Ddereeva w’omulamuzi eyemulugunyizza ku musaala akwatiddwa

Wabwire yakirizza okutta Omuyindi era teyejjusa – Fred Enanga

Omusirikale wa Uganda Police Force Police Constable Ivan Wabwire avunaanibwa ogwokutta omuwozi w’ensimbi mu Kampala olunaku lw’eggulo yatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi nakirizza okutta Munnansi wa Buyindi nga agamba nti yali amulanga kumunyaga nga amubala omufuulo nti era tayejjusa kukikola. Wabwire yakwatiddwa Busia nga agezaako okufuluma Eggwanga okwolekera Kenya yatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya […]

Omwana waffe alina ekizibu ku bwongo- Aba Famire ya PC Wabwire

Famire y’omuserikale wa Uganda Police Force , PC Ivan Wabwire eyakubye omuyindi omuwozi w’ensimbi amasasi etegeezezza nga omwana wabwe bwalina ekikyamu ku mutwe era nga yali tasaana kuweebwa mulimu gwetaagisa kukwata mmundu. Kenneth Ojambo ng’ono ye taata wa Wabwire agamba nti mutabani we okuva mu 2008 abadde ajjanjabibwa ekirwadde ky’omutwe era nga byonna byeyakoze y’abadde […]

Eyekwata ku katambi nakateeka ku TikTok nga yerigomba n’omwana atanetuuka akwatiddwa

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakutte omusajja agambibwa okubeera nga muvuzi wa booda booda eyakwata akatambi nakateeka ku TikTok bweyali atigatiga omuwala atanetuuka. Ono atageerekese nti ye Joseph Ngoma nga kigambibwa nti yekwata ku katambi ngatigatiga omwana omuwala ow’emyaka 16 n’oluvannyuma akatambi nakateeka ku mukutu gwe ogwa TikTok. Enanga […]

Mbu nze mbulwe otulo olwokuba mutaddeyo ebifaananyi byenguudo embi! – Minisita Baryomunsi

Minisita avunaanyizibwa kukuluŋŋamya Eggwanga Dr. Chris Baryomunsi; “Nga Gavumenti, tumanyi kiki kyetulina okukola, oba obiteeka ku Social Media oba tobiteekayo. Sijja kubulwa tulo olwokuba batadde ekifaananyi kyekinnya ekiri mu luguudo. Nga Gavumenti tuzuukuka ku makya okugenda mu Woofiisi okukolera Bannayuganda. Tukimanyi nti waliwo abantu ebweru w’eggwanga abasasula abantu abo okusiiga Gavumenti ettoomi.”

Poliisi ekutte Wabwire

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omusirikale waabwe No.67029 PC Wabwire Ivan 30 eyakuba Munnansi wa Buyindi amasasi agamuttirawo ku Raja Chambers ku Parliamentary Avenue, UTTAM BHANDARI Director wa TFS Financial Services nga bamukukunudde mu Disitulikiti y’e Busia. Flying Squad Unit ngeri wamu ne Poliisi y’omu […]

Eyasse omuyindi emmundu yagibbye ku munne – Patrick Onyango

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Police Constable Ivan Wabwire, eyakubye omuwozi w’ensimbi amasasi olunaku lw’eggulo bweyali yawerebwa okukwata ku mmundu okumala emyaka 6 olwobuzibu bwobulwadde ku bwongo era nga abadde aweebwa emirimu egitetaagisa kubeera na mmundu nga n’olunaku lweyakubye omuyindi essasi yabbye ku munne emmundu bwebabadde […]

Ssaabasajja aguddewo empaka z’Ebika bya Buganda 2023

Emizira n’enduulu bibuutikidde ekisaawe kya Muteesa II e Wankulukuku Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwasiimye nalabikako eri Obuganda okuggulawo empaka z’omupiira gw’Ebika bya Buganda eza #bika2023.

Empaka z’Ebika bya Buganda zitandika lwaleero

Olunaku olwaleero empaka z’Ebika lwesitandika era nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda okugiggulawo mu Mutessa II Stadium e Wankulukuku. Ekika kye Nkima be Ngabi e Nsamba byebiggulawo mu mupiira ogw’ebigere n’okubaka. Katikkiro Charles Peter Mayiga yatuuse dda mu Kisaawe. #BikaCup2023 #KabakaWange

Abatuuze bakubye abasirikale ba UPDF abakola ne URA amayinja agabalumizza

Abasirikale ba UPDF abakola n’ekitongole ekivunaanyizibwa kukusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) balumiziddwa oluvannyuma lw’abatuuze ababadde babalemesa okubowa piki piki okubakuba amayinja bwebabadde bakola ekikwekweto olweggulo lwaleero