Pulezidenti Museveni awadde Famire ya Ichuli amataaba
Mukyala Jane Barekye ku lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yatwalidde Taata w’omugenzi Ibrahim Tusibira aka Isma Olaxess aka Jajja Ichuli, Hajji Muhammad Kasajja ne Maama we Hajjat Kasajja amataaba wamu n’obubaka obukubagiza. Ichuli yattibwa ku lw’omukaaga ekiro era naziikibwa enkeera ku Sunday e Nkokonjeru. Poliisi egamba nti yakakwata abantu 3 okuli nabadde Ddereeva we Waswa […]
Bobi Young ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti
Kkooti y’eggye lya UPDF etuula e Makindye olunaku olwaleero eyimbudde Agaba Anthony aka BOBI YOUNG ku kakalu ka kakadde kamu akobuliwo. Ono avunaanibwa omusango gwokusasaanya amawulire ag’obulabe.
Omukolo gw’okukungubagira Minisita Rtd. Col. Okello guli Kololo
Olwaleero Eggwanga lwe ligenda okukungubagira abadde Omubeezi wa Minisita ow’Abakozi n’Ekikula ky’abantu, Rtd. Col. Charles Patrick Okello Engola Macodwogo mu butongole ng’emikolo giri ku Kisaawe e Kololo nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yemukungubazi omukulu era nga amaze okutuuka ngawerekeddwako mukyala we Minisita Janet Kataaha Museveni. Abakungu ab’enjawulo mu Gavumenti webali. Photo Credit: Rogers Roja
Abantu 6 bakwatiddwa e Nabweru mu Wakiso kubyekuusa ku bbomu enkolerere
Omumyuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police, Luke Owoyesigire avuddeyo nategeeza nti baliko bbomu enkolerere zebazudde mu bitundu by’e Nabweru zaagamba nti zino zibadde zigenda kweyambisibwa mu kwekalakaasa olwaleero. Abakwatiddwa kuliko; Hamidu Ssekidde, Muhammad Kalyango, Abdul Katamba, Arafat Ssali, Emmanuel Asiimwe ne Hamidu Muyondi. Bano bagiddwa okuvwa e Nabweru mu Disitulikiti y’e […]
Abantu 3 bebakakwatibwa ku byokutta Isma – Enanga
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza ng’abantu 3 okuli Waswa ngono abadde Ddereeva wa Isma Olaxess aka Jajja Ichuli bagiyambeko mukunoonyereza ku kukuttibwa kwa Jajja Ichuli eyakubwa amasasi. Enanga agamba nti Isma eyamutta yakozesa basitoola.
Sirina lwenja kuvaayo kwogera ku bulamu bwa Kabaka – Katikkiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Siri musawo era si nze muntu alina okujanjaba Kabaka naye kyensobola okubakakasa nti buli Kabaka bwalwala afuna obujanjabi obwekikugu okuva mu basawo abasinga. Obulamu bwomuntu kiba kyaama kye era sirina lwenja kuvaayo okwogera ku byobulamu bwa Kabaka.” #KatikkiroMayigaAt10
Sirina bukuubagano bwonna na Nnabagereka – Katikkiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Kikyaamu okulowooza nti nina obukuubagano ne Nnabagereka wa Buganda. Saaliwo kukutongoza akatabo ke kuba nali ku luwummula lw’emirimu. Mmwe abasobodde okusoma akatabo mujja kukizuula nti nze nawandiika ‘forward’. Mpagira Maama Nnabagereka era mpagidde nnyo ppolojekiti ze omuli e Kisakaate.” #katikkiromayigaat10
Omusuubuzi Kirumira akakasiddwa nga Honorary Consul wa Namibia mu Yuganda
Omusuubuzi w’omu Kampala, Godfrey Kirumira era Ssentebe w’ekibiina kya Abagagga Kwagalana akakasiddwaa ng’Omubaka w’Eggwanga lya Namibia mu Yuganda “Honorary Consul”. Empapula ezimukakasa ku bukulu buno azikwasizza omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’eggwanga, Okello Oryem n’amusaba okunyweza obwasseruganda wakati w’amawanga gombiriri.
Private Wilson Sabiiti siwakuziikibwa mu bitiibwa bya UPDF
Omwogezi w’eggye lya UPDF Brig. Felix Kulayigye avuddeyo nategeeza nga UPDF bwetagenda kuteekateeka kuziika mu bitiibwa by’amaggye Private Wilson Sabiiti eyatta Minisita Charles Okello Engola ate n’oluvannyuma naye neyetta. Kulayigye ategeezezza nti etteeka ly’amaggye teribakiriza kuziika muntu asse ate naye yetta.