Ffe enguzi terina wetukoseza – IGG Beti Kamya

Teri ajja kunemesa kunoonyereza ku NMS – Beti Kamya

IGG Beti Kamya Turwomwe “Nze IGG era ssemateeka ampa obuyinza okukola kino kyenkola. Oyo yenna agezaako okunemesa kanamujuutuka mu mateeka. Tutandise okunoonyereza ku National Medical Stores, Uganda – NMS oluvannyuma lw’abantu okuvaayo nebekubira enduulu ku bbula ly’eddagala mu malwaliro.”

Abazungu temugenda kututiisatiisa – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nategeeza nti Uganda tegenda kuzinira ku ntoli z’abazungu batuuke n’okubasibako amayisa gaabwe amasiiwuufu nga batiisatiisa okubasalako obuyambi. Pulezidenti Museveni agamba bwebanasala ku buyambi bagenda kutuula wansi bakendeeze ku nsaasaanya Eggwanga litambule bulungi.

Ekyetteeka ly’ebisiyaga kyawedde – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ; “: National Resistance Movement – NRM teyefuula, kyetukugamba emisana ne mukiro kyetujja okukugamba. Okuteeka omukono ku bbago lya Anti Homosexuality Bill 2023 kyawedde, TEWALI agenda kutukyuusa ku kino, twetegekere kyonna ekijja luno lutalo olutali lwabamitima minafu.”

Abamu abali mu MK Movement bannakigwanyizi – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nalabula nti abamu ku bantu abali mu kisinde kya mutabani we ekya MK Movement bwebali bannakigwanyizi abeenoonyeza ebyabwe. Pulezidenti Museveni yategeezezza nti; “Mujjukira bweyali ajaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 48, waliwo okujjumbira kw’abamu ku bavubuka. Bwe nakyekenneenya, nakiraba nti kyava ku bunafu bw’enkola yaffe. Nakiraba nti kyali kiwayi ekyewaggula ku National […]

Eddwaliro e Ssembabule litubidde n’omulambo

Eddwaliro erya Health Center IV mu Disitulikiti y’e Ssembabule litubidde n’omulambo ogumaze mu ggwanika ennaku 5 lwakubulwako bannyini ggwo ne webayinza okuguziika. Kino okubaawo kiddiridde abantu abawerako abazze bafiira ku ddwaliro lino nebabaziika mu luggya lw’eddwaliro wabula nga mu kiseera kino abakulembeze n’abatuuze bafa ekivundu.

Bobi Wine ne Mpuuga betabye mukuziika e Masaka

Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba, Omubaka Abedi Bwanika n’abalala betabye mukuziika Muzeeyi Bonny Steven Kasujja ku kyalo Nkalwe mu Disitulikiti y’e Masaka. Omugenzi yali musaale nnyo mu kutandikawo NUP.

Abalamazi okuva e Busoga batuuse e Namugongo

Bishop Charles Martin Wamika yakulembeddemu abalamazi abavudde e Jinja abasoba mu 5000 okujja e Namugongo era ono yagenda okukola omukolo ogw’okubayingiza ekiggwa ky’abajulizi gyebagenda okukulembereramu emikolo gy’olunaku lw’abajulizi omwaka guno. Abalamazi bano baatandika olugendo ku Mmande ya wiiki eno.

Abayizi ba University basiimye Pulezidenti ku tteeka ly’ebisiyaga

Abayizi abasoba mu 150 okuva ku Ssetendekero 13 mu Yuganda enkya yaleero batambudde mu mirembe okwolekera Palamenti okutwalayo ekiwandiiko kyabwe ekisiima Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olwokuteeka omukono ku bbago ly’etteeka lya the Anti-Homosexuality Act 2023 bano bagamba nti etteeka lino lyakutaasa omwana wa Afririka wamu n’ebiseera bya Afirika ebyomumaaso.

Munnamateeka akubiddwa amasasi agamutiddewo

Kitalo! Munnamateeka Ronnie Mukisa 45, akubiddwa amasasi agamumutiddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero e Kitiko Birongo mu Ndejje division, Makindye Ssaabagabo mu Disitulikiti y’e Wakiso. Mukisa, abadde akola ne IBC Advocates nga amusse amuteeze aggalawo ggeeti ya Apartment wabadde asula.