FDC evudde mu kalulu k’e Bukedea

Siri muyi, babalimba – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nsambajja amawulire agatambuzibwa nga bwali omulwadde ennyo nga mu kadde kano ali mu kasenge k’abayi (ICU). Museveni asabye Bannayuganda bongera okumusabira kuba embeera eno wakugivvunuka era tali bubi.

Omulamuzi akalambidde okusoma ensala ye mukujjulira kwa Ham

Omulamuzi wa Kkooti Ensukkulumu mu Kampala Parcy Night Tuhaise avuddeyo nagaana okusaba kwa Hamis Kiggundu kwebadde ataddeyo ngayagala Kkooti ereme ku nsoma nsala yaayo kukujulira ye kennyini kweyateekayo ngawakanya ensala ya Kkooti mu musango gwa Hammis Kiggundu Vs DTB. Omulamuzi Tuhaise ategeezezza nti wakuwa ensonga ze lwaki agobye okusaba kwa Hamis ngamaze okusoma ensala ye.

Mumbere n’abalala 217 bagiddwako omusango gw’obutujju

Gavumenti eggye enta mu musango gw’obutujju gwebadde evunaana Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere wamu n’abalala 217. Wabula omuwaabi wa Gavumenti agamba nti Thembo Kasubire ne Mashereka Kamada bakusigala nga bavunaanibwa omusango guno.

Muyangwa yayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti

Omulamuzi wa Kkooti y’eddaala erisooka Kalungi Doreen ayimbudde eyaliko omubaka wa Kawempe South, Munnakiibiina kya Forum for Democratic Change Mubarak Munyagwa ne banne abalala bana ku kakalu ka Kkooti ka kakadde kamu ak’ensimbi ez’obuliwo bulyomu n’obukadde busatu eri abo ababeyimiridde ezitali zabuliwo. Wabula nga bano baakudda mu Kkooti nga ennaku z’omwezi 7/08 omwaka guno olwo […]

SP Irama ne Cpl Anyuse bakuvunaanibwa – Fred Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo navumirira ebikolwa by’abasirikale ababiri okuli owa Poliisi SP Irama Vincent wamu n’owa UPDF Cpl Anyuse Max Geoffrey abasiwuuka empisa nebenyigira mu ttemu lya Ronnie Mukisa olwa ssente ngono yali akola nga Clerk mu IBC Advocates. Enanga agamba nti ebikolwa by’abasirikale bano ababiri si kye kifaananyi ekituufu eky’ebitongole […]

Poliisi ezudde emmundu eyakozesebwa okutta Mukisa Ronnie

Uganda Police Force evuddeyo nefulumya ekiwandiiko kukuttibwa kwa Clerk Mukisa Ronnie 43, eyali akola ne IBC Advocates netegeeza ngabantu 4 bwebakwatiddwa okuli; Karedou Robert Irama, Mukyala we Nalwoga Brenda Cathy, Cpl Anyuse Max Geoffrey, omusirikale w’eggye lya @UPDF eyadduka e DRC neyefuula omukuumi wa Karedou, ne SP Irama Vincent, omusirikale wa Poliise akolera mu KMP […]

Omubiri gwa Kato Lubwamu gutwaliddwa ku National Theatre

Emiranga n’ebiwoobe bisaanikidde National Theatre omubiri gw’omugenzi Paul Kato Lubwama bwegubadde gutuusibwa mu kifo abantu okumukubako eriiso evvanyuma. Omubiri gwa Kato gugenda kusuzibwa wano ku Lwokubiri gugibwewo gutwalibwe e Nkozi olwo aziikibwe ku Lw’okusatu.

Oggwa Ddereeva w’esigga eddamuzi gwongezeddwayo

Oludda oluwaabi mu musango essiga eddamuzi mwerivunaanira ddereeva w’ekitongole kino, Stanley Kisambira okusiga obukyayi, lusabye kkooti ebongereyo wiiki endala 3 okuteekateeka obujulizi obumuluma. Kkooti omusango egwongezaayo okutuuka nga 11, omwezi ogujja.

Oluguudo lwa Matugga—Semuto—Kapeeka lugenda kudaabirizibwa

Kkontulakita y’okudaabiriza oluguudo lwa Matugga—Semuto—Kapeeka oluweza kiromita 41 eweereddwa Kkampuni ya Abubaker Technical Services & General Supplies Ltd, Munnanasi wa Uganda nga yakuwementa obuwumbi 217. Minisita avunaanyizibwa ku byenguudo Gen. Edward Katumba Wamala yakulembeddemu omukolo kwebakwasirizza Kkampuni ya Abubake Kkontulakira. Mu balala ababaddewo ye; Rt. Hon. Namayanja Rose Nsereko, Hon. Kyofa Kabuye, Hon. Sarah Namujju, […]