UNHR egaddewo ekitebe kyaayo mu Uganda – Chief Volker Turk
Akakiiko k’ekibiina ky’Amawanga amagatte akalera eddembe ly’obuntu aka United Nations Human Rights kalangiridde nga bwekaggaddewo ekitebe kyaako mu Uganda oluvannyuma lwa Gavumenti okugaana okuzza obuggya endaŋŋaano kwekakolera. Kino kibikkuddwa akakulira Volker Türk eggulo mu Kampala nti eno bagigasse ku woofiisi y’e Gulu ne Moroto ezaggalwa mu June ne July. Kinajjukirwa nti bano baasowagana ne Pulezidenti […]
Babiri bafiiridde mu kabenje e Kitigoma
Omwogezi wa Uganda Police Force ow’ettundutundu lya Ssezibwa ategeezezza nga bwewaliwo akabenje akagudde ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kampala ku kyalo Kitigoma mu Disitulikiti y’e Buikwe Fuso Fighter nnamba UBB 716F bwetomereganye ne tuleela y’amafuta nnamba UAY 077A/UAY 928A M/Benz ku ssaawa kumineemu ezookumakya. Kigambibwa nti ddereeva wa Fuso atanategeerekeka ngebadde eva Jinja […]
Pulezidenti Museveni yewuunyizza nti Uganda egula entebe mu Bawalabu
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Tugula ebibajje okuva mu Bawalabu ababeera mu ddungu! Tuyinza tutya okutuula ku ntembe ezigulibwa ebweru w’Eggwanga? Tetusobola yadde okukola ennyonyi, computer, oba eddagala tetusobola yadde n’okukola ebibajje, nga tuli bakugu mu ki? Bakugu mu butamanya!?”
Abalamuzi ba Kkooti Ejulirwamu bakendezza ku kibonerezo ekyaweebwa eyasobya ku mwana
Abalamuzi 3 aba Kkooti Ejulirwamu okuli Richard Buteera, Irene Mulyagonja ne Eva Luswata awatali kwesalamu bakkiriza okukendeeza ku kibonerezo ekyali kyaweebwa Joseph Ssempiira ow’emyaka 41 eyasobya ku mwana we ow’omwaka ogumu okuva ku myaka 45 okudda ku myaka 26. Mu kujulira kwe Sempiira yategeeza nti omulamuzi wa kkooti enkulu yeesigama ku bujulizi bwa mukyala we, […]
Pulezidenti Museveni akalambidde ku kiragiro kyobutatema miti
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni azzeemu okukkaatiriza ekiragiro kye ekitangira abantu okutema emiti okukolamu embaawo n’okwokyaamu amanda. Museveni agamba ky’ekiseera Bannayuganda okutandika okwenyigira mu kubajja kibasobozese okwekulaakulanya kyokka nga bwebakuuma obutondebwensi. Bino abyogedde aggalawo olusirika lw’Abatandisi ba kkampuni mu Ggwanga olumaze ennaku ebbiri nga luyinda e Jinja.
NUP eduukiridde abafiiriddwa abantu baabwe e Kasenyi
Olunaku olwaleero Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya akyaddeko ku mwalo gw’e Kasenyi okukungubagira awamu n’abantu abafiiriddwa abaabwe abasoba mu 20 abagwa mu nnyanja Nalubaale oluvannyuma lw’e Kinaala ekyali kiva Lwanabatya ne Ntuuwa mu Disitulikiti y’e Kalangala nga kyolekera Katabi okubbira oluvannyuma lw’amayengo agamaanyi okukikuba. Mu mirambo egitanalabika kuliko Maama wa Munnakibiina kya […]
Muweeyo ettaka eri Gavumenti ebazimbireko ennyumba – Hon. Namuganza
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka n’enkulaakulana y’ebibuga, Namuganza Persis asabye abantu abawangaalira mu bifo by’enzigotta okwaniriza enteekateeka Gavumenti gy’ereese ey’okuzimba ennyumba ezituukana n’omutindo mu bifo eby’omugotteko oba ssi ekyo baweeyo ettaka lyabwe eri Gavumenti ebazimbireko ennyumba. Okwogera bino abadde atongoza mwoleso gw’okuzimba ennyumba ez’omulembe ogutuumiddwa ‘the 2nd Uganda Building International’.
Nandaka akalulu keyategeka kaali ka kiyita mu luggya – Ssemujju
Omubaka wa Kira municipality, Ibrahim Ssemujju Nganda avuddeyo nasekerera engeri Ssaabawandisi wa Forum for Democratic Change – FDC, Nathan Nandala – Mafabi gyeyategekamu akalulu k’ekibiina ng’agamba nti mu kalulu ako abalonzi tebaalina wadde kaadi z’ekibiina ate nga tebakozesa lukalala lw’abalonzi. Ono ayongeddeko nti okwenyigira mu kalulu ako omuntu yali alina okuba nga akkiririza mu Nandala […]
Genda okole ekibonerezo ekyakuweebwa – Kkooti Ejulirwamu
Abalamuzi ba Kkooti Ejurirwamu okuli; Omumyuuka wa Ssaabalamuzi Richard Buteera , Omulamuzi Irene Mulyagonja ne Eve Luswata bagobye okujulira kweyali omukulu w’essomero lya Kaaso Primary School, Kyaato mu Disitulikiti y’e Mubende Goefrey Byakatando kweyateekayo ngawakanya ekibonerezo kyokusibwa emyaka 22 oluvannyuma lwokusingisibwa omusango gwokusobya ku baana 2. Kigambibwa nti nga 16-September-2009, Byakayonda yekakatika ku baana 2 […]