Kitalo! Abantu 20 bafiiridde mu nyanja
#Kitalo! Abantu 20 bebagambibwa okuba nga bagudde mu mazzi, oluvannyuma lw’eryato eryetissi ly’emigugu bweribbidde ku mwalo gwe Nsazi mu disitulikiti ye Mukono. Eryato lino kigambibwa nti libaddeko abantu 30 okuva e Kyamuswa mu Kalangala nga lidda Kasenyi mu Wakiso mu kiro ekikeesezza olwaleero. Kigambibwa nti obuzibu buvudde ku muyaga ogwabadde omungi era wano omugoba yalwanye […]
Kkooti ekalize Omusumba Sserubiri eyatta omwana ow’emyaka 4
Kkooti Enkulu e Jinja ng’ekulirwa omulamuzi, Winfred Nabisinde esindise omusumba Peter Joseph Sserubiri asumba ekkanisa ya Deliverance and Healing Ministry mu kkomera yebakeyo ebbanga ly’obulamu bwe bwonna erisigadde oluvannyuma lw’okukkiriza nti yasaddaaka omwana ow’emyaka 4. Sserubiri avunaanibwa n’abalala babiri okuli Namaganda ne Ismael Ssekabira nga bano bo bakyegaana omusango guno era okunoonyereza ku musango gwabwe […]
KCCA ekutte eyakube olukomera ku luguudo lwa Train
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku Kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA kivuddeyo nekitegeeza nga bwebatuuseeko mu kifo awabadde wakubiddwa ekikomera ku luguudo lw’eggali y’omukka e Namuwongo. KCCA egamba nti olukomere lusendeddwa nagambibwa okuluzimbawo nakwatibwa ngalindirira kutwalibwa mu Kkooti avunaanibwe. #ForABetterCity
Omubiri gwa Mzee William (NUP) gutuusiddwa mu Ggwanga
Olunaku olwaleero omubiri gwa Munnakibiina kya National Unity Platform, Mzee William Byarugaba ngono yabadde akulira ekiwayi ky’abakadde mu NUP gutuusiddwa mu Ggwanga era nga ku kisaawe Entebe abakungu ba NUP ab’enjawulo babaddewo. Mzee William yafiira mu Amerika gyeyali atwaliddwa okujanjabibwa wiiki bbiri eziyise. Mzee Byarugaba abadde mugenyi mu Program Awali Omukka ku Radio Simba buli […]
Poliisi e Luweero ekutte omukazi asazeeko omusajja obulago lwa nnusu 6000
Uganda Police Force e Luweero ekutte omukazi ategeerekeseeko erya Namanya ow’emyaka 33 nga kigambibwa nti yasazeeko Moses Bakka omutwe lwakugaana kumusasula ssente zebaabadde bakaanyizzaako oluvannyuma lw’okuwaya aka kyagera n’okumugabira ebyalo by’e Bulemeezi. Okusinziira ku omwogezi wa Poliisi mu Disitulikiti y’e Luweero, ASP Sam Twineamazima, agamba nti Bakka yagenze ewa Namanya nga bakkaanyizza amuwe omutwalo gumu, […]
Abakwatibwa ku bya bbomu terunaggwa
Omulamuzi wa Kkooti y’e Nabweru ataddewo olwa 15-August ng’olunaku lwagenda okuweerako ensala ye ku bantu abagambibwa okubeera abatujju abakwatibwa e Nansana okutwalibwa mu Kkooti etawulula enkayana za Ssemateeka. Kinajjukirwa nti bano bakwatibwa ku bigambibwa basangibwa ne bintu ebyeyambisibwa mukukolerera bbomu.
Tulina okulwana okununula FDC – Hon. Ssemujju
Omwogezi w’ekibiina ki Forum for Democratic Change – FDC, Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda avuddeyo nakuba ebituli mu alipoota y’akakiiko akaatekebwawo okunoonyereza ku vvulugu ali mu kibiina kino omuli n’ensimbi ezigambibwa okuyingizibwa mu kibiina okuva ewa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okutabulatabula ekibiina. Bano bazze balumiriza Pulezidenti w’ekibiina Patrick Oboi Amuriat wamu ne Ssaabawandiisi Nathan Nandala – […]
Abasuubuzi ku luguudo lwa Mbiriizi-Mateete-Ssembabule batabuse lwa nfuufu
Abasuubizi ku luguudo lwa Mbiriizi-Mateete-Ssembabule bawaliriziddwa okuggalawo bizineesi zaabwe olw’enfuufu ensusse mu luguudo. Bano bavuddeyo nebategeeza nga bwebagenda okwekalakaasa, nga balumiziriza ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority okuyiwa ettaka mu luguudo mu kifo kya marrum. UNRA yo etegeezezza nti okusomoozebwa abatuuze kwebayitamu ekumanyiiko wabula n’ekiteeka ku motoka empitirivu zegamba nti […]
Yogaayoga ayi Ssaabasajja
Ffe – Abakozi, Bannanyini wamu nabaddukanya Leediyo Simba, tuyozaayozza Omwana wa Nabijjano Nnantasibwamuge Nnantetooloolwa Makulagabuganda Muzzaŋŋoma Mwennyango Liisolyampungu Lukeberwa Luwangula Kaamulali Kalalankoma Kabwejungira Omutanda Omuteregga Omuteesa Ssanyulyabuganda Ssalambwa Ssebintu Ssaabalongo Bbaffe Beene Bukaajumbe Ronald Muwenda Mutebi II okuwezza emyaka asatu ng’oteredde ku Nnamulondo ya Bajjajjaabo ng’olamula Obuganda, ebirungi byetufunye ku mulembe gwo tebirojjeka. Ggundaggunda Wangaalawangaala […]