Omusirikale wa Poliisi akwatiddwa ku byokutta Mukisa Ronnie

Burora akunze Bannayuganda okugenda bawadiike obubaka obusaasira Pulezidenti

Burora Herbert Anderson enkya yaleero akedde kukunga Bannayuganda abalina omutima omusaasizi okugenda ku mulyango gwa State House e Nakasero okuwandiika obubaka obusaasira eri Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ssaako n’okumwagaliza okussuuka amangu ekirwadde kya COVID-19. Ono agamba nti obubaka busobola okuba obw’ebimuli, obuwandiika, kkaadi n’obuganzika okuliraana banner eteekeddwawo.

Buli omu genda owagira omuntu gwoyagala ku Alien ne Pallaso – Bobi Wine

Pulezidenti wa National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo ku kivvulu kya Pallaso ne AlienskinUg; “Olunaku lw’enkya nga 9 June, Abayimbi baffe abalungi balina ebivvulu byabwe. ALIEN SKIN kye kifaananyi ekituufu ekya Ghetto era ekyo ky’ekituufu kyetuli. Atubanja obuwagizi, okumwagala wamu n’okumuluŋŋamya. Pallaso mukwano ggwange nnyo, era amanja okumwagala. Mu 2018 […]

Pulezidenti Museveni agenda mu luwummula olwobuwaze

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nayagaliza Bannayuganda olunaku lw’abazira olulungi, wabula nategeeza nti ku lunaku olwokubira yatandika okufuna obubonero bwa ssenyiga, wabula teyabufaako kuba yalina enkiiko Entebe n’okukola ku kwogera kwe okwomuzinzi eri Eggwanga. Pulezidenti Museveni agamba; “Olunaku lw’enggulo ku nkya, obubonero bweyongedde mu ludda lw’ennyindo olumu olwaddyo. Wano nayise abasawo bange okunkebera balabe oba […]

Pulezidenti Museveni akwatiddwa COVID-19

Omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’Ebyobulamu Dr. Diana Atwine yavuddeyo nategeeza nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyakebereddwa nazuulibwa nti alina COVID-19 olunaku lw’eggulo. Dr. Atwine agamba Pulezidenti mugumu era wakusigala ngakola emirimu gye ngagoberera SOPs.

Hon. Ssegiriinya aduukiridde omwana alina ekizimba mu lubuto e Busia

Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Ssegiriinya Muhammad aka Mr. Updates aduukiridde omukyala Nandudu Immaculate okuva e Masafu mu Busia ng’ono agamba nti omwana we Nadunga Precious yakeberebwa nasangibwa nekizimba mu lubuto nga yetaaga okulongoosebwa era nga bamusaba obukadde 2. Amuwadde ssente agenda balongoose omwana ono.

Omukyala azaalidde ku luguudo e Gulu

Eunice Abere 27 omutuuze w’e Iriaga East mu Bardege-Layibi Division ku lunaku olwokusatu yazedde omwana mulenzi oluvannyuma lw’ebisa okumulumira booda booda nga atwalibwa mu Ddwaliro lya Gulu Regional Referral Hospital nazaalira ku mabbali g’oluguudo. Owa booda booda Maurice Odoch eyabadde asazeewo okumuyamba amufunire emotoka agafemulago  alojja kyeyayiseemu; “Embeera gyenayiseemu yabadde nzibu nnyo.Nagezezzaako okuyamba nenziruka mangu […]

Endowooza yange ku bisiyaga emanyiddwa – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Endowooza yange ku bisiyaga emanyiddwa bulungi. Lwaki omuntu afuuka omusiyazi? Kiba kya buzaale, butakwatagana mu busimu oba bwa birowoozo? Ensisinkano yaffe n’abasawo abamu kyatuleetera okukiriziganya nti kiva ku ku kuwubisibwa mu bwongo. Kino kyatutuusa ku kibuuzo, nti omuntu bwabeera mu mbeera eno alina kubonerezebwa? Nedda, beetaaga obuyambi. Etteeka kati ligamba nti […]

Ndabika nina corona – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Enkya yaleero nawuliddemu ngalina ssenyiga. Nakoze rapid Coronavirus test neraga nti simulina. Nazzeemu nenkola test endala 2 emu neraga nti nina ate endala neraga nti sirina. Kitegeeza nti wenjogerera mbalibwa mu bayinza okuba balina corona. Y’ensonga lwaki nzigidde mu motoka yanjawulo ne Maama Janet Kataaha Museveni.” #SONAUG2023

Mulekerawo okuwanvuya abasigansimbi – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Waliwo omusajja omugagga ngalina obugagga obusinga ne GDP ya East Africa. Nali ngezaako okumusikiriza okujja wano e Uganda. Eyali Ssaabaminisita mu kaseera ako Apollo Nsibambi namugamba nti: ‘olina okusooka okumpandiikira.’ Nemugamba mu Luganda nti; ‘Oyo omusajja tagenda kuwandiikira gwe’. Omala budde bwo. Bino ebyokwetolooza abasiga nsimbi birina okukoma.”