Omusuubuzi Kirumira akakasiddwa nga Honorary Consul wa Namibia mu Yuganda

Private Wilson Sabiiti siwakuziikibwa mu bitiibwa bya UPDF

Omwogezi w’eggye lya UPDF Brig. Felix Kulayigye avuddeyo nategeeza nga UPDF bwetagenda kuteekateeka kuziika mu bitiibwa by’amaggye Private Wilson Sabiiti eyatta Minisita Charles Okello Engola ate n’oluvannyuma naye neyetta. Kulayigye ategeezezza nti etteeka ly’amaggye teribakiriza kuziika muntu asse ate naye yetta.

Pulezidenti Museveni alonze Col. Edith Nakalema okukulira akakiiko akajja

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze Col. Edith Nakalema okukulira Col. Edith Nakalema State House Investors Protectorate Unit. Akakiiko kano kapya akatondeddwawo mu State House. Col. Nakalema yeyali akulira akakiiko akalwanyisa enguzi n’obukenuzi mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga.

Katikkiro awazezza emyaka 10 ngaweereza Obuganda

Emyaka 10 Katikkiro Charles Peter Mayiga gyamaze ngaweereza Obuganda; “Ensimbi eziyingizibwa mu Ggwanika lya Buganda zeeyongedde. Ettoffaali ly’avaamu obuwumbi 9 ne zikola bbugwe w’Amasiro g’e Kasubi ne Muzibaazaalampanga anaatera okuggwa. Oluwalo olwakavaamu nga obuwumbi 2. 2. Embalirira y’Obwakabaka erinnye n’etuuka ku bitundu 45%. Embalirira y’Obwakabaka erinnye n’etuuka ku bitundu 45%. Entambuza y’ebyensimbi etereezeddwa nga kati […]

Pulezidenti Museveni agenze Burundi

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero asitudde okwolekera ekibuga Bujumbura ekya Burundi gyagenze mu lukiiko olwokwata ku mirembe, ebyokwerinda n’enkolagana wakati w’amawanga agali mu mukago gwa East Africa wamu n’okuzza emirembe mu Democratic Republic of the Congo nga yayitiddwa H.E Évariste Ndayishimiye.

Minisitule y’Ebyobulamu netegefu okulongoosa mu buweereza

Minsitule y’Ebyobulamu evuddeyo nesiima obubaka bwonna obwaweereddwawo okuyita mu mwoleso gw’ebyobulamu mu Ggwanga ogwakoleddwa ku mitimbagano ogwa #UgandaHealthExhibition. Egumizza Bannayuganda nga bwebagenda okukola obutaweera okulaba nti ensonga ezayogeddwako zikolebwako mu budde okutumbula obuweereza bw’ebyobulamu. Minisitule esabye Bannayuganda okusigala ngabawaayo obubaka nga bayita ku mikutu gyayo emitongole era nesuubiza okutereeza mu budde.

Kitalo! Omuntu omu afiiridde mu kabenje e Mityana

Kitalo! Omuntu omu yafiiridde mu kabenje akawungeezi k’eggulo n’abalala 10 nebabuukawo nebisago ebyamaanyi Takisi mwebabadde batambulira nnamba UBH 141W nga yabadde eva Fort Portal ngeyolekera Kampala bweyayabise omupiira neggwa neyevulungula. Akabenje kagudde ku kyalo Kikumbi, ng’omukyala eyafudde tanategeerekeka kuba teyabadde nakiwandiiko kyonna yadde essimu era nga omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mityana. Kigambibwa nti […]

Njagala kumanya oba nga Ssemateeka awa Pulezidenti okutuma ba Minisita emirimu emirala – Hon. Ssemujju

Hon. Ibrahim Nganda Ssemujju; “Njagala kuzuula oba nga mu kawayiro 113 aka Ssemateeka, Pulezidenti awaabwe obuyinza okutuma Minisita emirimu emirala, olaba Pulezidenti asobola okutuma Minisita okuwerekera abaana be bwebagenda ku bubaga e Kigali oba ku bbiizi e Mombasa. Ekirala Pulezidenti alina abaana abawerako, tewewuunya enkya enkya ngatumye Hon. Ruth Nankabirwa okuwerekera muwala we ku bbiici […]

Abadde avunaanibwa ogwokutta ASP Kirumirwa ayimbuddwa

Kalungi Abubaker; omusibe yekka abadde yasigala nga avunaanibwa omusango gwokutta omusirikale wa Uganda Police Force ASP Muhammad Kirumira ne mukwano gwe Nalinnya ayimbuddwa Kkooti olunaku olwaleero ngegamba nti okunoonyereza Poliisi kweyakola kwali kwakiboggwe nga kuleetawo ebibuuzo bingi kwani yatta Abantu bano 2, era wa weyabattira nalwaki.

E Soroti maama aweereddwa olubimbi okulima asasule ebisale by’eddwaliro

Margret Iloku, 63, amaze wiiki 3 kati ngakoola nnimiro ya Nurse ku Ddwaliro lya Princess Diana Health Centre IV erisangibwa mu Kibuga Soroti oluvannyuma lwokulemererwa okusasula ebisale by’eddwaliro oluvannyuma lwamukamwana we okumuloongoosaamu omwana. Iloku, omutuuze w’e Tukum mu Disitulikiti y’e Soroti, yatuuka ku Ddwaliro nga talina ssente ngasuubira nti obuweereza bwali bwabwereere mu Ddwaliro lya […]