Baduukiridde abaana abatalina mwasirizi e Nakaseke

Ebibuuzo bingi ku wa Poliisi eyasse omuyindi – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Bannayuganda naddala Abazzukulu, nsaasira nnyo Abayindi olwokufiirwa omuntu waabwe Uttam Bhandari eyatiddwa omusirikale wa Uganda Police Police Constable Wabwire Ivan. Ensobi zonna ezakoleddwa nnyangu okulondoolwa. Okugeza ebibuuzo ebisookerwako; 1. Omusirikale atabadde ku mulimu olunaku olwo yatuuse atya okufuna emmundu? 2. Yafunye olukusa okuva wakuuma n’emmundu okugenda okuzza omusango? 3. Emmundu ziterekebwa […]

Town Clerk agambibwa okubba obukadde 414 addukidde China

Ryakarimira Town Council Assistant Town Clerk, Alex Ampeire, ngono kigambibwa nti yabulankanya obukadde bw’ensimbi 414.28 adduse mu Ggwanga nayolekera Eggwanga lya China okusinziira ku Anti Corruption Unit – State House Uganda eyeddizza okunoonyereza kuno. Ryakarimira Town Council esangibwa mu Ndorwa West County, mu Disitulikiti y’e Kabale. Kigambibwa nti Ampeire yaggya obukadde 105 okuva ku akawunti […]

Omusirikale wa Poliisi asse omuyindi abadde amubanja ssente obukadde 2

Owogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police, Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nti omusirikale waabwe Police Constable (PC) Ivan Wabwire yakubye omuwozi w’ensimbi ku Parliamentary Avenue mu Kampala amasasi agamutiddewo. PC Wabwire abadde alina loan 2 ezamuweebwa mu 2020. Kigambibwa nti PC Wabwire agenze mu offiisi y’omuyindi okumubalira ssente ezimubangibwa nga yazewola mu 2020. […]

Woofiisi ya Ssentebe wa NRM ewaddeyo obukadde 20 eri emipiira gy’Ebika

Woofiisi ya Ssentebe wa National Resistance Movement – NRM e Kyambogo ewaddeyo obukadde 20 okuwagira empaka z’Ebika by’Abaganda. Omuyambi wa Ssentebe, Hajjat Hadija Namyalo, yatuusizza obubaka buno ewa Katikkiro Charles Peter Mayiga. Katikkiro, “nkowoola aba NRM bajje bawagire ebika byabwe awatali kwekweka”.

Emirimu gisanyaladde mu Kibuga Lira ng’omulambo gwa Engola gutuusibwa

Emirimu gisanyaladde mu Kibuga Lira oluvannyuma lw’omubiri gw’omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’abakozi, emirimu n’ebyamakolero Col (Rtd) Charles Okello Engola Macodwogo, okutuusibwa mu nnyonyi namukanga ey’eggye lya UPDF eguggye e Kampala enkya yaleero ngesoose kwetoloola kibuga okulaga nti omubiri gw’omwana waabwe gutuusidde ku butaka. Abasuubuzi abawerako balabiddwako nga baggala amaduuka gaabwe okudduka okugenda ku kisaawe […]

Abakosebwa amataba e Kisoro bakuweebwa ssente

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku bigwa bitalaze, Esther Anyakun yagenda okukwasa famire ezakosebwa amataba mu Disitulikiti y’e Kisoro ssente ezaweereddwayo Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. Abafiirwa abantu baabwe bakuweebwa obukadde 5 buli famire ate abo abalumizibwa buli omu wakufuna akakadde kamu. Minisita wakukulemberamu ttiimu okugenda mu ttawuni y’e Chahafi mu Gombolola y’e Murora awali amaka agasoba […]

Amazzi gasazeeko oluguudo lw’e Masaka

Amazzi ganjadde mu mugga Katongo ku luguudo lw’e Masaka era oluvannyuma lwokuwabulwa Uganda Police Force abagoba basabiddwa ekitongole kya Uganda National Roads Authority -UNRA okweyambisa oluguudo lwa Mpigi—Kanoni—Maddu—Ssembabule—Masaka, okugenda e Masaka n’okudda e Kampala.

Omubiri gwa Minisita Engola gutwaliddwa e Lira

Omubiri gw’abadde Omubeezi wa Minisita ow’abakozi n’ekikula ky’abantu Trd. Col. Charles Engola guteereddwa mu nnyonyi ekika kya namunkanga ey’eggye lya UPDF enkya yaleero ku kisaawe e Kololo okutwalibwa e Lira ku kisaawe kya Lira Secondary School abakungubazi gyebagenda okugukubirako eriiso evannyuma. Oluvannyuma wano gujja kutwalibwa ku butaka mu Disituliki y’e Oyam gyagenda okuziikibwa.

Tusonyiye Pte Sabiiti – Engola Jr

Mutabani w’omugenzi Minisita Engola, Charles Engola Jnr ku lw’abaana b’omugenzi avuddeyo nategeeza; “Kitaffe yatusomesa okusonyiwa. Njagala okutwala omukisa guno okusonyiwa Pte Wilson Sabiiti.” Pte Sabiiti yakuba Minisita Engola amasasi agamuttirawo nga 2-May mu maka ga Minisita e Kisaasi. Okusinziira ku muganda w’omugenzi nga ye Samuel Engola agamba nti muganda we bamusanzeemu amasasi 28 agamukubibwa.