Kkooti eragidde Mukaaku ne Besigye bakwatibwe lwakwebulankanya
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road, Asuman Muhumuza ayisizza ekibaluwa ki bankuntumye eri Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye ne munnankyukakyuka Samuel Walter Lubega Mukaku oluvannyuma lw’obutalabikako mu Kkooti enkya ya leero. Omuwaabi wa Gavumenti ategeezezza Kkooti nga bwebakooye okuleeta abajulizi mu Kkooti okulumiriza Besigye ne Mukaku naye nebatalabikako.
Gavumenti ekirizza okusasula ba Intern Abasawo
Gavumenti ng’eyita mu Ministry of Health- Uganda evuddeyo netegeeza nti okutandika nga 3 omwezi ogwomunaana abatendekebwa obasawo (Intern Doctors) abawera 1,901 baakutandika okukola mu malwaliro gaayo ag’enjawulo, nga buli omu waakuweebwa ensako ya nsimbi akakadde kamu buli mwezi okubayambako mu by’ensula n’okulya.
Ssaabasajja aguddewo ennyumba z’Obwakabaka
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggulawo ennyumba z’Obwakabaka ez’ensimbi ensaamusaamu e Ssentema. Ennyumba zaazimbiddwa Obwakabaka ne Bannamukago aba Henan Ghoji, era zitundibwa. Kuliko ez’ekisenge ekimu, ebibiri, n’ebisatu. #amatikkiraat30
Ssaabasajja asiimye abakulembeze b’e Wakiso
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II; “Tusanyukira nnyo Mw. Matia Lwanga Bwanika n’olukiiko lwa Disitulikiti y’e Wakiso olw’okulwanirira obutondebwensi, tubasaba n’olutalo lw’okuzimbira abantu amayumba agaja mu nfuna yaabwe era nakyo mu kirowoozeeko.”
Tetujja kusasula ssente za ddwaliro essomero lisasule – Bazadde Nakanyonyi
Abazadde b’essomero lya Nakanyonyi Secondary School e Nakanyonyi mu Disitulikiti y’e Mukono bakalambidde ku ky’okusasulako ekitundu ku bisale by’eddwaliro ebibanjibwa essomero oluvannyuma lw’okujjanjaba abayizi abaali obubi gyebuvuddeko olw’okulya ekiteeberezebwa okubeera obutwa mu mmere. Abazadde baakalidde mu mukulu w’essomero nebamuteegeza nti babadde basasula ebisale by’essomero kyokka ng’essomero lya Gavumenti nga n’olwekyo tebayinza kuyambako ssomero kusasula bbanja […]
Eyamize eddagala lyamaanyi gekisajja limusse
Kitalo! Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo omusajja ow’emyaka 30 ategeerekese nti ye Ouma Justus ngabadde muvuzi wa booda booda ku kyalo Buwaya mu Bumunyi Parish, Masinya Subcounty mu Disitulikiti y’e Busia eyafiiridde mu Lodge oluvannyuma lwokumira eddagala ly’embavu z’abasajja nga ayagala akube ekinakanaka ne munne amuwulire asobole okumukekemya […]
Yekumyeeko omuliro bwazudde nti muganzi we mukyala mufumbo
Faizal Kasirye omutuuze mu zooni ya Nsumbi mu Nansana Munisipalite yeekumyeko omuliro oluvannyuma lwa gw’abadde ayita muganzi we ate okukizuula nti mufumbo. Okusinziira ku mwogezi wa wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire agamba nti ekyasinze okutabula Kasirye kwe kugwa ku mukazi ono ng’ali ne bba mu bbaala nga omukwano gubasaza mu […]
Basobezza ku w’emyaka 9 nebamutta
Uganda Police Force e Nabweru mu Nansana Municipality etandise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku mwana ow’emyaka 9 nga kigambibwa nti abamusse basoose kumusobyako n’oluvannyuma nebamutta omulambo gwe nebagusuula mu mwala okuliraana. Poliisi egamba nti eyatiddwa ye Angel Nangonzi eyabbiddwa mu maka ga bakadde be olunaku lw’eggulo nga 23-July.
Poliisi esse omutuuze e Nakabugo mu Nansana
Abatuuze ku kyalo Nakabugo mu Disitulikiti y’e Wakiso, bakeeredde mu ntiisa abaserikale ba Uganda Police Force nga bano babadde mu ngogye ezabulijjo bwebakubye omukazi amasasi agamuttiddewo. Jackline Namwanga 34, abadde akedde okugenda mu nnimiro kwekulaba abasirikale bano ababadde bakedde okukola ekikwekweto ku kyalo nga baagala okukwata muliraanwa we ayitibwa Kiboneka Joseph ku nsonga ezitanategeerekeka, olubalabye […]