Ani atategedde bubaka ku bonna? Kenzo agamba bbo tebasabiriza
Eddy Kenzo; “Wabula abafere muli bazibu Abatuyita ba beggars, bafulumila mu government budget every year, ate bafuna noomusaala monthly ela tebazigaanangako. Lwaki temuzigabila amalwaliro oba amasomero. Enyindo bwojinyigiriza enyo!! Banange mutuleke tulwanirire omulimu gwafe other wise tugenda yingira mu Politics’s wamwe direct. Mutuleke tutereze music omulimu mwagwonoona because mwaguyingizaamu eby’obufuzi fenna tunalya ku Politics? Mwe […]
Baminisita temulabikako mu Palamenti – Sipiika Among
Sipiika wa Palamenti Anita Among yemulugunyizza olw’omuwendo gwa baminisita omutono ogukiika mu ntuula za palamenti. Ono agamba palamenti lweyayisa embalirira y’eggwanga 2023/ 24 baminisita 5 bokka bebaali mu palamenti ku baminisita 83. #UGBUDGET23
Abantu b’omu Businga beyiye ku nguudo okwaniriza abantu baabwe
Enkumi n’enkumi z’abantu okuva mu Businga bwa Rwenzururu bakedde kweyiwa ku nguudo mu Disitulikiti y’e Kasese okwaniriza abakuumi b’Omusinga abaayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira gyebaali baggalirwa mu mwaka gwa 2016 ab’ebyokwerinda bwebaasalako olubiri lw’Omusinga nebamukwata awamu n’abakuumi be. Ku Lwokubiri lwa wiiki eno Ssaabawabi wa gavumenti y’aggye emisango gyonna egibadde givunaanibwa Omusinga n’abakuumi be […]
Ddereeva eyali agezaako okutomera owa Traffic asindikiddwa e Luzira
Isaac Mukwaya 35, Ddereeva eyakwatibwa ku katambi ng’agezaako okutomera omusirikale wa Poliisi y’ebidduka mu Kampala olunaku olwaleero asimbiddwa mu Kkooti y’omulamuzi wa Buganda Road navunaanibwa omusango okuli okuvugisa ekimama wamu n’okutyoboola amateeka ga traffic ngokuyita mu bitaala nga bimusibye. Ono asindikiddwa ku alimanda mu Kkomera e Luzira oluvannyuma lwokwegaana emisango gino. Ono wakuddizibwa mu Kkooti […]
Minisita Nabakooba atongozza pulojekiti ya Home Equals
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Hon. Judith Nabakooba olunaku olwaleero atongozza campaign etuumiddwa ‘Home Equals’ ku mukolo ogubadde ku woteeri ya Golden Tulip mu Kampala. Pulojekiti eno yatandikibwawo aba Habitat for Humanity Uganda (HFHU), ekitongole ekyobwannankyeewa ekiruubirira okulaba nti abantu 10,000 ababeera mu bifo ebyomugotteko mu; Kisenyi, Kamwokya, Mutungo-Bbiina ne mu Disitulikiti […]
Ssaabaminisita vva mu kuloota – Hon. Mpuuga
Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister, aweze akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Hon. Mathias Mpuuga Nsamba, obutaddamu kuyingira mu Ddwaliro lya Gavumenti lyonna ng’ataalaga ebitundu by’Eggwanga eby’enjawulo okulambula emirimu gya Gavumenti n’obuweereza. Nabbanja ekiragiro kino akiweeredde ku Ddwaliro lya Gavumenti ery’e Kawolo, Mpuuga gyeyali sabbiiti ewedde abasawo ne bamutegeeza nga bwebaali bagenda okwediima olw’obutafuna […]
Pulezidenti Museveni wakwogerako eri Palamenti enkya
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Bannayuganda naddala Abazzukulu, mbalamusizza. Kati enaku ziri 7 okuva lwenakeberebwa nensagibwa n’ekirwadde kya COVID-19. Nga bwenabategeezezza olunaku lw’eggulo nti nali siwulira bulwadde naye nali mpuliramu olusujjasujja. Mpulira nti kekaseera nveeyo mukweyawula. Wabula olwaleero nzizeemu okwekebeza era nga nkyalina COVID-19. Ekyomukisa Maama Janet Kataaha Museveni ye tamulina kuba tugoberera ebiragiro. Eyayogeddeko nange […]
Abakungu 6 okuva mu OPM bakwatiddwa
Offiisi ya Kaliisoliiso wa Gavumenti ekutte abakungu 6 okuva mu Office of the Prime Minister ku misango egyekuusa kukukozesa obubi offiisi wamu n’okubba ensimbi obuwumbi 8 ezaali ezokukola emirimu gyokuzza emirembe mu bitundu by’e Karamoja. Abakwatiddwa kuliko; Geoffrey Sseremba (Under secretary/ Accounting Officer), Deogratious Masigazi (Undersecretary/ Head of Department Pacification and Development Programme), Joshua Abaho […]
Poliisi ekutte ddereeva eyabadde atomera omusirikale
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga bwebakutte ddereeva w’emotoka nnamba UAZ 515C eyalabikira mu katambi nga agezaako okutomera omusirikale wa Poliisi y’ebidduka Katongole Josam ku luguudo lwa Kampala Road. Ddereeva ono ategeerekese nti ye Mukwaya Isaac era bweyakwatiddwa yagezezzaako okulimba abasirikale nti mulwadde ngatadde kkanula ku mukono. […]