Tetujja kubabuulira wa gyetujja ssente-Patrick Oboi Amuriat
Pulezidenti wa Forum for Democratic Change Patrick Oboi Amuriat wamu ne Ssaabawandiisa Nathan Nandala – Mafabi mu lukiiko lwa Bannamawulire lwebatuuzizza bavuddeyo nebategeeza nga bwebategenda kwasanguza ani abateekamu ssente kuba ayinza okubeera mu Gavumenti, abasuubuzi oba abakozi ba Gavumenti. Tukikola kubakuuma omusibira mu bbwa aleme kubatuusaako buzibu. Amuriat alumbye Besigye nategeeza nti ku bbo tewali […]
Mutubuulire ssente gyemwaziggya bakulu – Hon. Ssemujju Nganda
Wabaluseewo obutakkaanya munda mu Kibiina kya Forum for Democratic Change, abakulembeze baakyo bwe betemyeemu ng’ekiwayi ekimu ekikulemberwa Pulezidenti w’ekibiina Patrick Oboi Amuriat ekirala nga kikulemberwa omwogezi w’ekibiina Ibrahim Ssemujju Nganda ne Loodi mmeeya era Omumyuuka wa Pulezidenti owa Buganda Erias Lukwago. Ekiwayi kya Ssemujju kirumiriza ekiwayi ekikulemberwa Pulezidenti w’ekibiina Amuriat ne Ssaabawandiisi, Nandala Mafaabi okufuna […]
RDC ne DPC ba Bukedea basindikiddwa ku alimanda
Okunoonyereza ku mivuyo egyetobeka mu kalulu ka LC5 e Bukedea kukyagenda mu maaso, era olunaku olwaleero Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force katutte RDC wa Bukedea Tukei Wilberforce ne DPC wa Bukedea SP Charles Okoto mu kkooti nebavunaanibwa emisango okuli okwekobaana […]
Abazigu babbye emotoka yaba Ppaatiri mukuziika Aponye
Abazigu abatanategeerekeka balabiriza basajja Bakatonda okuva mu Bulabirizi bwe Kigezi okukkakana nga bababbyeko mmotoka kika kya Suzuki nnamba UAT 478N bwebabadde mu kusaba okusiibuula omugagga Aponye. Okusinziira ku Rev. Can. Milton Nkurunungi, akulembera Obulabirizi buno mmotoka eno ya Budinkoni bwe Kikungiri mu Munisipaali ye Kabale. Poliisi etandise omuyiggo ku batamanyangamba bano abatatya bintu bya Mukama. […]
Mujje munnyonyole obuwumbi 9 kyebwakola – Sipiika
Ababaka ba Palamenti batadde Offiisi ya Ssaabaminisita ku ninga ennyonyole engeri gyebasaasanyamu obuwumbi 9 n’ekitundu kukutendeka Abavubuka mu Uganda okunywa kaawa. Kino kidiridde Auditor General okutegeeza nga coffee shops ezateekebwawo e Gulu, Lira ne Mbale mu biseera byokunoonya akalulu bwezitaliiyo.
Pulezidenti wa Iran amalirizza obugenyi bwe mu Yuganda
Oluvannyuma lwokumaliriza obugenyi bw’olunaku olumu omwabadde okuteeka omukono ku ndagaano z’enkolagana 4 okuli okuggyawo visa wakati w’amawanga gombi, okukolagana mu byobulimi, okuteekawo ekitebe Omukulembeze wa Iran Dr. Ebrahim Raisi enkya yaleero asiibuddwa okuddayo okwaboobwe. Ono ku kisaawe asiibuddwa Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’Eggwanga Hon. Henry Oryem Okello n’abakungu abalala.
Sipiika ayise bekikwatako ku bubenje obuggwa ku nguudo
Sipiika wa Palamenti Anita Among yayise bukubirire Minisita avunaanyizibwa ku by’enguudo n’entambula wamu n’abakulu mu Uganda Police Force, akulira oludda oluwabula Gavumenti wamu nabalala abakwatibwako okukubaganya ebirowoozo ku bubenje obusukiridde ku nguudo.
Abasirikale ba Poliisi ne Prisons 41 bamalirizza emisomo e Bwebajja
Omukolo gwokutikkira abasirikale abakulu mu Uganda Police Force 41 ku Senior Command and Staff Course abolusoma lwa 006/2022/2023 gugenda mu maaso e Bwebajja. Okutendekebwa kuno kwatandika nga 15 August 2022 n’abasirikale 41 nga kuliko abakyala 3 n’abasajja 38 nga ku bano 36 baava mu Poliisi ate 5 baava @Uganda Prisons Service. Minisita avunaanyizibwa ku nsonga […]
Eno yeemu ku za bba wange – Ddereeva w’emotoka etaliiko nnamba
Omusirikale wa Poliisi y’ebidduka olunaku olwaleero ayimirizza emotoka etalina nnamba ku ssomero lya Aga Khan Primary School, bwabuuzizza omugoba waayo (omukyala) wa ennamba zaayo gyeziri namutegeeza nti eno emu ku motoka ennyingi bba zalina era nasimbula nagenda.