Swabrah Owomukisa yayimbuddwa

Kkampuni ezibunyisa amasanyalaze zigaseera nnyo – Pulezidenti Museveni

Omukulembeze w’Eggwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni alaze obwenyamivu eri Kkampuni ezaweebwa eddimu ery’okubunyisa amasanyalaze olwengeri gyeziwanikamu emiwendo gyamasanyalaze wagula neziremesa Eggwanga okutuuka ku kirubirirwa kyalyo. Pulezidenti bino yabyogeredde Kikagati-Murongo mu Disitulikiti y’e Isingiro bweyabadde aggulawo ebibiro ly’amasanyalaze erya Kikagati-Murongo Hydro Power Plant nga lino lya kufulumya amasanyalaze agaweza mega watts 14 okwongereza kwago getulina mu […]

Ettaka libumbulukuse e Bulambuli

Ekitongole ki Uganda Red Cross Society kivuddeyo nekitegeeza nga bwewabaddewo okubumbulukuka kw’ettaka e Bulambuli oluvannyuma lwa nnamutikwa w’enkuba. Abakozi baakyo badduse bukubirire okugenda okutaasa obulamu. Ebitundu ebikoseddwa kuliko; Buluganya ne Bumasobo nga bisangibwa mu Disitulikiti y’e Bulambuli.

Spice Diana lwaki wekubya ebifaananyi ngoyamba? – Bad Black

Shanitah Namuyimbwa aka Bad Black avuddeyo nayambalira omuyimbi Namukwaya Hajara aka Spice Diana bweyavuddeyo nateekayo ekifaananyi kyeyekubye nga agenze okulaba muyimbi munne Evelyn LAGU mu Ddwaliro; “Nandibadde njogera bingi naye kino kyekikolwa ekikyasinze obubbi ennyo kyendabye ku yintaneeti olwaleero olwokuba oli anooya erinnya ebitakola makulu. Ogwo gwemutima omubi ennyo oguli mu ddiba ly’omubiri ogutukula. Nze […]

Akakiiko ka Presidential Affairs kaagala Baminisita 3 bebaba bavunaanibwa ku by’amabaati

Akakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga zobwa Pulezidenti akakola kukunoonyereza ku nsonga z’amabaati g’e Karamoja kavuddeyo nekawa alipoota yaako mwekaweeredde ebiteeso byako nga kagamba nti ku Baminisita 15, 3 bokka bebaba bavunaana. Akakiiko kano kateekebwawo Sipiika Anita Among nga era naye yagabana ku mabaati gano nga yaweebwa amabaati 500. Akakiiko kateesezza nti Among eyazzaayo amabaati agamuweebwa alina […]

Abalamazi UNRA ebateereddewo olutindo basobole okusala Katonga

#KatongaUpdates Libadde ssanyu gyereere ng’ekibinja ekisooka eky’Abalamazi basala omugga Katonga ogwabbomoka nga wabula ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority – UNRA kyataddewo olutindo olwakaseera okusabozesa Abalamazi okusala okweyongerayo n’olugendo lwabwe nga boolekera Namugongo.

Minisita Nandutu addukidde mu Kkooti etawulula enkayana za Ssemateeka

Okuwulira Omusango oguvunaanibwa Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Agnes Nandutu ogwokubba amabaati 2000 agaali agabantu abayinike e Karamoja kutandise olwaleero ku Kkooti ewozesa abakenuzi n’abali b’enguzi. Oludda oluwaabi lubadde lwetegese n’abajulizi 2 wabula Bannamateeka ba Nandutu okuli aba Alaka & Co. Advocates and Nandaah Wamukoota & Co. Advocates nga bakulembeddwamu Caleb Alaka […]

Munnakibiina kya NUP abuziddwawo

Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nga akulira ebigenda ku mutimbagano mu Kibiina kya NUP Swaburah Ow’omukisa bweyawambiddwa abasajja ababadde babagalidde emigemerawala olunaku lw’eggulo mu ttuntu okuliraana amaka ge nga negyebuli eno tanamanyikako mayitire.

Omuzadde atabukidde ku Ssetendekero wa Kyambogo

Mukyala Lydia Nandala, omusomesa ku Nabuyonga Primary School mu Disitulikiti y’e Mbale olwaleero agumbye ku ssetendekero wa Kyambogo ngayagala bamubuulire lwaki muwala we yalemeseddwa okukola olupapula lweyaggwa omwaka oguwedde olwamulemesa okutikkirwa. Muwala we Patience Muyama, asoma Diploma in library and Information Science yalina okuddamu olupapula lweyaggwa mu February 2023 oluvannyuma lwobutatikkirwa mu December 2022, wabula […]

Pulezidenti Museveni alambula Greater Masaka

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero aguddewo mu butongole ettendekero lya Greater Masaka Industrial Skilling Hub. Ekifo kino kyakutendeka ku bwereere abavubuka abali wakati w’emyaka 18-35 okuva mu Disitulikiti 9 emirimu egyemikono.