State House yafuuka kkolero nga tetumanyi – Hon. Ssemujju
Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda; “Bbiiru y’amasanyalaze ga Pulezidenti yabukadde 500 n’amazzi obukadde 500 ezisinga ne z’ekkolero eddene nga Roofings. Kyonna kyebakolera mu State House Allah yamanyi.” Bino abyogeredde mu Palamenti olunaku olwaleero bwebabadde basomera Palamenti alipoota y’Ababaka abatuula ku Budget Committee.
Abaffe State House yafuuka ffaamu nga tetumanyi? – Babaka
Alipoota y’Ababaka abatono abatuula ku Budget Committee; “Tuwa Pulezidenti obuwumbi 7 mu obukadde 800 nga zino zakugula ebikozesebwa mu bulimi, obuwumbi obulala 184 zabuweereza bukwatagana nabulunzi. Pulezidenti Museveni State House yagifuula ffaamu nga Bannayuganda tetumanyi? Palamenti erina okukakasa nti tutulabirira Ffaamu za Pulezidenti Museveni e Kisozi ne Rwakitura.”
Pulezidenti wa UNF Babirye ayimbuddwa
Pulezidenti wa Uganda Netball Federation (UNF), Babirye Kityo Sarah eyasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira nga 15-May ku misango gyokufuna ssente mu lukujjukujju obukadde 16 ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti olunaku olwaleero. Kityo omutuuze w’e Bukasa mu Wakiso asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road ne munne Zainab Namutebi 40, bwebavunaanibwa bayimbuddwa […]
Abatta Bannansi ba South Sudan basibiddwa mayisa
Abasajja 5 ababadde bawerennemba n’ogwokutemula Bannansi ba South Sudan baweereddwa ekibonerezo kyakusibwa mayisa nga balangibwa gwa kubba Bannansi ba South Sudan okuli Mohammed Abdallah ne Ibrahim Bakhit ensimbi obukadde kkumi nabubiri (12M) ate oluvannyuma nebabatta. Abasibiddwa kuliko; Nelson Oribitunga, Jacob Chothembo, Innocent Gumisiriza, Daniel Namara ne Abdul Karim Kabano.
Babirye Kityo akomezeddwawo mu Kkooti
Pulezidenti w’ekibiina ekitwala omupiira gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation, Hon. Babirye Kityo Sarah aleeteddwa mu kkooti ya Buganda Road okwewozaako ku musango gw’okujja ku bantu ssente mu lukujjukujju wamu n’okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa.
Ddereeva wa Judiciary Kisambira atwaliddwa mu Kkooti
Ddereeva w’ekitongole ekiramuzi Stanely Kisambira eyavaayo nayogera ku musaala ogumuweebwa omutono ogwe 235,000/= asimbiddwa mu Kkooti olwaleero navunaanibwa. Ono ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti nga wakuddayo nga 22 May. Ono yavaayo nakola obutambi obw’enjawulo nga yemulugunya wabula ye agamba nti obutambi buno yabuweereza ku mukutu gwaba Ddereeva ba Judiciary nti ye tabuweerezangako mu Bamawulire.
Lugoloobi lwaki togenda mu Ddwaliro nofuna obujanjabi – Hon. Ssemujju
Omubaka akiikirira Kira Municipality, Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda avuddeyo nawa Omubeezi wa Minisita ow’ebyenfuna avunaanyizibwa ku kuteekerateekera Eggwanga Amos Lugoloobi eyayimbulwa ku kakalu ka Kkooti ku nsonga ezekuusa ku bujanjabi okugenda afune obujanjabi nga bweyategeeza Kkooti. Ssemujju agamba nti Lugoloobi eyaweebwamu akalembereza ate bwebamulaba nga akiikirira Gavumenti eyamusiba kijja kulemesa banne abalala okuteebwa ku kakalu […]
Kitalo! Omukuumi akubye munne essasi e Tororo
Kitalo! Omukuumi wa Kkampuni eyobwannanyini eya Saracen Uganda Limited Moses Okedi akubye munne John Okudi amasasi agamutiddewo e Tororo oluvannyuma lw’okufunamu obutakkaanya nga bakuuma ekimu ku bifo ebisuulwamu ebya kampuni ya Tororo Cement Limited. Uganda Police Force ekutte Okedi n’omulala Robert Ejumu bagiyambeko mukunoonyereza ku kituufu ekyatuuseewo. Claire Adikin ngono mulirwana waabwe agamba nti awulidde […]
Kitalo! Eyaliko Minisita Okumu Ringa afudde
Kitalo! Eyaliko Omubeezi wa Minisita owa Public Service era nga yaliko Omubaka wa Padyere County mu Palamenti 2001 – 2006 Patrick Aloysius Okumu Ringa afudde enkya yaleero. Ono afiiridde mu maka ge e Naguru nga abadde mulwadde okumala akabanga okuva lweyakubwa Stroke emyaka 4 egiyise.