Arinaitwe Bwana avunaaniddwa gwakusobya ku mukozi wa waka
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nateegeza nga ekitongole kya SGBV/TIP ku kitebe kya bambega nga kikole wamu ne Poliisi y’ettundutundu lya Kampala Metropolitan Police South, olunaku olwaleero bwebagudde omusango ku D/SP Arinaitwe Gilbert Bwana, ngakola mu kitongole ky’ebyokwerinda ekya Crime Intelligence emisango gyokukukusa abantu n’ekigendererwa ekyokwegatta nabo ku buwaze. Ono asimbiddwa […]
Buganda ezimbye amalwaliro g’Obwakabaka
Okutumbula eby’obulamu; Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, Oweek. Joseph Kawuki alambudde omulimu gw’okuzimba amalwaliro g’Obwakabaka, aga Ssekabaka Muteesa II Health Centre, agazimbibwa mu Masaza okuli, Ssingo, Buddu, ne Kyaggwe.
Abalamuzi abaggya balayiziddwa
Okulayiza Abalamuzi ssaako n’abawandiisi ba Kkooti y’eddaala erisooka mu Ggwanga gugenda maaso ku kitebe ky’Essiga eddamuzi mu Kampala nga gukulembeddwamu Ssaabalamuzi, Alphonse Owiny-Dollo. Abalamuzi 86, ab’amyuka ba bawandiisi ba kkooti 5 n’omuwandiisi omujjuvu 1 bebagenda okulayira olwaleero.
Embalirira tugenda kuddamu okugitunulamu – Minisita Musasizi
Omubeezi wa Minisita ow’ebyensimbi, Henry Musasizi ategeezezza Palamenti olunaku olwaleero nga Gavumemti bwegenda okuddamu okwekeneeya embalirira y’Eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2023/24 eyayisibwa oluvannyuma lwa Bbanka y’Ensi yonna okuyimiriza okuwoola Uganda ssente nga bagivunaana okuyisa etteeka eriwera omukwano ogw’ebikukujju era ono abasabye okwetegekera enkyukakyuka enzito.
Uganda ejja kukulaakulana yadde nga tebagiwoze – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Kyanaku nnyo nti Bbanka y’Ensi yonna wamu nebanywanyi baayo batunyigiriza nga baagala tukyuuse enzikiriza yaffe, obuwangwa nenono n’ekitiibwa nga bakozesa ssente. Banyooma nnyo Abafirika. Njagala okutegeeza buli omu nga ntandikira ku Bannayuganda, nti Uganda yakukulaakulana nga yewola oba teyewola.”
Gilbert Arinaitwe Bwana asindikiddwa e Luzira
D/SP Gilbert Arinaitwe Bwana 43, olunaku olwaleero asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road navunaanibwa emisango okuli okukukusa abantu era nasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 18-8-2023 lwanadda Kkooti ewulire okusaba kwe okwokweyimirirwa. Arinaitwe ajjukirwa nnyo lweyayasa endabirwamu y’emotoka ya Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Rtd. Col. Dr Kizza […]
Besigye yalemererwa okulaga obukakafu nti ssente zaava mu State House – Dr. Nabwiso
Dr. Frank Nabwiso avuddeyo nanenya Ssaabawandiisi wa Forum for Democratic Change Nathan Nandala – Mafabi okutwala ssente z’ekibiina naaziteresa Kizza Besigye ng’alinga agamba nti omuwanika w’ekibiina taliiwo kyavumiridde nti kyali kikyamu. Nabwiso ayongerako nti; “Dr. Kizza Besigye yalemererwa okutulaga obukakafu okutumatiza nti ddala ssente zaava mu State House. Kituufu Hon. Patrick Oboi Amuriat yakiriza nti […]
Nga lwaki musima ebyobugagga byaffe mu bitwale ebweru – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Waliwo Kkampuni y’Abazungu eyajja nentegeeza nti eyagala kuyikuula uranium. ‘Nembabuuza; kumuyikuula mumutwale wa?’ nebagamba nti baali bamutwala bweru kukolamu maani ga nuclear bakolemu amasanyalaze n’eddagala. Nembabuuza: ‘Mulina olugambo lwonna lwemuwuliddeko nti waliwo lwonna nti wano mu Uganda waliwo abantu abetaaga amasanyalaze? Siddangamu kubawuliza.”
Emmundu ezaagwa mu maazi zinyuluddwa
Balubbira ba Uganda Police Force bazudde emmundu zaabwe ebbiri ezaagwa mu nnyanja Nnalubaale gyebuvuddeko bwebaali ku muyiggo gw’emirambo gy’abantu abali mu 20 elyato beryayiwa mu nnyanja eno.