Newuunya abagamba nti ntwala FDC mu NUP – Kizza Besigye
Rt. Col. Dr. Kizza Besigye: “Abannumiriza nti Forum for Democratic Change ngenda kugitunda mu National Unity Platform mbewuunya, ndowooza teriiyo muntu NUP gwevumye nga nze, n’olumu bannumbako ku Bulange wabula oluvannyuma twatandika okukolagana wabula waliwo abalabe abataagala nkolagana eno.”
Lwaki musaba ssente mpitirivu okutegeka okulonda kwa LC1 – Sipiika Among
Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo natabukira abakungu mu Gavumenti bagamba nti badumuula omuwendo gwa ssente ogwetaagibwa okutegeka okulonda kwa LC1 mu Ggwanga. Sipiika ategeezezza nti singa okwata obukadde 5 n’obuwa Ababaka ba Palamenti, basobola bulungi nnyo okutegeka okulonda kwa LC1 mu bitundu byabwe. Ono agamba nti obuzibu buli kukusaba ssente nnyingi obuwumbi 57 bwagamba […]
Gavumenti yakuba ebibiina bya Opposition – Kizza Besigye
Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye: “Ebibiina byebyobufuzi biremeddwa okukitegeera nti Gavumenti yawamba buli kimu. Tebasobola kwaŋŋanga kizibu kino. Bwoba olina obuzibu n’olemererwa okubumalawo bujja kukumalawo. Ebibiina byebyofuzi wano bikola nga ebiri mu nsi erimu demokulasiya omuyitirivu birowooza biri mu Bulaaya. Obuzibu buva ku Gavumenti kuwamba bya bufuzi ngeyita mu kubifuula ebyokukola ssente mu Ggwanga eryavu. […]
Tetujja kubabuulira ani yatuwa ssente – Amuriat
Pulezidenti wa Forum for Democratic Change Patrick Oboi Amuriat wamu ne Ssaabawandiisa Nathan Nandala – Mafabi mu lukiiko lwa Bannamawulire lwebatuuzizza bavuddeyo nebategeeza nga bwebategenda kwasanguza ani abateekamu ssente kuba ayinza okubeera mu Gavumenti, abasuubuzi oba abakozi ba Gavumenti. Tukikola kubakuuma omusibira mu bbwa aleme kubatuusaako buzibu. Amuriat alumbye Besigye nategeeza nti ku bbo tewali […]
Ssente bwenazitegeereko nabagamba naye nabanyiiga – Kizza Besigye
Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye: “Bwenamanya ku ssente ze kibi, nategeeza ku bakulembeze mu Forum for Democratic Change – FDC, nenkizuula nti abamu tekyabasanyusa. Abamu bagamba nti nze bwenakwatira ekibiina bendera ku bwa Pulezidenti, ssente nali nzijjawa. Nensalawo okubyesonyiwa.”
Lukwago akola gwa kuzunga mu bibiina – Amuriat
Pulezidenti wa Forum for Democratic Change Patrick Oboi Amuriat: “Kimanyiddwa bulungi nti Loodi Mmeeya Erias Lukwago abadde azunga okuva mu kibiina ekimu okudda mu kirala nti kuyiga byabufuzi. Yalowooza nti yali muccuba wano naye wano tetulina baccuba.”
Besigye yeyasooka okwogera ku kya ssente – Amuriat
Pulezidenti wa Forum for Democratic Change Patrick Oboi Amuriat: “Ensonga zokufuna ssente mu kibiina okuva ewa Museveni zaaleetebwa omutandisi w’ekibiina Pulezidenti Kizza Besigye mu 2020 mu kyaama. Yatugamba nti yali afunye amawulire nti waliwo ssente ezaleetebwa mu kibiina okuva ewa Museveni. Kitutwalidde emyaka 2 nga tugezaako okugonjoola ensonga eno mu kyaama wabula netulemererwa.”
NUP nga tugirwanyisa lwaki – Nandala
Ssaabawandiisi wa Forum for Democratic Change Nathan Nandala – Mafabi: “Hon. Ssemujju, Erias Lukwago nekibinja kyabwe bavuddeyo nebategeeza nti twafuna ssente okuva ewa Mw. Yoweri Kaguta Museveni okulwanyisa National Unity Platform NUP. Lwaki Omwogezi wa FDC ate yayogerera NUP! Kino kyongera okukakasa nti si Bannakibiina kya FDC. Batudde butuuze mu bifo ebinene naye nga Bammemba […]
Ssemujju yasinze okufuna mu Gavumenti – Nandala Mafabi
Ssaabawandiisi wa Forum for Democratic Change FDC Nathan Nandala – Mafabi: “Hon Ibrahim Ssemujju n’abalala baliko ebigambo byebayogedde nga bagamba nti nakola ddiru ne Museveni okumuguza FDC ampe obwa Gavana bwa Bbanka enkulu oba Minisitule y’Ebyensimbi. Ebiboozi bino bibaddewo okuva mu 2012. Tewali wano asobola kubuusabuusa bumanyi bwange! Nina obusobozi okukola emirimu egyo naye sirina […]