Gavumenti eyagala kukomyaawo SGS
Gavumenti evuddeyo netegeeza nga bwetandise okukola enteekateeka z’okukomyawo Kkampuni ya SGS (Société Générale de Surveillance) okuva e Switzerland eddemu okwekebejja emmotoka ku nguudo okusobola okukendeeza ku bubenje obususse ku nguudo ensangi zino. Kino kiddiridde ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka okufulumya alipoota ku ntandikwa ya wiiki eno ng’eraga nga abantu abasoba mu 60 […]
Waliwo waragi agenda okuwerebwa mu Ggwanga
Abawoomerwa enkangaali boolekedde okusubwa ebimu ku byokunywa ebibawoomera oluvannyuma lw’ekibiina ekitaba abayiisa Waragi mu Ggwanga ekya Uganda Alcohol Industry Association okuvaayo nekirabula nga bw’ekigenda okuwera ebika bya waragi ebimu lwabutatuukana namutindo. Okusinziira ku Juliana Kaggwa amyuuka omwogezi w’ekibiina kino abayiisa waragi abamu balimbalimba abantu n’omuwendo gw’enguuli oguli mu ccupa nga balaga nga bweguli omutono kyokka […]
Ababaka ba FDC basimbidde ekkuuli ekiragiro kya Nandala
Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo nawakanya ekyokuwumuza Omubaka Munnakibiina kya Forum for Democratic Change akiikirira Kira Municipality Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda ku kifo kya Nampala w’Ababaka Bannakibiina kya FDC mu Palamenti oluvannyuma lw’abamu ku Babaka banne okuvaayo nebekubira enduulu eri Palamenti nga bawakanya ekyuukakyuuka ezakoleddwa Ssaabawandiisi Nandala Mafabi gwebagamba nti teyasoose kwebuuza ku National […]
Omulamuzi wa Kkooti ye Nabweru agobye okusaba kwa Bannakibiina kya NUP
Omulamuzi Omukulu owa Kkooti Ento e Nabweru, Esther Namusobya agobye okusaba kwa Bannakibiina kya NUP 11 abakwatibwa ku misango egyekuusa ku butujju nga baagala omusango gwabwe gugibwe mu Kkooti eno gutwalibwe mu Kkooti etaputa Ssemateeka ennyonyola ekyaviirako Kkooti y’e Nabweru okutandika okubawozesa so nga okunoonyereza ku musango ogubavunaanibwa kwali tekunaggwa. Omulamuzi Namusobya ategeezezza nti bano […]
Nandala leeta obujulizi obulaga nti mwatuula okugoba Ssemujju – Sipiika Among
Sipiika wa Palamenti Anita Among avuddeyo nasaba Ssaabawandiisi wa Forum for Democratic Change Nathan Nandala – Mafabi okuleeta obujulizi obulaga nti yatuula n’Ababaka ba FDC mu Lukiiko nebatuuka kuzinkiriziganya okugoba Nampala waabwe mu Palamenti Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda era ayongedde nasaba abakulembeze b’ekibiina kya FDC okugonjoola ensonga ezaleeteddwa mu kwemulugunya kw’Ababaka nti singa banalemererwa kijja […]
Munnamateeka Kiconco ayitiddwa annyonyole ku buwumbi 39
Ababaka abatuula ku Kakiiko ka COSASE mu Palamenti olunaku olwaleero bayise Munnamateeka Patrick Kiconco agambibwa okuba nti yaweebwa obuwumbi 39 ekitongole kya NAADS okuzisasula abalimi. Kigambibwa nti Kiconco yaweebwa ensimbi obuwumbi 39 nga yita mu Pathway Advocates nga yali wakuzisasula balimi bamajaani abaali batudde NAADS mu Kkooti oluvannyuma lwokugaana okugula endokwa zaabwe so nga baalina […]
Sipiika wa Palamenti yenyigidde mu kufumba emmere e Bukedea
Sipiika wa Palamenti Rt. Hon. Anitah Annet Among yenyigidde mu kuteekateeka emmere egenda okugabulwa eri abalonzi be mu Disitulikiti y’e Bukedea. Sipiika yategese omukolo kweyayise abalonzi mu kitundu kyakiikira wamu n’abakulembeze ku Disitulikiti okujja okumwegattako nga yebaza Katonda olw’ebirungi byamutuusizaako.
Ab’ebijambiya balumbye ebyalo okuli Ntebettebe e Bweyogerere ne Mbalwa mu Namugongo
Ab’ebijambiya balumbye ebyalo okuli Ntebettebe e Bweyogerere ne Mbalwa mu Namugongo nebatemaatema abantu babiri okuli; Josephine Mirembe ne Sharon Mugala omukozi mu Leisure Park esangibwa e Mbalwa. Bano baddusiddwa mu Ddwalito lya Ggwatiro okusobola okufuna obujjanjabi era okusinziira ku Mirembe abazigu bano babalumbye ku ssaawa ttaano ez’ekiro nga bakutte ebijambiya nebayingira mu nnyumba nebatandika okubasaba […]
Mubadde mwagala nkuumwe ani? – Alien Skin
#WOLOKOSO: AlienskinUg avuddeyo ku mukuumi we; “Ebifaananyi bya kanyama wange Julio, ebifaananyi bino bibaddewo era webiri. Mbu Kati bwoba wetaaga obukuumi olina kubufuna mu nsiko, mbadde nga mbagamba nti nina obukuumi obwamaanyi nga muwoza nti ntambula na babbi.”