Owa Poliisi eyasse muganzi we bamukwatidde Jinja
Omusirikale wa Uganda Police Force Police constable Adia Alex, nga mu kitongole kya CT tactical mu nkambi ye Naguru mu kiro ekikeesezza olwaleero akubye eyali mukyala we amasasi agamutiddewo bwamusanze n’omwagalwa we omuggya gwabadde yakafuna.Amasasi gano era gakwatiddemu omusirikale omulala abadde yebase mu nnyumba ye negamuttirawo.Bya Kamali James#ffemmwemmweffe
Poliisi erangiridde ekikwekweto ku booda booda abatambala Helment
Omwogezi w’Ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka SP Kananura Micheal avuddeyo nategeeza nga Poliisi okutandika n’olunaku olw’enkya bwegenda okuttukiza ebikwekweto byokukwata oyo yenna anasangibwa ngavuga piki piki wabula nga talina kikofiira ki katamu. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe
Ebya Bobi Young ne Achileo Kivumbi bijjuridde
Bannakibiina kya National Unity Platform okuli Achileo Kivumbi ne BOBI YOUNG baleeteddwa olwaleero mu Kkooti y’Amaggye okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa. Bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Shamim Malende ategeezezza nti Gavumenti esabye obudde kukusaba kwa Achileo okutuusa nga 15/10/2024 lwenavaayo okwanukula. Kwo okusaba kwa Bobi Young kwakuwulirwa nga 15/10/2024. #ffemmwemmweffe
Pulezidenti abantu bange abakadde babasobyako – Ssentebe Isabirye
Sentebbe wa w’akakiiko k’Abakadde mu Ggwanga Isabirye Charles aloopedde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ebizibu abantu be byebayitamu omuli nokubakaka akekinyi ssaako okubabbako ettaka lyabwe. Bino babitisse omumyuuka w’omukulembeze w’Eggwanga Rtd Maj. Jessica Alupo amukiikiridde e Masaka. #ffemmwemmweffe Bya Margaret Kayondo
Kitalo! Abaana 2 bafiiridde mu nkuba e Masaka
Kitalo! Abaana babiri bafiiridde mu nkuba etonnye ngenaggwa mu ggulu oluvannyuma lwokutwalibwa mukoka booda booda kwebabadde batambulira ne nyabwe bweremeredde omugabo nebagwa mu mazzi negabatwala. Ye Nnyabwe nowa booda booda basimatuse. Enjega eno yagudde Masaka olunaku lweggulo. Bya Maggie Kayondo #ffemmwemmweffe
Kitalo! Omukyala asangiddwa ku Northern Bypass nga atiddwa
Kitalo! Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police SSP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Uganda Police Force bwetandise okunoonyereza kuligambibwa okubeera ettemu eryakoleddwa ku Mukyala asangiddwa okuliraana ku ttaawo lya Agenda mu Kamuli A’ Zone, Kireka ward, Namugongo Division, mu Disitulikiti y’e Wakiso enkya yaleero. Omukyala atemera mu myaka nga 30 asangiddwa ngasuuliddwa ku kubo nga talina […]
Hon. Jolly Mugisha aziikibwa lwaleero
Bannabyabufuzi okuva mu bibiina ebyenjawulo okuli Allaince for National Transformation nga bakulembeddwamu Gen. Mugisha Muntu, Winnie Kiizza nabalala begasse ku Bannakibiina kya National Unity Platform abakulembeddwamu Pulezidenti w’Ekibiina Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, Dr. Lina Zedriga Waru, David Lewis Rubongoya kwossa n’Ababaka okuli Hon. Shamim Malende bebamu ku beetabye mukusabira omwoyo gw’omugenzi Hon. Jolly […]
Mukendeeze ku bayizi bemuwa amasomo g’obusawo – Minisita Kataaha
Mukyala w’Omukulembeze w’Eggwanga era Minisita avunaanyizibwa ku by’enjigiriza n’ebyemizannyo Janet Kataaha Museveni avuddeyo nalagira amatendekero naddala agalina amasomo gebyobusawo okusala ku muwendo gw’abayizi gwebayingiza ku masomo gano okusobola okukendeeza ku mujjuzo oguli mu malwaliro gyebagenda okutendekebwa. Minisita yategeezezza nti Gavumenti terina busobozi bwongera kugaziya ku malwaliro agaliwo kati oba okuzimba amalala abasawo bano abatendekebwa mwebanakolera. […]
Tujja kuba bajjega singa tetubaako nnongoosereza zituyise mu mateeka gabyakulonda – Mpuuga
Omubaka Mathais Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza nti kigenda kubeera kya bulabe nnyo era ekyoleko obujega obwekika ekyewaggulu singa Bannankyuukakyuuka banakola obulagajjavu nebagenda mu kalulu ka 2026 nga tewali nnongoosereza zebalwaniridde okulaba nti ziteekebwa mu Mateeka agaluŋŋamya ebyokulonda mu Ggwanga. Ono asabye Bannabyabufuzi ne Bannankyukyuka bonna okuvaayo bamuwagire mu kaweefube gwaliko okulaba nga waliwo ennongoosereza ezikolebwa […]