Nandala ne Amuriat be bakulembeze ba FDC balina obuyinza okukola kyebaagala – Kikonyogo
Omumyuka w’omwogezi wa Forum for Democratic Change – FDC, John Kikonyogo agamba nti bo baatandika ekibiina nga bakyagala era beetegefu okukikuuma . Ono ategeezezza nti bo eby’ebiwayi tebabimanyi era buli muntu ayanirizibwa ku kitebe. Ono ayongeddeko nti oba oyagala Nathan Nandala – Mafabi ne Patrick Oboi Amuriat oba tobaagala, bebakulembera FDC era balina obuyinza okukola […]
World Bank eyimirizza okuwola Uganda ssente
Bbanka y’Ensi yonna World Bank eyimirizza okuwola Uganda ensimbi oluvannyuma lw’okuyisa etteeka eriwera omukwano ogwokuvuga empanka. Bino webigidde nga Minisitule y’Ebyensimbi yakayisa embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 ng’eno etundutundu erisinga obunene lisuubirwa kwewolwa mu Bbanka eno.
Kkooti yamaggye egaanye aba NUP okuyingira
Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga Kkooti y’amaggye bweyefuulidde mu kiti ng’embazzi nebagaana okuyingira mu Kkooti mu nga Bannakibiina kya NUP 32 bakomezeddwawo olwaleero. Rubongoya agamba nti bawaliriziddwa okutuula ebweru w’e Kkooti nga ne Bannamawulire tebakiriziddwa kuyingira mu Kkooti munda. Bano bamaze mu nkomyo kumpi kati emyaka 3.
Ssemujju asekeredde Nandala ne Amuriat
Omubaka wa Kira Municipality, Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda asekeredde Pulezidenti wa FDC, Patrick Oboi Amuriat ne Ssaabawandiisi Nathan Nandala – Mafabi ku ky’okumugoba kubwa Nampala bwa Ababaka ba FDC mu Palamenti. Ono ategeezezza nti bano tebalina buyinza kumugoba kuba si bebamulonda. Ono agamba kino abadde akisuubira nga tewali nakyamaanyi […]
Ssemujju agobeddwa ku bwa Nampala bw’ababaka ba FDC
Ekibiina kya Forum for Democratic Change – FDC kivuddeyo nekitegeeza nga bwekigobye Omubaka wa Kira Municipality, Ibrahim Ssemujju Nganda kubwa Nampala bw’ababaka ba FDC mu Palamenti nga kati ekifo kino kiweereddwa Omubaka wa Mawokota South, Yusuf Nsibambi. Bino biragiriddwa Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Nathan Nandala – Mafabi mu kiwandiiko kyafulumizza era naategeeza nti enkyukakyuka zino zitandikiddewo […]
Aba China 8 bakwatiddwa e Kyampisi
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira mu Ggwanga kivuddeyo nekitegeeza nga bwekyakutte Bannansi ba China 8 bano nga basangiddwa nga bakolera mu Uganda nga tebalina lukusa mu kirombe ky’amayinja e Kyampisi mu Kyabakadde mu Disitulikiti y’e Mukono. Kitegeezezza nti bano bakutwalibwa mu Kkooti bavunaanibwe nti era ebikwekweto bigenda kugenda mu maaso ku bagwira bonna.
Poliisi ekutte 9 lwabutambala life jackets
Uganda Police Force ey’okumazzi ekutte abantu 9 ababadde basaabalira ku nnyanja Nalubaale wabula nga bano babadde tebambadde bukooti bukuuma bulamu (Life Jacket) ku mwalo e Kasenyi. Okusinziira ku mudduumizi wa Poliisi eno e Mukono ne Kampala, Lt. Julius Byamukama agamba nti bano balemereddwa okuyigira ku kabenje akaagudde ku nnyanja eno omwafiiride abantu abasoba mu 20 […]
Abakulembeze b’Amawanga ga Afirika batuuse mu Uganda
Abakulembeze b’Amawanga ga Afirika ab’enjawulo okuli Pulezidenti wa Ethiopia, Sahle-Work Zewde, Omumyuuka wa Pulezidenti wa Tanzania, Philip Isdor ne Minisita wa kabineeti owa Gavumenti ya Kenya, Musalia Mudavadi beebamu ku bamaze okutuuka mu Ggwanga okwetaba mu lukuŋŋaana lwa G-25 African Coffee Summit olugenda okuyindira ku Speke Resort Hotel e Munyonyo. Olukuŋŋaana luno lugendereddwamu okutumbula ekirime […]
Ababaka bawakanyizza ekya Gavumenti okugaana amaato okutambula ekiro
Ababaka abakiikirira ebitundu ebirina ebizinga bavuddeyo nebawakanya ekiteeso kya Gavumenti okuwera eky’abantu okusaabalira ku nnyanja ekiro. Gavumenti egamba nti abantu abakozesa ennyanja balina kugisaabalirako wakati w’essaawa kumi na bbiri ezookumakya ne kumi n’ebbiri ezoolweggulo ngekigendererwa mu kyokukendeeza ku obubenje bwokumazzi. Ababaka bagamba nti kuno kuba kusosola kuba neggaali yomukka, emotoka n’ennyonyi zisaabala ekiro era ziggwa […]