Tuleera etomedde ekizimbe e Mukono

Omuntu osobola okuweza emyaka 64 nga tokutte ku kakadde? – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Waliwo abantu abaavu ennyo nga tebakwatanga ku kakadde ka nsimbi. Abantu bangi mu bamgambye nti tebakwata nga ku kakadde ka nsimbi. Wewuunye nti ku myaka 64 waliwo abantu abatakawatanga ku kakadde ka nsimbi!” #ffemmwemmweffe

Omuvubuka yekumyeeko omuliro ku Palamenti

Omuvubuka ategerekese nti ye Benjamin Agaba, yekumyeeko omuliro mu maasa ga Palamenti enkya yaleero nga agamba nti tafunye buyambi bwonna okuva mu kibiina kyawagira ekya National Resistance Movement – NRM. Ono agamba nti abawagizi ba National Unity Platform bayonoona ebintu byabwe nebabaleka nekitaawe nga tebalina wakusula lwakuwagira NRM. #ffemmwemmweffe

Ekibonerezo ekyaweebwa Kiiza kyakisa nnyo – Muwaabi wa Gavumenti

Kkooti Enkulu mu Kampala esindise Munnamateeka Eron Kiiza ku alimanda mu Kkomera e Kitalya okutuusa ku bbalaza nga 3-March-2025 oluvannyuma lwa Kkooti okujjuliza Attorney General nti yalemererwa okwanukula ebibuuzo bya Bannamateeka ba Kiiza. Gavumenti newakanya ekibonerezo ekyaweebwa Kiiza kyali kyakisa nnyo ekyemyezi 9 ngegamba nti omuntu ayisizza olugaayo mu Kkooti y’Amaggye abeera alina okusibwa emyaka […]

Basaalidde Omulangira Dauda Ggolooba

Abakungubazi abenjawulo betabye mu Salat al-Janazah ku Muzigiti e Kibuli ey’Omulangira Dauda Ggolooba, mutabani wa Kabaka Muteesa II, eyaseeredde ku Sande mu Ddwaliro e Nsambya mu Kampala. Mubetabyeemu kuliko; Katikkiro Charles Peter Mayiga, Abalangira Kassim Nakibinge, Crispin Jjunju, David Kintu Wassajja n’abalala okuva mu Bwakabaka bwa Buganda. Bya Nasser Kayanja #ffemmwemmweffe

Omulangira Golooba abadde mwegendereza nnyo – Dr. Nakibinge

Jjajja w’Obusiraamu Omulangira Dr. Kassim Nakibinge ayogedde ku Mulangira Golooba ng’omuntu abadde omwegendereza ennyo mu byonna by’akola ate mwesimbu ddala. Ategeezezza nti newankubadde ono yasiramuka ebbanga si ddene emabega, kyokka abadde afaayo nnyo okusoma n’okuyiga ebikwata ku ddiini busiraamu bwatyo amusabidde Allah amusaasire byonna ebyamusobako. Omulangira Nakibinge agamba nti omubuze atawanyiziddwa nnyo obulwadde, era yebazizza […]

Doreen Nyanjula ne Ingrid Turinawe bagaanye okuleetebwa mu Kkooti

Omumyuuka wa Loodi Meeya Doreen Nyanjura, Ingrid Turinawe n’abalala bagaanye okujja mu Kkooti olunaku olwaleero olwokuba abakulira amakomera babagaanye okwambala T-Shirt zaabwe zebagamba nti ziriko ebigambo byebyofuzi. Bya Christina Nabatanzi #ffemmwemmweffe

Eron Kiiza aleeteddwa mu Kkooti Enkulu

Omu ku Bannamateeka ba Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye, Eron Kiiza eyaggalirwa emyezi 9 olwokunyomoola Kkooti y’Amaggye aleeteddwa mu Kkooti Enkulu gyeyaddukira ngayagala emuyimbule okuva mu kkomera e Kitalya oluvannyuma lwa Kkooti Ensukulumu okuwa ensala yaayo kukuvunaanira abantu babulijjo mu Kkooti y’Amaggye. Bya Christina Nabatanzi #ffemmwemmweffe

Tumanyi wetulina okukoma, tetusobola kumenya mateeka – SG Rubongoya

Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya; “Teriiyo tteeka mu Uganda ligaana bawagizi ba NUP kukola paleedi. Tetwakola bikolwa byonna byakijjaasi; tumanyi wetulina okukoma mu mateeka nabwekityo tetusobola kumenya mateeka.” “No law in this country prohibits NUP supporters from holding a parade. We were not involved in any military activities; we understand the boundaries […]

Twasanze GPS Tracker mu motoka gyetwaleka ku Kitebe – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Technical Team yabadde yekeneenya offiisi zaffe okufuba okulaba nti bazuula byebayinza okuba nga batadde mu. Wadde nga kikyali kizibu okumanya ebyayonooneddwa, naye twasanze akuuma ka GPS Tracking kasangiddwa mu ttaala y’emu ku motoka zetwaleka ku kitebe. Ne mu Offiisi yange basanzeemu kkamera entono n’ekintu […]