandise okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo omuvubuka wa myaka 20 aliko obulemu nga ategerekeseeko lya Opolot eyaliriddwa ebisiyaga mu kiro ekyakeesezza olwaleero ku kisaawe mu Kibuga Soroti awabadde ekivvulu ekyategekeddwa aba MK Movement. Omwogezi wa Poliisi ow’ettundutundu lya Kyoga SP Ageca Oscar Gregg agamba nti Opolot yasangiddwa ku ssaawa […]
Abasomesa ba Nursery 78 ku 100 tebalina bisaanyizo – Dr. Kabugo
Dr. David Kabugo, Deputy Director, Institute of Teacher Education & Research- Makerere University ategeezezza Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byenjigiriza nti abasomesa 78 ku 100 aba Nursery tebalina bisaanyizo bitandikirwako kusomesa bayizi mu Uganda.
Sipiika teweyengiza mu nsonga za FDC – Nandala Mafabi
Ssaabawandiisi wa Forum for Democratic Change Nathan Nandala – Mafabi (Budairi West) avuddeyo nayanukula Sipiika wa Palamenti Anitah Among ku bbaluwa gyeyawandiisi nga ayimiriza okugobwa kwa Nampala w’Ababaka ba FDC mu Palamenti Ibrahim Ssemujju Naganda (Kira Municipality), ono amusabye alekeraawo okweyingiza mu nsonga za FDC ezomunda kuba kikontana n’obuwayiro bwa Political Parties and Organisations Act.
Abebisiyaga tebajja kututiisatiisa – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nategeeza okutiisibwatiisibwa okuva mu bibiina by’abasiyazi ne Bbanka y’Ensi yonna tekusaanye kutuyigula ttama kuba tebiyinza kuleetera Uganda kwegobako Bazungu bonna kuba mu bbo mulimu Ensi nnyingi eziwagira Uganda era ezigiwa ekitiibwa kwebyo byekkiririzaamu. Wabula agamba nazo zifuna okutiisibwatiisibwa okuva mu bantu beebamu, okwefanaanyirizaako n’ebiseera byabafuzi b’Amatwale. Bino abitadde mu bubaka […]
Kkampuni eyakwasibwa omulimu gwokukola nnamba za motoka teteekangawo yadde omusuumaali ogusiba ennamba
Ababaka abatuula ku Kakiiko ka Palamenti bawuniikiridde bwebakyaddeko ku bifo 2 awagambibwa okubeera kkampuni ya Global Security, eyaweebwa omulimu gwokukola digital number plates okulaba oba nga yateeka mu bibanda by’emotoka ebifo webateerako ennamba zino. Wabula Ababaka bano basanzeewo weema 2 zokka ezikola nga offiisi za Kkampuni mu bibanda by’emotoka enkadde.
Kitalo! Bbaaso ya Jaguar esse 4 e Kisozi
Kitalo! Ddereeva wa bbaasi ya Kkampuni ya Jaguar nga kigambibwa nti yasumagidde yafiiridde mu kabenje enkya yaleero oluavannyuma lwa bbaasi okuwaba neggwa e Kajubiri okuliraana ffaamu ya Pulezidenti Museveni e Kisozi. Kigambibwa nti bbaasi yevulungudde emirundi egiwera okukkana ngesse abasaabaze 3 ku luguudo lwa Mpigi-Kanoni-Sembabule.