Aponye afudde abanja Gavumenti ssente za COVID – Tayebwa

Winnie Nwagi akubye omuwagizi amukutte ku bigere

Winnie Nwagi yavudde mu mbeera ku kivvulu e Masindi neyekandagga naava ku siteegi oluvannyuma lw’abawagizi okuva mu mbeera nebatandika okumukuba obuccupa. Kino kyaddiridde omuwagizi okugezaako okumukwatako bweyabasemberedde ngayimba ku kivvulu, Nwagi naava mu mbeera nayimiriza okuyimba olwo nabategeeza nti basaanye okumuwa ekitiibwa kuba ye si malaaya. Ono yatuuse n’okukuba omuwagizi omuzindaalo ku mukono.

COSASE yakutunula mu kwemulugunya kw’aba customer

Omubaka wa Nakawa West mu Palamenti era Ssentebe w’akakiiko ka COSASE, Joel Ssenyonyi ategeezezza Palamenti nti bafunye okwemulugunya okuva mu bantu ku nsimbi ekitongole ki National Water and Sewerage Corporation zekibaggyako awatali nsonga etegeerekeka, abamu ku bantu bagamba nti emyezi egimu baggyibwako ssente nyingi ku bipimo by’amazzi ebitakyuuse.

Gavumenti ereese omusolo omuggya ku mutimbagano

Gavumenti eriko omusolo omupya gwetuumye Digital Service Tax nga guno gwabitundu 5% ku kampuni ennene ezikolera mu ggwanga nga Facebook, Twitter, Google, Netflix ne Amazon okusobola okugaziya ku nnyingiza y’eggwanga. Kino kidiridde Pulezidenti Museveni okugaana okuteeka omukono ku tteeka lya Income Tax (Amendment Bill 2023) nga ayagala babeeko byebatereeza.

Katikkiro asisinkanye abaamu ba Ssaabasajja mu Ssaza Buvuma

Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abaami ba Kabaka mu Ssaza Buvuma. Abasabye bakomye okukaaba ebizibu, banoonye engeri gye babivuunukamu. Era emirimu gye bakola gyabwe, ssi gya bwannakyewa kubanga kyefaanaanyirizaako obuvunaanyizibwa bw’amaka, okulabirira amaka, okujjanjaba abaana.

Owa UPC awangudde akalulu k’e Oyam aba NRM batolotooma

Returning Officer, wa Disitulikiti y’e Oyam, Onoba Richard yalangiridde Munnakibiina kya Uganda Peoples Congress – UPC Eunice Otuko Apio ngomuwagunzi mu kifo kyokujjuza ekifo ky’Omubaka wa Oyam County North Constituency wakati mu mivuyo egyotobeseemu. #OyamNorthByelection

Gavumenti ebuliddwa ssente zokutegeka akalulu ka LC1 ne LC2

Minisita avunaanyizibwa ku Gavumenti ez’ebitundu Rapheal Magyezi avudde nategeezezza nga Gavumenti bwetalina ssente zakutegeka kulonda kw’aba Ssentebe b’ebyalo aba LC 1 ne LC 2. Kino kijjidde mu kiseera nga ekisanja kyabano kibulako ennaku 4 zokka okuggwako. Minisita Magyezi agamba nti betaaga obuwumbi 59 okutegeka okulonda kuno ezitaliiwo essaawa eno. Ono ayongeddeko nti engeri gyewatali ssente […]

Palamenti egaanyi KCCA okugula ettaka eryobuwumbi 370

Palamenti eragidde ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA okuyimiriza bunambiro enteekateeka zonna ezokugula ettaka eriweza yiika 10 erisangibwa mu Kisenyi nga zino zibalirirwamu obukadde bwa ddoola 100 bwe buwumbi 370 eza Uganda nga lino libadde ligenda kuteekebwako abasuubuzi. Palamenti egamba nti ssente zino nnyingi nnyo nti ate n’ettaka lyennyini […]

Poliisi ekutte abazannya obutambi obwobuseegu e Kawempe

Uganda Police Force ekutte abantu 4 lwakwenyigira mu kukwata obutambi bw’obuseegu. Kubakwatiddwa kuliko Farouq Kwezi ne mukyala we Molly Birungi bannannyini nnyumba awabadde wakwatibwa obutambi buno, Fahadi Kasaakye ng’ono mutuuze w’e Kawempe ne Richard Bukenya. Poliisi egamba nti Fahad yavunaanibwako ku misango gy’egimu era Poliisi egamba nti obujulizi bw’omusango guno omuli obupiira bugalimpitawa, eddagala ly’amaanyi […]

UNEB ezimbye ekizimbe ekipya e Kyambogo

Minisita avunaanyizibwa ku by’enjigiriza n’ebyamizannyo Hon. Janet Kataaha Museveni ettuntu lyaleero aguddewo mu butongole ekizimbe ekiggya ekyazimbiddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu Gggwanga ekya Uganda National Examinations Board-UNEB nga kino kiriko etterekero wamu offiisi ezenjawulo nga kiri Kyambogo mu Kampala.