Minisita Kitutu ne banne 2 begaanye emisango gyokubulankanya amabaati
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja, Dr. Mary Gorret Kitutu, mwannyina Michael Naboya asaako omuyambi we, Joshua Abaho begaanye omusango gw’okubulankanya amabaati agaali ag’abantu abayinike ab’e Karamoja. Emisango gino gibasomeddwa omulamuzi wa Kkooti Enkulu ewozesa abalyake n’abakenuzi, Jane Kajuga Okuo naye gyonna nebagyegaana.
Omukungu wa UNBS azirikidde mu Kakiiko ka COSASE
John Kiwanuka, nga ye Principal Meteorologist ku Uganda National Bureau of Standards – UNBS addusiddwa mu Clinic ya Palamenti ettuntu lyaleero oluvannyuma lwokuzirikira mu Kakiiko ka COSASE akabadde kamukunya ku mivuyo egiri mu kitongole kyakulira. Akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Omubaka Joel Ssenyonyi kali mu kunoonyereza ku nsonga ezanokoddwayo mu alipoota ya Auditor General eyomwaka gw’ebyensimbi […]
Poliisi eweze abakwata booda booda nga tebali mu Yunifoomu
Omuduumizi wa Poliisi ya Kampala Metropolitan Police, SCP Stephen Tanui, avuddeyo nategeeza nga bwafunye okwemulugunya okuva mu bantu nga bwewaliwo abantu abali mu ngoye ezabulijjo abakwata piki piki nga tebalina buyinza kukikola. Tanui awadde ebiragiro ebiggya; ebikwekweto byonna ebyokukwata piki piki birina kukolebwa basirikale ba Poliisi abali mu yunifoomu bokka, ekikwekweto kirina kukolebwa nga kikulemberwa […]
Byenayogera nabyogeza busungu – UNBS ED
David Ebiru, Executive Director wa Uganda National Bureau of Standards – UNBS yekyuusizza namenyawo byeyayogera mu Kakiiko ka Palamenti nti yaliisa abatuula ku Lukiiko lwa Board enguzi ya bukadde 100 okusobola okumwongera kkontulakita nga agamba nti bino yabyogera lwa busungu.
Abayizi abasoba mu 150 bateeberezebwa okuweebwa obutwa
Waliwo abayizi abakunukiriza mu 150 ku ssomero lya Nakanyonyi Senior Secondary School erisangibwa Nakanyonyi mu Disitulikiti y’e Mukono abaddusiddwa mu Ddwaliro nga biwala ttaka nga kigambibwa nti bandiba nga balidde emmere erimu obutwa. Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire agamba nti emmere gyebaliddeko etwaliddwa mu Government Analytical Laboratory mu Kampala […]
Eyawangula akalulu ka Oyam North alayiziddwa
Munnakibiina kya Uganda Peoples Congress – UPC, Dr. Eunice Apio Otuko alayiziddwa mu butongole okukiikirira abantu be Oyam North. Ono azze mu bigere by’omugenzi Minisita Charles Engola eyakubwa omukuumi we amasasi agaamuttirawo.
Minisita Kaducu yenyigidde mu kujanjaba abayizi b’essomero lya Nakanyonyi
Minisita Joyce Moriku Kaducu naye yenyigidde mu kuwa obujanjabi eri abayizi b’essomero lya Nakanyonyi erisangibwa e Nakanyonyi. Omwogezi wa Uganda Police Force Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nti mpaawo muyizi afudde nti era Poliisi yabakanye dda ne gweyagunjukira okuzuula ekituufu.
Bambega ba Poliisi abakuzibwa bambaziddwa ennyota zaabwe
Bambega ba Uganda Police Force abakuziddwa olunaku olwaleero bambaziddwa ennyota zaabwe ku kitebe kyamba mbega e Kibuli. Ddayirekita wa CID AIGP Tom Magambo, DPP Jane Frances Abodo n’abakulu abalala betabye ku mukolo guno.
Emotoka 26 eza Judiciary zamalawo obuwumbi 5 okuzikanika mu mwaka gumu
Ababaka ba Palamenti batadde essiga eddamuzi ku nninga linnyonyole engeri gyeryasaasanyamu obuwumbi 5 mu obukadde 514 mu mwaka gumu gwokka okuddaabiriza emotoka. Ababaka bagamba nti okusinziira ku alipoota ya Ssaabalirizi w’ebitabo kyazuulibwa nti emotoka 26 zezaddaabirizibwa, nga kitegeeza buli motoka yagenda mu Garage ekitono ennyo emirundi 8 nga kitegeeza buli emu bagimalirako obukadde 26.488 buli […]