Poliisi etwala New Vision mu mbuga lwakuwandiika bya bulimba ku IGP – Fred Enanga
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nasambajja ebyafulumiziddwa olupapula lwa New Vision nga lutegeeza nti IGP John Martin Okoth Ochola mulwadde muyi era yabuusiddwa okuva mu Ggwanga natwalibwa okufuna obujanjabi ebweru w’Eggwanga nga yaweerekeddwako Police Surgeon n’omuyambi we. Enanga agamba nti eggulire situufu era liwabya Bannayuganda, ayongeddeko nti IGP yagenzeeko ku Ddwaliro […]
Katikkiro wa Rwenzururu eyagaana okwetonda akyawerenemba n’emisango
Kkooti Enkulu ewozesa egya Nnaggomola etuula e Kololo mu Kampala wansi w’omulamuzi Alice Komuhangi eyongeddeyo okuwulira omusango gw’okulya munsi olukwe oguvunaanibwa Katikkiro Kitsumbire wa Rwenzururu ne Kamada Masereka okutuusa nga ennaku z’omwezi 8 omwezi guno. Gyebuvuddeko Kkooti eno yeemu yeggyeereza Omusinga n’abantu abalala abaali ku fayiro eno wabula nerekako Kitsumbire ne Masereka olwokugaana okusaba ekisonyiwo. […]
Lwaki Gavumenti tesika motoka ezifiira ku makubo? – Sipiika Among
Sipiika wa Palamenti Anita Among ayagala Gavumenti eveeyo ennyonyole lwaki emotoka nnyingi zirekebwa ku makubo so nga akawayiro 59 aka Road Act 2019 kawa Gavumenti obuyinza okuziggyawo mu ssaawa 2 ezo ezibeera ku nguudo mu bibuga ate ku nguudo zo mu kyalo essaawa 6 oba nnyini yo okusibwa emyaka 4 oba okusasula engasi ya 1,920,000/= […]
Kitalo! Abantu 9 bafiiridde mu mugga kiyira
Kitalo! Abavubuka 9 bafiiridde mu mugga Kiyira oluvannyuma lw’elyaato mwebaabadde basaabalira okubbira. Abagenzi kuliko; Lotyang Peter, Lemukol Simon, Lotham Simon, Lomuria John, Kamur Nomha, Ngole Simon, Lonta Joseph, Lucumwa Simon ne Lokuwan Joseph. Okusiziira ku Uganda Police Force, abavubuka bano babadde baagala kusomoka bagende ku mwalo gwa Masindi okunoonya ku mirimu oluvannyuma lw’okukukolera kkampuni ya […]
Ddereeva wa Judiciary eyavaayo nayogera ku musaala omutono aziddwayo ku alimanda
Ddereeva w’ekitongole ekiramuzi eyalabikira ku mutimbagano nga akolokota bakamabe olw’okumuwa omusaala omutono, Stanely Kisambira, omulamuzi wa Buganda Road alagidde azzibwe ku alimanda okutuuka nga 24/ 07/ 2023 kisobozese oludda oluwaabi okukung’aanya obujulizi. Kinajjukirwa nti Kisambira ali ku gwakusiga bukyayi nga ayitira ku mutimbagano bweyemulugunya ku musaala gw’emitwalo 24 gwafuna.
Poliisi egobye ddereeva waayo eyakwatiddwa ngatisse amanda mu loole ya Poliisi
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Ddereeva wa loole ya Poliisi eyakwatibwa e Nakapiripirit ngettikka ensawo z’amanda bwagobeddwa mu Poliisi navunaanibwa mu Kkooti omusango gwokusangibwa nebintu okuva mu bibira ekimenya amateeka. CPL Walukayo Jude, nga akolera mu ttundutundu lya Poliisi erya Elgon e Mbale yakwatibwa n’ensawo 80 ezamanda ku luguudo lwa […]
Abayizi 2 bakwatiddwa lwakuwandiika bbaluwa ya ADF etiisatiisa
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Poliisi mu bitundu bya Greater Bushenyi ne Sheema bwekutte abayizi 2 aba S1 ku ssomero lya St. Charles Lwanga High School lwokuwandiika bibabula kiro kitwala omunaku nga bitiisatiisa olulumba lwa ADF ku ssomero. Abakwatiddwa kuliko Mwesigye Innocent ne Ayebare Benon era nga obujulizi bulaga nti […]
Omubaka Lwanga atenderezza Gen. Muhoozi
Omubaka wa Munisipaali wa Njeru, Hon. Jimmy Lwanga avuddeyo nakakasa nti akkiririza mu ngeri Gen Muhoozi Kainerugaba gyakwatamu ebintu bye naddala eby’obufuzi nti era ye mwetegefu okumuwagira singa avaayo neyeesimbawo ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga. Olunaku lw’eggulo Omubaka Lwanga yalaze nti Muhoozi gweyasisinkye muntu mulala nnyo agwaana entebe y’obwa Pulezidenti. Lwanga yagira ku tiketi ya National […]
Ebifo ebyakirizibwa okukebera DNA biri 2 mu Ggwanga
Minisita w’ebyobulamu mu Ggwanga, Dr. Jane Ruth Aceng Ocero ayogeddeko eri Bannamawulire ku nsonga z’okukebera Ndagabutonde (DNA). Dr. Aceng agamba nti Uganda erina ebifo 2 byokka ebikkirizibwa okukebererwamu DNA nga kuno kuliko Government Analytical Laboratory (GAL)’ ne MBN Clinical Laboratories.