Kitalo! Bbaaso ya Jaguar esse 4 e Kisozi

Kitalo! Abantu 4 bafiiridde mu kabenje e Kassanda

Kitalo! Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde mu ttawuni y’e Myanzi mu Disitulikiti y’e Kassanda mu kiro ekikeesezza olwaleero ku luguudo lwa Mityana – Mubende. Abantu abalala 3 bbo babuuseewo nabisago oluvannyuma lw’emotoka ekika kya FUSO nnamba UAY 415C ebadde etisse amatooke ngebadde eva Mubende ngedda Kampala okulemererwa okusiba negwa neyefuula ku ssaawa mwenda ezookumakya. […]

Sipiika Among azimbye amaka amatiribona

Sipiika wa Palamenti Rt. Hon. Anitah Among olunaku olwaleero akyaazizza Ababaka ba Palamenti abasoba mu 200 ku mukolo gwokwebaza Katonda wamu nokuyingira amaka ge amaggya agasangibwa m u Disitulikiti y’e Bukedea.

Omubaka Ssegiriinya ajakuba bulungi – Rubongoya

Ssaabawandiisi w’ekibiina kya National Unity Platform – NUP, David Lewis Rubongoya avuddeyo nagumya Bannayuganda n’abalonzi ba Kawempe North ku mbeera y’obulamu bw’omubaka Ssegiriinya Muhammad aka Mr. Updates. Rubongoya agamba nti yayogeddeko ne Ssegiriinya n’amutegeeza nti akyalumizibwa naye ali mu mikono mituufu. Ono ajjanjabirwa mu ddwaliro lya UMC Hospital mu Amsterdam e Netherlands.

Ssaabasajja asiimye okulabikako eri Obuganda

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda ng’ennaku z’omwezi 26 omwezi guno bwanaaba aggalawo empaka z’omupiira ez’Ebika by’Abaganda ku kisaawe kya Muteesa II Memorial stadium e Wankulukuku. Obubaka buno bwanjuddwa Minisita w’Abavubuka, emizannyo n’ebitone, Owek. Robert Sserwanga wano ku Bulange e Mmengo

Poliisi ezudde amabaati agasoba mu 300 e Nkumba

Uganda Police Force Entebe ezinzeeko amaka mu Nkumba Bufulu Katabi Town Council oluvannyuma lwokuzuula amabaati agasoba mu 300 nga gakwekeddwa munda nga kirowoozobwa nti gano gegamu agabbibwa okuva mu Offiisi ya Ssaabaminisita agaali ag’abantu abayinike ab’e Karamoja. Gano gasangiddwa nga gasiigibwa langi emyuufu okugezaako okugakyuusa era nga kati Poliisi etandise omuyiggo gwa nnanyini maka gano […]

Eyali ED wa NSSF addukidde mu Kkooti

Eyali Managing Director w’ekittavvu ky’abakozi ekya NSSF Uganda Richard Byarugaba addukidde mu Kkooti Enkulu ngawakanya ekyasaliddwawo obutazza buggya ndagaano ye. Ono ayagala Kkooti ewalirize Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ekikula ky’abantu, abakozi n’embeera z’abantu Betty Amongi okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe amuzze ku mulimu nga olukiiko lwa bboodi bwerwawabula. Ono ayagala Kkooti eyimirize n’okunoonya anajjuza ekifo kye.

Omwana akubye munne ekikonde ekimutiddewo

Kitalo! Alimo Mazalawo 13, akubye mwana munne, Rashid Kawawa naye ow’emyaka 13 ekikonde ekimutiddewo oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya. Bino bibadde ku kyalo Biyaya mu Disitulikiti y’e Adjumani ng’okusinziira ku mwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga agamba nti abaana bano baafunyeemu obutakkaanya ekyaddiridde Mazalawo kutujja munne kikonde ekyamusse era essaawa eno akuumirwa mu kadduukulu ka poliisi […]

Gwebanakwata ne fire works nga talina lukusa wakusibwa mayisa

Gavumenti evuddeyo nesaba Palamenti okuyisa ekiteeso ku muntu asangibwa nga akola, atunda oba atambuza fireworks n’ebintu ebirala ebitulika (explosives) nga talina lukusa kukikola okuwa engasi ya buwumbi 10 oba okusibwa obulamu bwe bwonna nga kino kisinga ekibonerezo ekibaddewo ekyokuwa engasi ya 2000/= oba okusibwa emyezi 6 nga kino kiri mu tteeka ly’Abafuzi b’Amatwale ery’emyaka 87 […]

Agambibwa okubulankyanya ez’abalimi agamba bakyabanja Gavumenti

Akakiko ka Palamenti alondoola emirimu gy’ebitongole bya Gavumenti aka COSASE kakwasizza Munnamateeka Patrick Kiconco Katabaazi eri Uganda Police Force ku Palamenti kubigambibwa nti yabulankanya obuwumbi 39 nga zino zamuweebwa ekitongole kya NAADS okusasula abalimi b’amajjaani. Abalimi balumiriza Pathway Advocates obutabasasula ssente zaabwe zonna nga Kiconco bwalaga mu biwandiiko by’embalirira gyeyawa NAADS. Wabula Munnamateeka Kiconco yasabye […]