Minisita Nandutu addukidde mu Kkooti etawulula enkayana za Ssemateeka
Okuwulira Omusango oguvunaanibwa Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Agnes Nandutu ogwokubba amabaati 2000 agaali agabantu abayinike e Karamoja kutandise olwaleero ku Kkooti ewozesa abakenuzi n’abali b’enguzi. Oludda oluwaabi lubadde lwetegese n’abajulizi 2 wabula Bannamateeka ba Nandutu okuli aba Alaka & Co. Advocates and Nandaah Wamukoota & Co. Advocates nga bakulembeddwamu Caleb Alaka […]
Munnakibiina kya NUP abuziddwawo
Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nga akulira ebigenda ku mutimbagano mu Kibiina kya NUP Swaburah Ow’omukisa bweyawambiddwa abasajja ababadde babagalidde emigemerawala olunaku lw’eggulo mu ttuntu okuliraana amaka ge nga negyebuli eno tanamanyikako mayitire.
Omuzadde atabukidde ku Ssetendekero wa Kyambogo
Mukyala Lydia Nandala, omusomesa ku Nabuyonga Primary School mu Disitulikiti y’e Mbale olwaleero agumbye ku ssetendekero wa Kyambogo ngayagala bamubuulire lwaki muwala we yalemeseddwa okukola olupapula lweyaggwa omwaka oguwedde olwamulemesa okutikkirwa. Muwala we Patience Muyama, asoma Diploma in library and Information Science yalina okuddamu olupapula lweyaggwa mu February 2023 oluvannyuma lwobutatikkirwa mu December 2022, wabula […]
Pulezidenti Museveni alambula Greater Masaka
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero aguddewo mu butongole ettendekero lya Greater Masaka Industrial Skilling Hub. Ekifo kino kyakutendeka ku bwereere abavubuka abali wakati w’emyaka 18-35 okuva mu Disitulikiti 9 emirimu egyemikono.
Abalamazi babateereddewo olutindo okusala Katonga – Minisita Katumba Wamala
Minisita avunaanyizibwa ku by’enguudo n’entambula Gen. Edward Katumba Wamala avuddeyo nagumya abalamazi abakozesa oluguudo lw’e Masaka okudda e Namugongo nti bagenda kubateerawo olutindo olw’akaseera lubasobozese okusala omugga Katonga. Era asabye Bannayuganda okubeera abaguminkiriza nga Gavumenti bwekola kyonna ekisoboka okudaabiriza olutindo olwaggwamu okusobozesa eby’entambula okuddamu obulungi.
Minisita Muyingo atangazizza ku masomo agaggwako
Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa avuddeyo nategeeza; “Olweggulo lwaleero, Omubeezi wa Minisita ow’ebyenjigiriza avunaanyizibwa ku matendekero agawaggulu, Owek. John Chrysostom Muyingo yayanjudde ekiwandiiko ku ‘masomo agaggwaako’ n’atangaaza nti ebisaanyizo by’abayizi abamaze Ddiguli oba Ddipulooma ku pulogulaamu ezifunye okukkirizibwa nga tebinnabaawo, okusinziira ku mutindo n’ebiragiro ebitandikirwako ebya National Council for Higher Education (NCHE) bituufu. […]
Pulezidenti Museveni ali mu Greater Masaka
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni wakuggulawo mu butongole Greater Masaka industrial hub e Ndegeya mu Nyendo-Mukungwe Division mu Masaka City olwaleero. Pulezidenti Museveni ali mu Masaka nga agezaako okubunyisa enjiri ya Pulogulaamu za Gavumenti ezenjawulo eziteekeddwawo okukulaakulanya abantu okulwanyisa obwavu nga Emyooga ne Parish Development Model (PDM).
Kkampuni ya China etandise eddimu lyokuzzaaw olutindo ku mugga Katonga
Kkampuni y’aba China eya China Communications Construction Company Limited eyakwasiddwa eddimu ly’okuddaabiriza omugga Katonga ogwagwamu etandise kunteekateeka eno ng’etandikidde mu kuteekamu bigoma saako okuzimba bugwe okusobozesa abatambuza ebigere n’emmotoka entonotono okugira nga batandika okukozesa olutindo luno.
Ebikwekweto byababangibwa ebipapula bitandika nkya
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Polly Namaye avuddeyo nategeeza nga okutandika olunaku olw’enkya nga 25-May-2023 abasirikale ba Poliisi y’ebidduka bwebagenda okutandika okukwata ebidduka byonna ne ba Ddereeva abatasasulanga bipapula byangasi ebyabaweebwa. Ono ategeezezza nti era tabajja kulonzalonza kuwa bipapula byangasi eri ba Ddereeva bonna abatagondere mateeka gabidduka.