SinoHydro mwebale kukola mulimu mulungi – H.E Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Okutongoza ebbibiro ly’amasanyalaze erikola 600MW erya Karuma Hydropower Project erisangibwa mu Disitulikiti y’e Kiryandongo mawulire malungi nnyo era twolekera ekkubo ettuufu. Nebaza Bannamukago okuva e China abatuwa ensimbi ebintundu 85 ku 100 ffe netwongerako ebitundu 15 ku 100 okuva mu kittavvu kyobubagagga obwensimbo okusobola okuzimba ebbibiro lino amakula. Nsiima nnyo China […]
Sisobola kwetonda olwokunonda okukwatira DP Bloc bendera ku bwa Pulezidenti – Mpuuga
Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform akiikirira Nnyendo – Mukungwe Mathias Mpuuga Nsamba; “Nneebaza baganda bange mu DP Bloc abannonze okubakwatira bbendera mu kalulu kabonna ku kifo ky’obwa Pulezidenti. Obuvunaanyizibwa bweboogerako mbusobola era kw’ekyo sisobola kwetonda naye sirowooza nti eno y’ensonga enkulu mu kadde kano.” #ffemmwemmweffe
Pulezidenti Museveni agobye abakulu mu KCCA
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agobye abakungu mu Kitongole ekivunaanyizibwa ku Kibuga Kampala oluvannyuma lwa alipoota ya IGG ku kikangabwa ekyagwa e Kiteezi. Pulezidenti Museveni ngakozesa obuyinza obumuweebwa ssemateeka mu Kawayiiro 172(1) (a) aka ssemateeka wa 1995 agobye abakulu mu kitongole kya@Kampala Capital City Authority – KCCA kulwobulungi bwabantu nga agamba nti okunoonyereza ku nsonga z’e […]
Minisita Nabakooba ayingidde mu nkayana z’ettaka e Luweero
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’etteka, amayumba nokuteekerateekera ebibuga Judith Nabakooba ayingidde mu nkayaana z’ettaka, abatuuze abawerako mwebabadde batiisibwatiisibwa okugobwa ku ttaka mu Disitulikiti y’e Luweero. Nabakooba okuvaayo kiddiridde Pulezidenti Museveni okukyalako mu Disitulikiti eno abatuuze nebamutegeeza nga bwewaliwo ababagoba ku ttaka. Nabakooba ngakolera wamu nabebyokwerinda nga bakulembeddwamu RDC Richard Bwabye Ntulume olunaku lw’eggulo bayise olukiiko […]
Pulezidenti Museveni awabudde abawabuzi be kubyokubongeza omusaala
Abawabuzi ba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga ezenjawulo okuli; Buchaman, Catherine Kusaasira, Jennifer Fulfigure nabalala okusinziira ku Buchaman bawabudde Pulezidenti abongeze ku musaala wabula ye nabawabula nti ensimbi zino yaziyisa mu Ghetto SACCOS mwebalina okuyita okwekulaakulanya. Omuwabulwa awabudde abawabuzi, byampuna! #wolokoso #embooziyomukafunda #ffemmwemmweffe
Abaami mukwasizeeko bakyala bammwe – Hon. Malende
Omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y’e Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Shamim Malende olunaku olwaleero yetabye mu kusaala Jumah ku Masjid Ali Sekandi e Kawempe. Afunye akadde okwogerako eri abakiriza abetabye mu Jumah ku nsonga ezinyigiriza abakyala mu maka noluvannyuma naganira abakyala abasulirira okuzaala mama kits. Ye Imaam Hussein Kato akubirizza abantu okusonyiwa wamu nokuwa […]
Teri muntu wabulijjo gwetugenda kukiriza kufuuka Pulezidenti – Gen. Muhoozi
Mutabani w’omukulembeze w’Eggwanga era omuduumizi w’Eggye lya @UDPF Gen. @Muhoozi Kainerugaba avuddeyo ku mukutu ggwe ogwa X nategeeza nti kikafuuwe omuntu wabulijjo okutwala entebe y’omukulembeze w’Eggwanga kuba ebitongole byebyokwerinda tebisobola kukikiriza. Ono agamba nti Omukulembeze addako alina kuva mu maggye oba Poliisi. #ffemmwemmweffe
Abawagizi bange mwenna muwagire Taata mu 2026 – Gen. Muhoozi
Gen. Muhoozi Kainerugaba avuddeyo nategeeza ku mukutu ggwe ogwa X nga bwatagenda kwetaba mu kalulu kobwa Pulezidenti nti era azze mabega wa kitaawe Gen. Yoweri Kaguta Museveni. Ono asabye abawagize be mu PLU bonna okuwagira Kitaawe mu kalulu ka 2026. Kino kirekawa, Daudi Kabanda, Frank M. Gashumba, Balaam Ateenyi nabalala? #ffemmwemmweffe
Lwaki Sipiika atufuula abasiru? – Omubaka Alioni
Omubaka wa Aringa South Yorke Alioni avuddeyo natabukira Sipiika Anita Among gwagamba nti atuulidde ekiteeso kyabwe ekyokuggya obwesige mu Bakamisona ba Palamenti abegemulira akasiimo k’ensimbi ezisoba mu kawumbi 1. Ono agamba nti Ababaka 186 abateeka emikono ku kiteeso kino balina abantu bebakiikirira ababalonda nga basoba mu mitwalo 2 n’ekitundu nga bano bwobagatta baweza obukadde 4 […]