Lukwago ne banne bali mu katemba – Nandala Mafabi
Ssaabawandiisi wa Forum for Democratic Change – FDC ekiwayi ky’e Najjanankumbi Nathan Nandala – Mafabi: “Tukitegeddeko nti wabaddewo olukiiko lwabonna olwa FDC era nebayisa n’ekiteeso. Twagala okuluŋŋamya bwetuti: FDC kibiina ekyawandiisibwa mu mateeka n’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission of Uganda, nga nabamu kwabo abeyita abakungu mu kibiina kino tebalina offiisi yonna mu FDC. […]
Amb. Henry Mayega atandise okunoonyerezebwako – Minisita Oryem
Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’Eggwanga Henry Okello Oryem, akakasizza ekyokulagira Omubaka wa Uganda mu Ggwanga lya United Arab Emirates (UAE), Amb. Henry Mayega okusooka addeko ebbali nga bwanoonyerezebwako ku bigambibwa nti yagula ebyuuma bya zzaala nebitikkibwa okuva mu Ggwanga lya Russia okutwalibwa e UAE nga ebintu ebyomugaso eri ekitebe kya Uganda nebafundikira nga […]
Poliisi ekutte Luggya Bbisa Tabula
Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nakakasa nga bwebakutte Luggya Bbosa Tabula nga ono ye muntu omukulu abadde anoonyezebwa mu ttemu eryakolebwa ku eyali omukulu w’Ekika ky’Endiga Engineer Daniel Bbosa. Poliisi egamba nti ono akwatoddwa olunaku olwaleero okuva ku Kyalo Kimerika-Nnamulonge mu Ggombolola y’e Busukuma nga akwatiddwa ekitongole kya Poliisi ekya Crime Intelligence […]
Abakulembeze ba Palamenti bagaanye okuteeka ekiteeso kyange ku order paper – Hon. Ssekikubo
Omubaka Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga County) avuddeyo nategeeza Palamenti nti wandibaawo ekkobaane okulemesa ekiteeso kye ekyokuggya obwesige mu Bakamisona ba Palamenti 4 abegemulira akasiima ka kawumbi 1 mu obukadde 700 kuba Obukulembeze bwa Palamenti bukyagaanye okukiteeka ku Order Paper so nga enaku 14 mwekirina okuleetebwa mu Palamenti okuteesebwako ziggwako ku bbalaza nga 19-August-2024 so nga olunaku […]
National ID ezaweddeko zakusigala nga zikola – Minisita Muhoozi
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga zomunda Ggwanga Gen. David Muhoozi avuddeyo nategeeza nti Gavumenti eyongezzaayo ebbanga ennangamuntu lwezinagwako. Ennangamuntu obukadde 15 mu emitwalo 80 zezibadde zirina okuggwako omwaka guno nga kati zakusigala nga zikola okutuusa mu December 2025. #ffemmwemmweffe
Mawanda talina musango bamuwalana lwakumpagira – Gen. Muhoozi
Mutabani wa Mukulembeze w’Eggwanga era Omuduumizi w’Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X: “Mukwano ggwange Michael Mawanda Maranga (akiikirira Igara East mu Disitulikiti y’e Bushenyi) ali mu kkomera (balowooza nti tujja kusirika ebbanga lyonna) nga abantu ababbye ssente z’Eggwanga ebyasa nebyasa bakyali Baminisita!? Muzeeyi alina okuwulira omulanga gwaffe ogw’enkyuukakyuuka. Mawanda […]
Omwami w’Essaza Bugerere atuuziddwa wamu n’Abamyuka be atuuziddwa
Omwami w’Essaza Bugerere atuuziddwa wamu n’Abamyuka be atuuziddwa ye Samuel Ssemugooma Ssengooba, Omumyuka we asooka Hajji Bashir Ziraba, n’Omumyuka Owookubiri, Mugerwa Patrick. Obulombolombo n’emikolo egy’obuwangwa egigendera ku mukolo gwokutuuza omwami wa Kabaka, gyonna gigobereddwa. Bwabadde atuuza Mugerere, Minisita Joseph Kawuki entanda gyamusibiridde agyesigamizza ku makulu g’effumu ng’ekimu ku byokulwanyisa ebikozesebwa mu kutaasa Nnamulondo. Muno mulimu, […]
Eyasobya ku muyizi w’e Kyambogo yasooka kwekatankira Viagra
Omuwaabi wa Gavumenti avuddeyo nategeeza Kkooti olunaku olwaleero nti omusomesa ku Ssetendekero wa Kyambogo Dr. Eron Lawrence eyasobya ku muyizi atanetuuka alina obuzibu bwokulaba yasooka kumuteekera biragalalagala mu byokunywa nga tanamusobyako. Era ategeezezza Kkooti nti ono yagenda mu maaso neyekamirira eddagala lya Viagra okusobola okutengerera. Bya Christina Nabatanzi #ffemmwemmweffe
KCCA muzzeeyo kasasiro wammwe – Mmeeya Fabrice
Mmeeya wa Entebe Municipality Fabrice Rulinda akulembeddemu Abakiise ku Lukiiko lwa Entebe Municipality okugaana ebimotoka bya kasasiro ebibadde byolekera e Nkumba okuyiwayo kasasiro. Rulinda agamba nti endagaano eyakoleddwa wakati wa Kampala Capital City Authority – KCCA ne Katabi Town Council kukweyambisa ekifo ky’e Nkumba awayiirwa kasasiro si ntuufu. Ono agamba nti ettaka eriweza yiika 14 […]