Poliisi ekutte Director wa BLQ
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force Polly Namaye avuddeyo nategeeza nga bambega bayo olunaku olwaleero bwebakutte Munnansi wa China Yinghe Chen 43, nga mutuuze mu UCB Zone mu Bukoto 1, Nakawa Division mu Kampala. Kino kyaddiridde okunoonyereza okwakoleddwa aba National Cyber TaskForce ku bigambibwa nti Kkampuni ya Acclaim BLQ Sports SMC, ne kkampuni endala 5 […]
Kitalo! Abantu 3 bafiiridde mu kabenje e Kabale
Kitalo! Abantu 3 bafiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde ku kyalo Butare mu Disitulikiti y’e Kabale bbaasi ya Kkampuni ya Simba nnamba KCG 888F ngeno ebadde eyolekera Nairobi – Kenya ngeva Kigali ne Mercedes Benz nnamba RAF 036T ngebadde eva ku Kisaawe Entebe ngeyolekera Kigali. Akabenje kagudde ku luguudo lwa Katuna-Kabale-Mbarara.
Ssaabaminsita agumizza Bannayuganda ku bulumbaganyi obwakolebwa e Kasese
Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister agumizza Eggwanga nti mu bbanga ttono okuva kati Minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo Janet Kataaha Museveni wakwanjulira Eggwanga alipoota enzijuvu ku bulumbaganyi obwakolwa ku ssomero lya Lhubiriha secondary school e Kasese omwafiira abantu abasukka mu 40! Wabula omubaka wa Kira Municipality, Ssemujju Nganda amwambalidde bwategeezezza nti obuvunaanyizibwa obwo bwa Minisita wa […]
Mbabazi ayagala Bannayuganda basomesebwe okwagala Eggwanga lyabwe
Eyali Ssaabaminisita, John Patrick Amama Mbabazi agamba nti Bannayuganda abawangaalira ebweru w’Eggwanga betaaga okwongera okusomesa okwagala ensi yaabwe basobole okwenyeza obumu, okukuuma n’okutumbula erinnya lya Uganda mu nsi yonna. Kino Kiddiridde ekibinja kya Bannayuganda e Bungereza okuvaayo nebazingako wooteeri mweyali nga bakutte ebipande ebiriko obubaka obumulagira okudda e Uganda naye bamujjanjabire mu malwaliro gegamu agajjanjabirwamu […]
Poliisi ekutte abazigu abalumba mobile money e Mubende
Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga bwekutte abazigu abalumba edduuka lya mobile money ne ddipo ya soda e Mubende mwebakuulitira n’ensimbi eziri mu bukadde e 100 n’okutta omuserikale wa Poliisi Cpl Olaya Joseph eyali agezaako okubawondera. Kigambibwa abazigu bebamu era babba mobile money mu bitundu bye Kyengera nga okusinziira ku poliisi bano bakwatiddwa mu kiro […]
Poliisi ekutte omuvubuka eyewaanye okubeera owa ADF e Lugazi
Ekitongole kya Crime Intelligence nga kikolera wamu Uganda Police Force e Buikwe ekutte Kalanzi Resto ow’emyaka 25 omutuuze ku kyalo Nnamengo mu Lugazi Municipality eyalabikidde mu katambi akaasasanidde omutimbagano gwa TikTok nga yewaana nga bwali omuyeekera wa ADF era nga y’omu ku batirimbudde abaana b’essomero lya Lhubiriha Secondary School e Kasese. Okusinziira ku Poliisi ono […]
Eyawonyeewo mu bulumbaganyi bwa ADF alojja
Omuyizi Julius Isingoma okusimattuka abatujju ba ADF abalumbye ekisulo ky’abayizi mweyabadde alunyumya nga lutabaalo. Isingoma agamba nti yabadde Katonda eyamuyambye kuba yeesiize omusaayi gwa banne ku mimwa n’amatu awamu n’omutwe nga ayagala abatujju balowooze nti yabadde mufu era olw’ekisa kya Katonda akakodyo kano kakoze.
Kkooti eragidde admin okuzza mmemba ku WhatsApp group gweyaggyako
Omulamuzi weddaala erisooka owa Kkooti y’e Makindye Igga Adiru yalagidde Asinguza Allan Mutemba ngono yemuwawabirwa okuzza Baitwababo Herbert mu WhatsApp group gyemuggyamu mu bwangu emanyiddwa nga Buyanja my roots. Baitwababo agamba nti nga 16-May-2023 nga mmemba omuwandiise ow’ekibiina ekimanyiddwa nga ‘Buyanja my Roots’ yawandiikira Asinguza ngamusaba alage etteeka erimuwa obuyinza okutambuza emirimu gy’ekibiina ekyo wamu […]
Abavunaanibwa ogwokutta Magala basindikiddwa ku alimanda
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kampala Alex Ajiji asindise abantu 9 abagambibwa okuwamba n’okutta Suzan Magara mu 2018 ku alimanda mu kkomera okutuusa nga 20 omwezi ogujja omusango gwabwe lwegunaatandika okuwulirwa.