Abawagizi b’omupiira mubeere bulindaala – Fred Enanga
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nalambika ebigenda okugobererwa abawagizi b’omupiira gw’ebigere ogwa liigi z’Amawanga ga Bulaaya okusobola okwongera okunyweza n’okwekuuma obutujju obuzze bulaalikibwa okutuusibwa ku Uganda. Enanga agamba nti bannanyini bifo bino balina okubeera n’obuuma obukebera eby’okulwanyisa, okubeera n’abaweereza abamala, okwewala okuguza abantu omwenge abatannaweza myaka 18, okukendeeza emiryango egikozesebwa abantu nga […]
Nandala towolanga ku FDC ssente yogera amazima wazifuna otya – Kizza Besigye
Rtd Col. Dr. Kizza Besigye ayanukudde alipoota y’Akakiiko akatekebwawo okunoonyereza ku ssente zebayita ezekibi mu Forum for Democratic Change – FDC; “Waliwo mu alipoota wenalabye ngegamba nti Hon. Nathan Nandala – Mafabi yeyawola ekibiina ssente. Tebafaayo nakumubuuza yakiwola meka! Okwesika kwange kwatandikira ku ngeri ssente gyezatuukamu ewange ku ssaawa 4 ez’ekiro. Nandala yankubira nantegeeza nti […]
Sirina buzibu na Nandala – Kizza Besigye
Rtd Col. Dr. Kizza Besigye agamba nti ye talina buzibu bwonna na Hon. Nathan Nandala – Mafabi nti era abadde amutwalira ddala nga mukwano gwe nga n’ebizibu bya ssente ebyagwawo mu kibiina kya Forum for Democratic Change tebinabaawo era nti y’ensonga lwaki yamwesiga namuteresa ssente zino.
Omumyuuka wa Ppookino asimatuse akabenje
Omumyuuka asooka owa Ppookino, Owek. Rose Nalubowa asimattuse okufiira mu kabenje mu Nyendo – Nakayiba mu Kibuga Masaka. Okusinziira ku beerabiddeko nagaabwe bagamba nti Takisi ezibadde zegoba nga buli emu eyagala okuyisa ginaayo zeziviiriddeko akabenje kano.
Poliisi ennyuludde emirambo emirala 3 okuva mu nnyanja Nalubaale
Uganda Police Force ngeri wamu ne balubbira banyuludde emirambo emirala 3 egy’abantu abaagwa mu nnyanja Nnalubaale ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde. Ab’eŋŋanda z’abagenzi bawakanyizza ekya Poliisi okubategeeza nti egenda kusooka kutwala mirambo gino mu Ddwaliro e Mulago era bagamba nti abali ku mulimu gw’okuzuula emirambo gino babasaba ensimbi nga tebanaba kugibawa.
Bank of Uganda erabudde Bannayuganda ku Kkampuni ya Worldcoin
Bbanka Enkulu eya Uganda (Bank of Uganda) evuddeyo nerabula Bannayuganda abettanidde kkampuni ya World Coin ng’eno ya Crypto Currency ekutte Bannakibuga omubabiro okugyegendereza kuba terina lukusa lukola kutunda crypto currency nti era tebakolagana nayo. Akulira ebyamawulire mu Bbanka Enkulu, Dr. Bazinzi Nantamba agamba nti Bannansi basaanye okwegendereza kkampuni eno. Ono agamba nti Worldcoin yayimiriziddwa okukola […]
Poliisi ekutte omu ku bakulira akabinja kababbi mu Kampala – Enanga
Omwogezi wa Uganda Police Force, Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omu ku bakulira obubinja bw’ababbi obw’omutawaana mu kibuga Kampala ayitibwa Mbaziira Ronald. Kigambibwa nti Mbaziira azze yenyigira mu bubbi obw’enjawulo mu Kampala nga n’emmundu gyabadde nayo ekozeseddwa mu buzzi bw’emisango bungi okwetoloola ekibuga. Ono akwatiddwa mu kikwekweto Poliisi kyekoze mu Kibuga okufuuza abasuza Bannakibuga […]
Pulezidenti Museveni atonedde Omusumba wa Kasana Luweero omuggya emotoka
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu bubaka bwe bwatisse Omumyuka we, Hon Jessica Epel Alupo ku mukolo gw’okutuuza Omusumba omuggya ow’Essaza Kasana – Luweero, Msgr. Lawrence Mukasa yebazizza Abasumba abaasooka okukulembera Essaza lino baagambye nti bakola kinene mu kukula kwalyo. Mungeri yeemu yebazizza Keleziya olw’okukolagana obulungi ne Gavumenti ya National Resistance Movement – NRM ekiyambye nnyo […]
NEMA eyise Munnamaggye Musajjawaza abitebye
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi mu Ggwanga ekya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda kivuddeyo nekitegeeza nga bwekiyise omusirikale w’eggye lya UPDF Brigadier, Mussajjawaza agende abitebye oluvannyuma lwabakwasisa amateeka mu NEMA okutegeezebwa abakuumi bebasanze mu zzooni y’e Makenke, Gayaza Ward, Kasangati TC, mu Disitulikiti y’e Wakiso nti ye nnanyini ttaka eriweza yiika emu n’ekitundu ekyettaka […]