Minisita Kitutu ne Nagoya bayimbuddwa

Abayizi e Makerere batandise okulonda, ebyokwerinda binywezeddwa

Abasirikale ba Uganda Police Force wamu n’eggye lya UPDF bayiiriddwa ku Ssetendekero e Makerere ng’abayizi bakuba akalulu okulonda Gulid President omuggya wamu n’abakulembeze abalala nga byonna bikoleddwa ku mutimbagano.

Minisita Kitutu akomezeddwawo mu Kkooti okusaba okweyimirirwa

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Mary Goretti Kitutu wamu ne mulamu we Nagoya Michael Kitutu baleeteddwa mu maaso g’Omulamuzi wa Kkooti evunaanana abali b’enguzi n’abakenuzi mu Kampala olwaleero. Minisita Kitutu asuubirwa okuleeta abamweyimirira abalala 2 abalina ebisaanyizo Kkooti byeyetaaga okusobola okumuyimbula ku kakalu kaayo.

Poliisi ekutte abakulu bamasomero e Mityana kubyekuusa ku mabaati

Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Mityana ekkute Abakulu ba masomero 2 nga bano ebalanga kuseresa mabaati agateeberezebwa okuba ag’e Karamoja ebibiina mu masomero gaabwe. Abakwatiddwa ye; Christine Nabukeera omukulu w’essomero lya Kitovu Primary School ne Enid Kunihira owa Bongole Primary School nga gano gasangibwa mu Ggombolola y’e Malangala mu Disitulikiti ye Mityana.