Nawangula obwa Pulezidenti mu 2016 – Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye

Kitalo! Omusirikale wa Poliisi akubye owa UPDF e Mbarara

Kitalo! Omusirikale wa Uganda Police Force e Mbarara kigambibwa avudde mu mbeera nakuba omusirikale wa UPDF amasasi agamutiddewo. Kigambibwa nti obutakkaanya bwabwe bubaluseewo nga bali mu Mbarara Police barracks wakati w’omusirikale wa Police Field Force Unit n’omusirikale UPDF.

Temumpeereza nnyimba zammwe nfuna ssente ezimmala – Minisita Babalanda

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Obwapulezidenti, Hon Milly Babirye Babalanda avuddeyo nasaba ba RDC neba RCC okukomya okumuguliriranga nga bamuweereza ssente ezitaliiko nsonga nnambulukufu lwaki bazimuwa. Ono abajjukiza nti mumativu n’omusaala gw’afuna nga teyeetaga muntu yenna kubaako kyamuwa. Okwogera bino abadde yeetabye mu musomo gw’aba RDC ogwategekeddwa mu bitundu by’e Kigezi ne Ankole okubabangula ku nkola […]

Gen Kayihura yomu kubagenda okuwummuzibwa mu maggye

Eyaliko Omuduumizi wa Uganda Police Force Gen. Kale Kayihura y’omu ku ba General ba UPDF abagenda okuwummula omwaka guno. Gen. Kayihura 67, y’omu ku basirikale 10 abagenda okuwummula emirimu gy’eggye ly’eggwanga mu July. Abalala kuliko; Maj. Gen. Sam Wasswa Mutesasira, Maj. Gen. Arocha Joseph, Brig. Steven Oluka, Brig. Augustine Atwooki, Lt. Col. Juma Seiko n’abalala.

Ennyonyi egudde e Kalongo mu Agago

Ennyonyi kika kya Skyvan category fixed wing, eremeredde omugoba waayo neegwa e Kalongo mu Disitulikiti y’e Agago. Abagoba bagiddwamu nga balamu nebaddusibwa mu Ddwaliro okufuna obujjanjabi. Amyuuka omwogezi w’eggye lya UPDF Col. Deo Akiiki ategeezezza nti ennyonyi eno siya UPDF.

Gavumenti egenda kwewola obwesedde 4 mu obuwumbi 4

Palamenti ekirizza Gavumenti okwewola obwesedde 4 mu obuwumbi 4 okusobola okubaako byemaliriza okuli n’okusasula emisaala wamu n’ensako. Okusaba kw’ensimbi zino ezenyongereza okuweereddwayo mu Minisitule y’Ebyensimbi wiiki ewedde kugidde mu alipoota y’Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku mbalirira esomeddwa mu Palamenti ebadde ekubirizibwa Sipiika Anita Among. Ku nsimbi zino Minisitule y’ebyokwerinda n’eggye lya UPDF betaagako obuwumbi 620, […]

Moses Muhangi asindikiddwa ku alimanda

Pulezidenti w’ekibiina ky’ebikonde mu ggwanga, Moses Muhangi asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuuka nga 31 May oluvannyuma lw’okugaanibwa okweyimiriwa mu Kkooti y’omulamuzi w’eddaala erisooka e Nakawa. Ono avunaanibwa emisango okuli okukujingirira ebiwandiiko.

Nasif alumirizza okuvuga Kasolo ne banne

Kalyango Nasif omu ku bavunaanibwa Omusango gwokutta Maria Nagirinya ne Ddereeva we Ronald kitayimbwa akawangamudde bwategezeza Kkooti nti kituufu yavuga Kasolo ne banne. Kasolo ne Lubega bwebabade bawa obujulizi bwabwe beeganye nti ono tebamulabangako.

Obuwumbi 43 mubukolemu enguudo okusinga okuziwa offiisi ya Pulezidenti – Hon. Ssemujju

Omubaka wa Kira municipality, Ibrahim Ssemujju Nganda ayagala ssente obuwumbi 43.7 eziraambikiddwa mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka 2023/ 24 okuweebwa woofiisi ya Pulezidenti okusaasanyizibwa ku mikolo emitongole egy’eggwanga zizibwe mukuddaabiriza enguudo mu bitundu bya Kampala ne Wakiso.

Omukuumi yekubye essasi mu Kampala

Kitalo! Omukuumi wa Kkaampuni ya SGA Security atanaba kutegeerekeka mannya yeekubye amasasi agamuttiddewo ku Mukwasi House, Lumumba Avenue. Uganda Police Force etutte omulambo gwe mu Ggwanika ly’eddwaliro e Mulago.