Attorney General bamututte mu Kkooti olw’etteeka ly’ebisiyaga

Nandutu omusango ogukuvunaanibwa tegulina buzibu – Mulamuzi

Omulamuzi wa Kkooti Enkulu ewozesa abakenuzi n’abali b’enguzi, Jane Okuo Kajuga agaanye okuyimiriza emisango egivunaanibwa Omubeezi wa Minisita Agnes Nandutu ku by’amabaati g’e Karamoja nga bweyali asabye nga ayagala Kkooti etaputa Ssemateeka esooke etunule mu misango egimuvunaanibwanga agamba tegitegeerekeka migazi nnyo. Omulamuzi ategeezezza nti Nandutu ave mukumalira Kkooti obudde nokuweza emisango mu Kkooti egitanawozesebwa.

Oluguudo lw’e Masaka lwakuggulwawo wiiki eno – Allan Ssempebwa

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority – UNRA kiwadde abakozesa oluguudo lwa Kampala – Masaka essuubi bwekitegeezezza nti mu wiiki eno abatambuza ebigere, ssaako ab’emmotoka entonotono okuli eza; buyonjo, takisi ne bbaasi bakuddamu okukozesa oluguudo luno oluvannyuma lw’okumaliriza okuddabiriza ekitunduku lutindo olwagwamu gyebuvuddeko. Bino bikakasiddwa omwogezi wa UNRA, Allan Ssempebwa […]

Ababaka mulekerawo okukozesa ssente zammwe okukolera abantu – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alabudde Ababaka ba Palamenti Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM abakungaanidde mu lusirika e Kyankwanzi okukomya okukozesa ssente zaabwe okukola ku bizibu by’abantu ebiri mu bitundu byebakiikirira nti kino kyakubakuba obwavu. Pulezidenti Museveni agamba nti omulimu gw’okukola ku bizibu bino gwa Gavumenti nabasaba bakole ekyabalonza.

Amerika esazizzaamu visa ya Sipiika – Hon. Basalirwa

Omubaka Asuman Basalirwa, eyavaayo naleeta ebbago lya Anti-Homosexuality bill 2023, agamba nti ekitebe kya Amerika kyawandiikidde Sipiika wa Palamenti nga kimutegeeza nga bwagaaniddwa okuddamu okugenda mu Amerika kuba visa gyabadde nayo yasaziddwamu oluvannyuma lwokwenyigira mukuyisa etteeka ku bisiyaga mu Yuganda.

Omubaka Ssegiriinya aduukiridde abaana Poliisi beyattira kitaabwe

Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Ssegiriinya Muhammad adduukiridde Famire ya Ssebugwawo James omutuuze mu Kakungulu Zone mu Kawempe North ngono muwagizi wa NUP agambibwa okukubwa Poliisi amasasi naafa naleka bamulekwa 5, olwaleero abawadde school fees ne mmere era nabagulira ne piki piki ebayambe okufuna ekyokulya.

Abalamazi abasoba mu 3000 bebasuubirwa okuve e Busoga

Weziweredde ssaawa 10 ez’olweggulo nga abalamazi 3000 bebakatuuka ku Lutikko ya St.Joseph e Rubaga mu Kibuga Jinja. Wano webagenda okuva ku ssaawa 11 ezokumakya batambule okutuuka e Namugongo. Essaza lya Keleziya erye Jinja lyerikulembedde okujaguza Abajulizi omwaka guno. Omusumba wessaza lino Charles Martin Wamika yagenda okusimbula abalamazi bano.

Omukunzi wa FDC Joram anoonyezebwa abebyokwerinda – Harold Kaija

Omumyuuka wa Ssaabawandiisi wa Forum for Democratic Change – FDC Harold Kaija avuddeyo nategeeza nga omukunzi waabwe e Fort Portal Joram Bintamanya bwawenjezebwa abebyokwerinda kwebyo ebyekuusa kubyeyayogera mukuziika omusirikale wa UPDF Pte Wilson Sabiiti eyatta mukama we gweyali akuuma Minisita Engola ebigambibwa nti byandiba nga byali bikaawa ngomususa. Joram yategeeza nti; “Bannayuganda bayala ate banyiivu…..”

Hon. Ssegiriinya aba IUIU abagulidde nte okubeebaza okulonda owa NUP

Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Muhammad Ssegiriinya aka Mr Updates avuddeyo nategeeza nga bwagulidde abayizi ku Islamic University in Uganda ente ngabasiima olwokulonda Munnakibiina kya NUP ku bwa Guild President.

Katikkiro n’abakungu abalala batuuse mu Seattle

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Twatuuse bulungi e Seattle, gye tugenda okusisinkanira abantu ba Beene abakuŋŋaanye okwetaba mu lukuŋŋaana lwa Buganda Bumu North American Convention, nga ku mulundi guno, tuzze okwaŋŋanga ekizibu ky’ebbula ly’Amazzi amayonjo mu Buganda.”