Poliisi ekutte ababbi ba piki piki e Lugoba

Kkooti egaanye omusomesa eyakwatibwa e Jinja ku nsonga y’ebisiyaga okweyimirirwa

Omulamuzi wa Kkooti y’e Jinja Agnes Musiime yataddewo olwa 4-May nga lwerunaku Kkooti lwegenda okutandika okuwulirako omusango oguvunaanibwa Omumyuuka w’Omukulu w’essomero lya PMM Girls’ SS Lydia Mukodha ne munne gwagambibwa okwegatta naye mu bikolwa ebyokuvuga empanka Martha Naigaga. Bano bakwatibwa nga 3-March oluvannyuma lw’abazadde okuvaayo nebalumba essomero ku bigambibwa nti bano baali bayigiriza abaana baabwe […]

Minisita Nandutu atuusiddwa ku Kkooti e Kololo

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Agnes Nandutu aleeteddwa ku Kkooti evunaana abakenuzi n’abali b’enguzi enkya yaleero okusomerwa emisango egyamuguddwako egyekuusa ku mabaati g’e Karamoja. Wabula ono okwawukanako ku banne azze musanyufu era teyekwese Bannamawulire alabiddwako ngabawubira nako.

Kitalo! Rtd. Lt. Col. Abdullah Nasur afudde

Kitalo! Eyali Governor wa Kampala Rtd. Lt. Col. Abdullah Nasur 77, afudde. Nasur yafiiridde mu Ddwaliro lya Victoria Hospital mu Kampala akawungeezi k’eggulo. Nasur, yali musirikale mu Uganda Army yazaalibwa mu 1946 e Nakatonya, Bombo, Uganda.

Basabidde omwoyo gwa Keith Muhakanizi

Offiisi ya Ssaabaminisita etegese okusaba okwenjawulo okwokwebaza olw’obulamu n’emirimu Katonda byakozesezza abadde omuteesiteesi omukulu mu Offiisi eno Keith Muhakanizi eyafa gyebuvuddeko nga yafiira mu Ggwanga lya Yitale. Okusaba kuno kukulembeddwamu Provost wa All Saints e Nakasero, Rev. Can. Rebecca Nyegenye.

Muhakinizi temujja kumuziika ku ttaka lyange, yalyezza – Bwambizo Geoffrey

Waliwo famire e Lyantonde eddukidde mu Kkooti Enkulu e Masaka ngewakanya ekyokuziika abadde Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Offiisi ya Ssaabaminisita Keith Muhakanizi ku ttaka lyebakaayanira. Geoffrey Bwambizo ataddeyo omusango mu Kkooti Enkulu e Masaka ngagamba nti Muhakanizi yatwala ettaka lye eriwereza ddala yiika 152. Waliwo n’omutuuze omulala Moses Kakuru akayinira ettaka lyerimu.

Minisita Nandutu atwaliddwa ku Poliisi ya Kira Division

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force CP Polly Namaye avuddeyo nategeeza nga Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Agnes Nandutu bwagiddwako sitaatimenti oluvannyuma lwekwetwala ku Poliisi ku misango eginoonyerezebwako okuli; ogwokukozesa obubi offiisi ye wamu n’okubba amabaati agaali ag’abantu abayinike e Karamoja. Namaye agamba nti Nandutu yaweereddwa bambega ba Poliisi okumuggyako sitaatimenti e […]

Minisita wa Kampala alagidde abakuba ebifaananyi byebinnya mu nguudo bakwatibwe

Hon. Mwijukye Francis (Buhweju MP) ngayakiikiridde akulira Oludda oluwabula Gavumenti ategeezezza Palamenti nga bweyewuunyizza Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala okuyisa ekiragiro ekifuula okukuba ebifaananyi by’ebinnya ebiri mu nguudo za Kampala omusango nga agamba nti bino kyakutiisa abalambuzi baleme kujja mu Ggwanga. Hon. Mwijukye ategeezezza Palamenti waliwo abantu abakwatiddwa olwokukuba ebifaananyi nasaba nti kino kigonjoolwe […]

Omumyuuka wa Attorney General yawandiikira Pulezidenti ngamusaba obutateeka mukono ku tteeka lyabisiyaga – Ho. Silwanyi

Omubaka wa Bukooli Central, Hon. Solomon Silwanyi avuddeyo nalaga obwenyamivu nga agamba nti Omumyuuka wa Attorney General Hon. Kafuuzi Jackson yawandiikira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ngamuwabula obutateeka mukono ku bbago lya Anti-Homosexuality Bill 2023 eryayisibwa Palamenti nga 21 March 2023.

Minisita Kasaija azizzaayo amabaati geyafuna

Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija olunaku olwaleero azzizzaayo amabaati ku sitoowa ya Offiisi ya Ssaabaminisita esangibwa e Namanve geyafuna ku g’e Karamoja nga akyalindirira ba mbega ba Uganda Police Force okugekebejja okulaba omutindo n’omuwendo gaagwo galyoke gakwasibwe abakuuma sitoowa.