UNRA efunye ebyuuma ebipya

Poliisi esabye buli gwebawambako ennangamuntu aggulewo omusango

Uganda Police Force evuddeyo nesaba Bannayuganda mwenna ng’ennangamuntu zammwe mwazikozesa ngomusingo oba nga zawambibwa okugenda ku Poliisi yonna ekuli okumpi ofune okuyambibwa. Poliisi egamba nti ekikolwa kyokuwamba, okutwala, okuwaayo oba okuggya ku muntu ennangamuntu ye ng’omusingo kimenya mateeka.

Minisita Nandutu yewaddeyo mu mikono gya Poliisi

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Agnes Nandutu yewaddeyo mu mikono gya bambega ba Uganda Police Force aboonyereza ku nsonga z’amabaati g’e Karamoja. Wetwogerera mu kaseera kano ali ku kitebe kyabambega e Kibuli akunyizibwa.

Minisita Kitutu ne Nagoya bayimbuddwa

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Dr. Mary Gorretti Kitutu Kimono wamu ne Mulamu we Nagoya Micheal Kitutu bayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti. Minisita Kitutu alagiddwa okusasula obukadde 10 obwobuliwo ate abamweyimiridde bbo obukadde 200 obutali bwabuliwo. Ye Nagoya alagiddwa okusasula obukadde 3 ezobuliwo abamweyimiridde obukadde 100 buli omu. Bano bakudda mu Kkooti nga 27-April-2023.

Abayizi e Makerere batandise okulonda, ebyokwerinda binywezeddwa

Abasirikale ba Uganda Police Force wamu n’eggye lya UPDF bayiiriddwa ku Ssetendekero e Makerere ng’abayizi bakuba akalulu okulonda Gulid President omuggya wamu n’abakulembeze abalala nga byonna bikoleddwa ku mutimbagano.

Minisita Kitutu akomezeddwawo mu Kkooti okusaba okweyimirirwa

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Mary Goretti Kitutu wamu ne mulamu we Nagoya Michael Kitutu baleeteddwa mu maaso g’Omulamuzi wa Kkooti evunaanana abali b’enguzi n’abakenuzi mu Kampala olwaleero. Minisita Kitutu asuubirwa okuleeta abamweyimirira abalala 2 abalina ebisaanyizo Kkooti byeyetaaga okusobola okumuyimbula ku kakalu kaayo.

Poliisi ekutte abakulu bamasomero e Mityana kubyekuusa ku mabaati

Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Mityana ekkute Abakulu ba masomero 2 nga bano ebalanga kuseresa mabaati agateeberezebwa okuba ag’e Karamoja ebibiina mu masomero gaabwe. Abakwatiddwa ye; Christine Nabukeera omukulu w’essomero lya Kitovu Primary School ne Enid Kunihira owa Bongole Primary School nga gano gasangibwa mu Ggombolola y’e Malangala mu Disitulikiti ye Mityana.