Eyaliisa omwana obubi bamusibye emyaka 35

Abasomesa 2 basimbiddwa mwaka lwa kubba bigezo bya P7

Omulamuzi w’Eddaala erisooka owa Kkooti y’e Kira olunaku olwaleero asindise Abasomesa 2, Albert Pabeku ne Vincent Muheki mu kkomera ku bigambibwa nti bakirizza okusangibwa n’ebigezo by’ekibiina ekyomusanvu ebyomwaka 2024. Bano abawadde ekibonerezo kyakusibwa omwaka 1 n’emyezi 2 oba okusasula engasi ya bukadde 5. Bano babadde ba mmemba ku mukutu gwa WhatsApp ogwatuumiddwa “Final Cake 2024.” […]

Don Nasser aziddwayo e Luzira

Omuvubuka omwegyaasi w’omu Kampala amanyiddwa ennyo nga Don Nasser akomezeddwawo mu Kkooti enkya yaleero era oludda oluwaabi nerutegeeza nga bwerumaze okukola okunoonyereza ku musango gwokukusa abantu. Oludda oluwaabi lusabye ono asindikibwe mu Kkooti Enkulu atandike okuvunaanibwa nga 25-November terunayita. Ono aziddwayo ku alimanda ate ye munne nayimbulwa oluvannyuma lwokukirizibwa okweyimirirwa Kkooti ya International Crimes Division. […]

Kabushenga bamusudde ettale ku kifo kya ED KCCA

Robert Kabushenga avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X; “Ntegeezeddwa akakiiko akavunaanyizibwa ku kugaba emirimu gya Gavumenti nti situukiriza bisaanyizo bitandikirwako ku kifo kya Ssenkulu w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku Kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA. Sirina ddiguli yakubiri, nabwekityo sijja kulabikira ku lukalala lwabo abasunsuddwamu. Nsiima nnyo abo bonna abanjagaliza omulimu guno n’obuwagizi bwammwe.” […]

Ffe twawangudde dda, Trump yaliko mwemumanyi ne sanctions zammwe – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anitah Among yavuddeyo olunaku lw’eggulo najaganya olwobuwanguzi bwa Donald Trump ng’omukulembeze wa Amerika addako, nagamba nti obuwanguzi buno bukuggyawo ekkoligo eryamuteekebwako obukulembeze bwa Joe Biden. “Nga tukyateesa wano, kyetaaga tukubaganye ebirowoozo nga tusinziira ku nsonga so ssi byabufuzi. Era njagala okubakakasa, nti teri kutiisatiisa kugenda kungigula ttama. Njakusigala nakaseko ate kati engeri […]

Omubaka Paul Nsubuga ali mu kattu SACCO emubanja

Omubaka wa Palamenti akiikirira Busiro North mu Disitulikiti y’e Wakiso Paul Nsubuga ali mu kattu oluvannyuma lwa Bannakibiina kyobwegassi ekya Kakiri Naddangira Agaliawamu SACCO okuvaayo nebekubira enduulu nga bagamba nti ono yewola ensimbi obukadde 40 okuva mu SACCO yaabwe mu mwaka 2022 neyeyama okuzisasula mu myezi 6 wabula nga kati giweze emyaka 2 bweddu agaanyi […]

Kisaka, Luyimbazi ne Okello bayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti

Omulamuzi wa Kkooti y’e Kasangati akirizza abaali abakulu mu kitongole ekitwala ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA abagobwa okuli; Dorothy Kisaka, David Luyimbazi, ne Dr Daniel Okello okweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 5 ezobuliwo olwo bbo ababeyimiridde ku bukadde 100 ezitali zabuliwo. Balagiddwa okuwaayo ppaasipooti zaabwe mu Kkooti era nga […]

Poliisi ekutte omukazi eyalabikira mu katambi ngaliisa omwana empitambi

Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Masaka ekutte omukyala ategeerekeseeko erya Namawejje nga kigambibwa nti ono yeyabadde mu katambi akatambuzibwa ku mutimbagano nganywesa omwana wamulirwana we omusulo ssaako n’okumuliisa empitambi. Namawejje yegayiridde asonyiyibwe nga agamba nti naye tamanyi kyamutuuseeko. #ffemmwemmweffe

Bobi Wine eyuguumizza Kisoro

Abakulembeze ba National Unity Platform nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’Ekibiina Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bali mu Disitulikiti y’e Kisoro gyebagenze okunoonyeza akwatidde ekibiina bendera ku kifo ky’omubaka wa Palamenti Zubedi Sultana Salim (Tana) awandiisiddwa olwaleero. #ffemmwemmweffe #PeoplePowerOurPower

Bannakibiina kya FDC 34 abakwatibwa bayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti

International Crimes Division eya Kkooti Enkulu olunaku olwaleero ekirizza Bannakibiina kya Forum for Democratic Change 36 abekiwayi ky’e Katonda abakwatibwa mu Ggwanga lya Kenya nevunaanibwa omusango gwobutujju mu July. Bano nga kuliko Abasajja 34 bayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2 ezobuliwo n’okuwaayo ppaasipooti zaabwe ate ababeyimiridde bbo basabiddwa obukadde 50 ezitali zabuliwo. Bya […]