Kansala eyakunga abavubuka okulemesa eyesimbyeewo okwewandiisa asindikiddwa ku alimanda

Eyaliko omubaka afiiridde mu kabenje

Kitalo! Eyaliko Omubaka akiikirira Erute North mu Palamenti eye 10 Hon. Angiro Gutomoi Abac Acon, afiiridde mu kabenje enkya yaleero okuliraana Olwio ku luguudo lw’e Nebbi emotoka ekika kya Toyota Noah mwe babadde batambulira bwegudde neyefuula Abantu 4 nebafiirawo mbulaga. Gutomoi abadde Awitong (Akulira ekika) kya Onywal Ipyeda.

Muloope aba UPDF abatambula nabamenyi b’amateeka

Omwogezi w’Eggye lya UPDF asabye Bannayuganda okulonkoma omusirikale wa UPDF yenna atambula n’obubinja bw’abamenyi b’amateeka ku byalo eri abakulu mu magye basobole okukangavvulwa. Kulayigye agamba ssi bakuttira musirikale yenna ku liiso asangibwa nga yeenyigira mu kutemula Bannayuganda ba alina okukuuma era anaakwatibwa wakuvunaanibwa ku kkooti y’Amagye.

Minisita Nabakooba akwasizza ab’e Bushenyi ebyapa

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Hon. Judith Nabakooba akwasizza abatuuze e Rwampara, Rugando Sub-County ku kyalo Bushenyi ebyapa by’ettaka kwebabeera era nababuulira akabi akali mukusalasalamu ettaka lyabwe. Abatuuze abasoba mu 6000 kati balina obwannanyini ku ttaka kwebabeera era nga basabiddwa okweyambisa omukisa gwebafunye ogwokufuna ebyappa ku ttaka kwebali kati okwekulaakulanya.

Radio Simba ejaguzza emyaka 25 nabaaliko abakozi baayo

Radio Simba Ffemwe Mweffe olunaku lw’eggulo yajaguzza okuweza emyaka 25 ngeyuguumya amayengo g’ebyempuliziganya nabaliko abakozi baayo wamu nabo abakyaliwo. Abaaliko abakozi basiimye nnyo Radio Simba olwo kubafuula kyebali olwaleero nga negyebuli kati eyo gyebayita babuuza Simba yadde nga baava dda ku mpewo.

Bwetwogera ku busobozi tuba tetusosola – Hon. Ssemujju

Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda: “Bwetwogera ku busobozi, tetukikola kuba tulwanyisa Abantu abamu. Bwoba olina Hon. Cecelia Ogwal ngatukiikirira ku mutendera ggw’ensi yonna buli omu ajja kuba musanyufu okusinga bwetulonda Abantu abalina obumanyirivu mu kukama ente.”

Owa UPDF asse Bannakenya ku nnyanja Nalubaale

Kitalo! Omusirikale w’eegye lya UPDF avudde mu mbeera naasindirira Bannansi ba Kenya 2 amasaasi agabatiddewo nga kigambibwa nti ono abadde abalaanga kuvubira mu mazzi agatali ga Nsi yaabwe. Bino bibadde ku mwalo gwa Sumba mu Ggombolola y’e Budalang’i e Busia ku nsalo ya Uganda ne Kenya. Abattiddwa ye Paul Owinyi ne Fred Majoni nga kigambibwa […]

Poliisi enywezezza ebyokwerinda mu Kikuubo

Abasirikale ba Uganda Police Force okuva mu kitongole eky’embwa ezikonga olusu ngabayita mu Kikuubo mu Kampala ngekimu ku byateereddwawo okwongera ku byokwerinda mu Kibuga Kampala oluvannyuma lwa Gavumenti ya Bungereza okulabula nti abatujju bandikuba Uganda awabi. Kati e Kikuubo kiggalwa ku ssaawa ssatu ez’ekiro.

Ababba amabaati twasigaza bameka – Hon. Ssemujju

Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda: “Bwentunuulira Hon. Rukia Nakadama ne Hon. Judith Nabakooba, bebamu ku bagabana amabaati g’e Karamoja, nze nno ndowooza bakyali abamu ku bavunaanibwa okuleka ng’emisango gyabagibwako. Twagala Palamenti etegeezeebwa ku ani akyavunaanibwa, era ani gwetulina okuyozayoza okusimattuka. Njakwewuunya nnyo ng’Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kakumiro (Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister) eyatwala amabaati […]

Gavumenti terina ssente zakuwola bayizi

Gavumenti amabanja gagiyinze buzito, nerangirira nti omwaka guno esazizzaamu eby’okuwola abayizi ssente z’okusoma ku matendekero agawaggulu. Gavumenti egamba nti amatendekero gagibanja obuwumbi 15 ate nga n’amakubo agavaamu ssente gaakuwammanta buwammansi. Enteekateeka eno yagunjibwawo mu 2014 okuyamba ku bayizi abatalina bulungi bisale by’amatendekero era guno gwe mulundi gwesoose okukosebwa.