Ebikangabwa ebituukuwa biva kukujeemera Katonda – Pulezidenti Museveni

Bangambye abantu abamu abafuna ssente za PDM tebalina kuzifuna – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Bwenakyalidde ebitundu ebimu mu Uganda, bangambye nti ssente za PDM zaweebwa abantu abatalina kuzifuna, nga bano kuliko Bannabyabufuzi wamu n’abakozi ba Gavumenti. Bantegeezezza nti ne Minisitule y’ebyensimbi erwawo okufulumya ssente zino. Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda kakola era abawerako bakwatiddwa. Nange nzija okukola […]

Kitalo! Munnakatemba Kato Lubwama Paulo afudde

Kitalo! Eyaliko Omubaka wa Rubaga South era Munnakatemba Hon. Kato Lubwama afudde. Ono kigambibwa nti afudde kirwadde kya mutima bwabadde addusibwa mu Ddwaliro e Mulago enkya yaleero. Abantu ab’enjawulo batandise okweyiwa mu maka geyaliko Omubaka wa Lubaga South Hon. Kato Lubwama e Mutundwe mu Kampala. Bannabyabufuzi, ab’emikwano n’Enganda bakyagenda mu maaso okweyiwa mu maka g’omugenzi […]

Omusajja yetugidde ku muti e Kasubi

Abatuuze mu bitundu by’e Kasubi Masiro zone 3 baguddemu ekyekango enkya yaleero bwebakeeredde ku mulambo gw’omusajja atemera mu gy’obukulu 30 nga kigambibwa nti ono yeetugidde ku muti e Kasubi. Ono alabiddwa abayise ababadde bakedde okugenda okukukalabya egyabwe era nebatemya ku Poliisi.

Poliisi ekutte abasajja 5 mu kiro ekikeesezza olwaleero

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi y’e Katwe bwekutte abantu 5 abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka nga bano babadde batambulira mu motoka nnamba UBJ 267T. Oluvannyuma lwa Poliisi okutemezebwako yayanguye mangu okukwata bano netaasa obumenyi bw’amateeka obwabadde bugenda okubeerawo. Mu kikwekweto ekyakoleddwa ku Calender e Makindye, […]

Abalamuzi ba Kkooti Ejulirwamu bagumbye mu Kkooti Enkulu e Masaka

Abalamuzi okuva mu Kkooti ejulirwamu okuli; Omulamuzi Catherine Bamugemereire, Deputy Chief Justice Richard Buteera ne Lady justice Eva K. Luswata bali ku Kkooti Enkulu e Masaka okuwulira okujulira okwabasingisibwa emusango wakati wa 2013 ne 2015. Bano bakuwulira okujulira ku misango 30 egyobutemu 14, egyobubbi 6, okusobya ku baana abatanetuuka 8, negwokukaka omukwano 1.

Abasirikale ba UPDF abasimatuse obulumbaganyi e Somalia batwaliddwa mu malwiro

SRCC ne Head of the African Union Transmission Mission (ATMIS) Ambassador Mohamed El-Amine Souef, wamu nakola nga Ambassador Uganda e Somalia, Maj. Gen. (Rtd.) Nathan Mugisha, ne ATMIS Force Commander, Lt. Gen. Sam Okiding bakyalidde ku basirikale abali mu kufuna obujanjabi oluvannyuma lwokulumba olwakoleddwa ku nkambi ya Buulo Mareer Forward Operating Base (FOB) mu Lower […]

Nze nebwenvaako IGG addako ajja kufuna ebirungi byonna – IGG Beti Kamya

IGG Beti Kamya Turwomwe; “Abantu abamu baagala ndekulire olwa byenayogera, naye mukimanye nti ne IGG gwebanaleeta ajja kufuna emotoka eyo gyentambuliramu era ebinnya tajja kubiwulira. IGG addako ajja kutambulira mu Business Class, nga agenda emitala w’amayanja ago gemazima.”

Munyagwa asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira

Eyaliko Omubaka wa Kawempe South Mubarak Munyagwa asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga June 12, 2023 oluvannyuma lwokukwatibwa enkya yaleero ne banne 4 ku misango okuli; criminal trespass, malicious damage to property ne conspiracy to commit a felony. Munyagwa ne banne bakwatiddwa abasirikale okuva mu Kakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi aka Anti […]

Nze navuga Kasolo ne Lubega – Kalyango

Compriayam Kasolo ne Johnson Lubega bazzeemu okubalumiriza okwetaba mukutta Social Worker Maria Nagiriinya ne Ddereeva we Ronald Kitayimbwa mu 2018. Nassif Kalyango omuvuzi wa booda booda agamba nti yasasulwa emitwalo 5 okubavuga bano bombi. Ono era ategeezezza nti yabalaba bano bombi nga bavuga emotoka ya Nagiriinya.