Gavumenti egenda kwewola obwesedde 4 mu obuwumbi 4

Moses Muhangi asindikiddwa ku alimanda

Pulezidenti w’ekibiina ky’ebikonde mu ggwanga, Moses Muhangi asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuuka nga 31 May oluvannyuma lw’okugaanibwa okweyimiriwa mu Kkooti y’omulamuzi w’eddaala erisooka e Nakawa. Ono avunaanibwa emisango okuli okukujingirira ebiwandiiko.

Nasif alumirizza okuvuga Kasolo ne banne

Kalyango Nasif omu ku bavunaanibwa Omusango gwokutta Maria Nagirinya ne Ddereeva we Ronald kitayimbwa akawangamudde bwategezeza Kkooti nti kituufu yavuga Kasolo ne banne. Kasolo ne Lubega bwebabade bawa obujulizi bwabwe beeganye nti ono tebamulabangako.

Obuwumbi 43 mubukolemu enguudo okusinga okuziwa offiisi ya Pulezidenti – Hon. Ssemujju

Omubaka wa Kira municipality, Ibrahim Ssemujju Nganda ayagala ssente obuwumbi 43.7 eziraambikiddwa mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka 2023/ 24 okuweebwa woofiisi ya Pulezidenti okusaasanyizibwa ku mikolo emitongole egy’eggwanga zizibwe mukuddaabiriza enguudo mu bitundu bya Kampala ne Wakiso.

Omukuumi yekubye essasi mu Kampala

Kitalo! Omukuumi wa Kkaampuni ya SGA Security atanaba kutegeerekeka mannya yeekubye amasasi agamuttiddewo ku Mukwasi House, Lumumba Avenue. Uganda Police Force etutte omulambo gwe mu Ggwanika ly’eddwaliro e Mulago.

Mutawa ddi omulambo g’omwana waffe – Bazadde ba Pte Sabiiti

Ab’oluganda lw’omusirikale wa UPDF eyakuba Minisita, Charles Engola amasasi agaamuttirawo oluvannyuma naye neyetta, Pte Wilson Sabiiti bakonkomadde n’entaana gyebasima okuziikamu omuntu waabwe kati wiiki nnamba. Ab’oluganda lwa Sabiiti bagamba baali basuubira okuweebwa omubiri gw’omuntu waabwe oluvannyuma lw’okuziika Minisita Engola naye negyebuli eno tebagufunanga ate nga n’amaggye tegababuulira ddi lwegulibaweebwa.

State House yafuuka kkolero nga tetumanyi – Hon. Ssemujju

Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda; “Bbiiru y’amasanyalaze ga Pulezidenti yabukadde 500 n’amazzi obukadde 500 ezisinga ne z’ekkolero eddene nga Roofings. Kyonna kyebakolera mu State House Allah yamanyi.” Bino abyogeredde mu Palamenti olunaku olwaleero bwebabadde basomera Palamenti alipoota y’Ababaka abatuula ku Budget Committee.

Abaffe State House yafuuka ffaamu nga tetumanyi? – Babaka

Alipoota y’Ababaka abatono abatuula ku Budget Committee; “Tuwa Pulezidenti obuwumbi 7 mu obukadde 800 nga zino zakugula ebikozesebwa mu bulimi, obuwumbi obulala 184 zabuweereza bukwatagana nabulunzi. Pulezidenti Museveni State House yagifuula ffaamu nga Bannayuganda tetumanyi? Palamenti erina okukakasa nti tutulabirira Ffaamu za Pulezidenti Museveni e Kisozi ne Rwakitura.”

Pulezidenti wa UNF Babirye ayimbuddwa

Pulezidenti wa Uganda Netball Federation (UNF), Babirye Kityo Sarah eyasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira nga 15-May ku misango gyokufuna ssente mu lukujjukujju obukadde 16 ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti olunaku olwaleero. Kityo omutuuze w’e Bukasa mu Wakiso asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road ne munne Zainab Namutebi 40, bwebavunaanibwa bayimbuddwa […]

Abatta Bannansi ba South Sudan basibiddwa mayisa

Abasajja 5 ababadde bawerennemba n’ogwokutemula Bannansi ba South Sudan baweereddwa ekibonerezo kyakusibwa mayisa nga balangibwa gwa kubba Bannansi ba South Sudan okuli Mohammed Abdallah ne Ibrahim Bakhit ensimbi obukadde kkumi nabubiri (12M) ate oluvannyuma nebabatta. Abasibiddwa kuliko; Nelson Oribitunga, Jacob Chothembo, Innocent Gumisiriza, Daniel Namara ne Abdul Karim Kabano.