Sisobola kulekulira munuune ku vvu – IGG Beti Kamya

Omusumba eyakwatibwa ku lwokusobya ku mwana yejeerezeddwa

Kkooti e Luweero yejeerezza eyali Omusumba wa Luteete Archdeaconry esangibwa mu Luweero Diocese Rev. Canon Kezekiah Kalule 68, ku misango gyokusobya ku mwana atanetuuka ngomusango gumaze emyaka 5. Mu 2018, Kalule yakwatibwa ku misango gyokusobya ku mwana ow’emyaka 16 eyali yamuweebwa Jajja we okumulabirira nga yali aweererwa Compassion International ekibiina kyobwannakyeewa ekikolagana ne Church of […]

Paapa Francis asabidde abaana abatiddwa e Lhubiriha

Omutukuvu Paapa Francis akulembeddemu ekitambiro kya mmisa kyasabidde abayizi b’essomero lya Lhubiriha Secondary School e Kasese abaafiiridde mu bulumbaganyi obwakoleddwa abagambibwa okubeera abayeekera ba ADF. Emmisa eno yesoose bukyanga Paapa Francis asiibulwa okuva mu Ddwaliro asabye abantu okujjukira n’okusabira abantu abali mu lutalo e Ukraine. Bwatyo asabye Ensi ebukalemu emirembe.

Rugunda akiikiridde Pulezidenti Museveni e Russia

Eyaliko Ssaabaminisita wa Uganda Fr. Ruhakana Rugunda wamu n’abakulembeze okuva mu nsi za Afirika abalala olunaku lw’eggulo basisinkanye Pulezidenti wa Russia H.E Vladimir Putin nebogerezeganya naye ku ngeri gyebayinza okukomya olutalo wakati wa Russia ne Ukraine. Ensisinkano yabadde mu Saint Petersburg, Russia era Dr. Rugunda yeyakiikiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Ebibuuzo bingi ku bulumbaganyi bwe Kasese – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Waliwo abakuba enduula era bagikubira ani? Abebyokwerinda abaali okumpi bayanukula batya? Lwaki abantu baffe ku ludda lwa DRC tebafuna ku mawulire gakabinja kano akasigalira n’ebirala.” Bino abyogeredde mu kiwandiiko kyafulumizza ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku ssomero e Kasese.

Abafiiridde mu bulumbaganyi e Kasese kati baweze 50

Omuwendo gw’abantu abafiiridde mubulumbaganyi obwakoleddwa abayeekera ba ADF abaalumbye essomero lya Mpondwe Lubiriha Secondary School gulinnye okutuuka ku 50. Kino kidiridde eggye lya UPDF okuzuula emirambo emirala 9 mu nsiko eriraanyewo nga kiteberezebwa nti bebamu kwabo abaabadde bawambibwa abayeekera bano.

Abayokezza essomero bakukisasulira – Minisita Kataaha

Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza n’ebyemizannyo Janet Kataaha Museveni;”Waliwo ebigambibwa nti kirabika nti ekibinja kiri ekyali kyagala okwediza essomero kyandiba nga kyekyabadde emabega wobulumbaganyi buno. Wabula katulinde abebyokwerinda bamalirize okunoonyereza kwabwe. Ndi mu mativu nti abantu bano abomwoyo omubi bajja kunoonyezebwa era bakwatibwe. Bano bajja kusasulira kyebaakoze.”

Essomero eryalumbiddwa e Kasese lyazimbibwa Munnansi wa Canada – Minisita Janet

Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza n’ebyemizannyo Janet Kataaha Museveni; “Abaana 17 bebafiiridde mu kisulo nga emirambo gyabwe gyayokeddwa nnyo nga tebasobola kutegeerekeka. Essomero lya bwannanyini nga lyazimbibwa Munnansi wa Canada Peter Hunter. Yasindika ababalirizi b’ebitabo okuyita mu bitabo byessomero era nga omulimu gwawedde ku lwakuna wiiki eno. Waliwo ekibinja ekyali kyagala okutwala essomero lino wabula balemererwa […]

UPDF egumbye e Kasese ku ssomero eryalumbiddwa

Eggye lya UPDF livuddeyo ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku ssomero lya Mpondwe/Lubiriha SS e mu Muluka gwe Nyabugando, mu ggombolola y’e Karambi mu Disitulikiti y’e Kasese neritegeeza nti bassajja balyo batandise okuwenja omulabe buseenene okulaba nti abo abawambiddwa banunulwa wamu n’okufufugaza aakabinja kabalabe. Pulezidenti Yoweri kaguta alagidde Minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo okukwatira awamu nabaddukanya essomero okulaba nti […]

UPDF etumizza ennyonyi namunkanga okuwenja abayeekera abawambye abayizi e Kasese

Omuduumizi w’eggye lya UPDF ow’ekibinja kyomunsozi nekikwekweto kya Shujaa mu DRC Maj. Gen. Dick Olum bwabadde ayogerako eri abatuuze mu Disitulikiti y’e Kasese; “Tufunye amawulire nti abayekera bano basuze muno ebiro 2 nga tebalumba ssomero. Tutumizza ennyonyi namunkanga okujja zituyambeko mukunoonya wamu n’okununula abayizi abawambiddwa.” Abayeekera abasuubira okubeera aba ADF balumbye essomero lya Lhubiriha Secondary […]