Abakirizza balwanidde ettaka e Kayunga

Bannakibiina kya NUP 34 basimbiddwa mu Kkooti e Kanyanya

Bannakibiina kya National Unity Platform 34 okuli n’Ababaka Derrick Nyeko ne Muwada Nkunyingi, olunaku olwaleero basimbiddwa mu Kkooti y’Omulamuzi w’e Kanyanya William Muwonge nebavunaanibwa emisango okuli; ‘common nuisance’ ne ‘malicious damage to property’. Abavunaaniddwa emisango bajegaanye, bano bakwatibwa ku bbalaza abebyokwerinda bwebakwata abawagizi bakwatidde NUP bendera mu kalulu ka Kawempe North Elias Luyimbaazi Nalukoola. #ffemmwemmweffe

Gavumenti tevunaanyizibwa ku bikolwa bya bebyokwerinda mu kalulu e Kawempe – Minisita Bahati

Gavumenti evuddeyo neyesamba efujjo erikolebwa abebyokwerinda abambala ebyambalo ebiddugavu ebya JATT mu kalulu ka Kawempe North netegeeza nti ebyokukuba Bannansi Gavumenti terina gweyalagidde kukikola. Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byobusuubuzi n’amakolero David Bahati bino yabitegeezezza Palamenti nategeeza nti oyo yenna eyenyigira mu bikolwa bino wakuvunaanibwa nga muntu. Bahati abadde ayanukula okwemulugunya okuleeteddwa Ababaka ku ludda oluvuganya […]

Waliwo abefuula Abasumba emisana ekiro nebafuuka abasawo bekinaansi

Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nategeeza nti Bannayuganda bangi banyagiddwa abasumba b’Abalokole abafere okwo gattako abasawo abekinaansi ababbako obukadde n’obukadde bw’ensimbi. Kituuma ategeezezza nti okunoonyereza kwebakakolawo kulaga nti abafere bano bajja nga basumba emisana olwo ate ekiro nebafuuka abasawo abekinaansi. Ebifo mwebakolera bino mulimu amasabo nti era bebaba bafeze bwebagezaako okubanja ebintu […]

RDC addizza Obwakabaka e kizimbe mwabadde akakkalabiza emirimu gya Gavumenti.

E kizimbe ekyogerwako kiri Mityana ku mbuga ye Ssaza Ssingo, e bbanga ddene kibadde kikozesebwa nga e kakkalabizo lya Ababaka ba Pulezidenti e Mityana newankubadde Omukulembeze w’Eggwanga yali yalagira ebitongole bya Gavumenti byamuke ebizimbe by’obwakabaka oba basasule obusuulu obw’obupangisa. Olwa leero RDC we Mityana Mukiibi Joseph, atadde mu nkola ebyakkaanyizibwako mu ndagaano eyakolebwa wakati wa […]

Machete ali mu mbeera mbi nnyo – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nti olunaku olwaleero bakyalidde ku Munnakibiina Yasin Ssekitooleko aka Machete eyaddusiddwa mu Luzira Prison’s Murchison Bay Hospital ngali mu mbeera mbi ddala. Machete yagaana okuddamu okulya akantu konna kati okumala enaku 7 ngawakanya ekyokuba nti ye ne banne bakyakuumirwa mu Kkomera e […]

Abakulembeze muyambe ku bantu okuva mu bwavu – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nategeeza nti ebiseera bingi ajjukiza Abakulembeze nti obwavu bulina kulwanyisibwa nakusomesa bantu ku ngeri gyebayinza okugaggawalamu. Ayongeddeko nti abamu bamulinda kuva Kampala, so nga bebali okumpi ennyo n’abantu. Agamba nti emikisa gyokugaggawala wegiri mingi nnyo era balina okukozesa omukisa ogwo bulungi nnyo. “I have always reminded leaders that poverty should […]

Pulezidenti Museveni atongozza Ankole Presidential Skilling Hub

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero atongozza Ankole Presidential Skilling Hub esangibwa e Kashari, mu Disitulikiti y’e Mbarara. Pulezidenti ategeezezza nti kirungi nnyo okulaba nti hub zino zitandise okuteekawo demonstration farms ezijja okusomesa Abavubuka okukozesa ettaka lyebalina okufuna ensimbi. #ffemmwemmweffe

Achilleo, Gadafi ne Wakabi bavunaaniddwa gwa bubbi

Bannakibiina kya National Unity Platform okuli; Achilleo Kivumbi, Gadafi Mugumya ne Grace Wakabi Smart basimbiddwa mu Kkooti e Masaka navunaanibwa omusango gwobubbi nga bakozesa eryanyi wamu nga bakozesa ejjambiya. Bano bavunaaniddwa okubba emitwalo 20 wamu ne sweater eyakiragala. Babasindise ku alimanda mu kkomera e Masaka okutuusa mu March 2025. #ffemmwemmweffe

Eyali owa NRM Hajat Hanifah yasoose okusunsulwamu e Kawempe

Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent @Electoral Commission Uganda katandise okusunsula abegwanyiza entebe y’Omubaka wa Kawempe North era nga asoosewo ye Hajat Hanifah Kalaadi ngono yomu kubawakanya ekyokuwa Hajat Nambi Faridah bendera ya National Resistance Movement – NRM nga agamba nti enkola yali ya mankyoola nga Nambi si mutuuze w’e Kawempe. Bya Amayiko Martin #ffemmwemmweffe