Palamenti egaanyi ekyokusonyiwa omusuubuzi Kananura Donati omusolo gwabangibwa

Besigye ne Hajji Lutale bavunaaniddwa gwakugezaako kulya mu Nsi yaabwe lukwe

DPP agudde ku Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye nomuyambi we Hajji Obeid Lutale Kamulegeya omusango gwokukya mu Nsi yaabwe olukwe nga kigambibwa nti wakati wa November 2023 ne November 2024 mu bifo ebyenjawulo okuli; Kampala, Nairobi Kenya , Geneva Switzerland ne Anthens mu Greece bakola olukwe lwokweyambisa eryanyi okuggyako Gavumenti eyolondebwa abantu mu mateeka. Okusinziira […]

Besigye aziddwayo ku alimanda okutuusa nga 7 March

Rtd Col. Dr. Kizza Besigye wamu n’omuyambi we Hajji Obeid Lutale Kamulegeya, basomeddwa omusango gw’okugezaako okulya mu Nsi olukwe mu Kkooti y’Omulamuzi w’e Nakawa. Omulamuzi Ester Nyadoi abasindise ku alimanda okutuusa nga 7 March. Ono tabikiriza kubaako kyeboogera ku musango kuba gulina kuwulirwa mu Kkooti nkulu yokka. Bya Christina Nabatanzi #ffemmwemmweffe

Abebyokwerinda bamenye nebayingira ekitebe kyaffe – NUP

Omwogezi w’Ekibiina kya National Unity Platform Joel Ssenyonyi avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda bwebagobye abakozi bonna ku Kitebe ku Kavule wamu ne ku ssomero e Kamwokya noluvannyuma nebamenya nebayingira. Ono ategeezeza nti bandiba nekigendererwa okyokuteekayo ebintu noluvannyuma babibasibeko. #ffemwemmweffe

Chairman Nyanzi bamusudde mu maka ge – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nti oluvannyuma lwenaki 4 abebyokwerinda babuzizzaawo ssaabakunzi wekibiina Nyanzi Ssentamu olwaleero bamuvuze okuva ku CMI nebamusuula mu maka ge. #ffemmwemmweffe

Pastor Sserwadda awagidde ekyokukwata abali mu bufumbo bwa kawundo kakubye eddinisa

Omusumba w’Abalokole Dr. Joseph Sserwadda owa Minister of Victory Christian Centre wamu ne Bammemba banne mu kibiina ekitaba enzikiriza bavuddeyo nebawagira ekiteeso kyokusiba bonna abanasangibwa mu bufumbo bwa kawundu kakubye eddinisa okumala emyaka 3 oba okuwa engasi yabukadde 10. Hoo Toofa ne Meega e Kyamuliibwa muwedde singa liyita!? #ffemmwemmweffe

Museveni ayagala kukyuusa mu Ssemateeka – Hon. Ssemujju

Omubaka akiikirira Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda; “Ekigendererwa kyabwe kuzzaawo Kkooti y’Amaggye etali mu mateeka. Baagala kukyuusa Ssemateeka ne UPDF Act. Baagala kuggyawo kawayiro ka ssemateeka ak’omuntu okuvunaanibwa n’obwenkanya wamu n’ebisaanyizo byabo abalina okukubiriza Kkooti zino. Ssemateeka takiriza Palamenti kukyuusa nsala ya Kkooti kyova olaba nti baagala kukozesa lukujjukujju. Omanyi Kkooti z’amaggye ziyamba Museveni okuyisaawo […]

Poliisi esazeeko offiisi za FDC e Ntungamo

Poliisi n’amaggye basazeeko offiisi za Forum for Democratic Change e Rukungiri nga kigambibwa nti Bannakibiina babadde bategese olukiiko okuteesa ku kyebazzaako ku kuggalirwa kwa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye omutandise w’ekibiina kyabwe era omwana waabwe. Besigye ne Hajji Obeid Lutale Kamulegeya bakyakuumirwa mu kkomera e Luzira olwa Gavumenti okulwawo okuteekesa mu nkola ensala ya Kkooti […]

Besigye alikomawo ngamaze okufuna obujanjabi – Omulamuzi Nankya

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Winnie Nankya agaanye ekyokulagira ekitongole ky’amakomera okuyimbula Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye kuba yayimbulwa ku kakalu ka Kkooti mu Kkooti eno nti ate Kkooti Ensukulumu yalagira abo bonna abavunaanibwa mu Kkooti y’Amaggye okulekerawo okuvunaanibwa batwalibwe mu Kkooti yabulijjo ekitanakolebwa. Wabula Omulamuzi ategeezezza Bannamateeka ba Besigye nti embeera y’obulamu gyalimu […]

Bammemba ba EMC ya NUP bayooleddwa e Mpigi

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nga Bammemba bwa Election Management Committee y’ekibiina 4 okuli; Mercy Walukamba, Rovans Alex Lwanyaga, Rahma Juma ne Kayabula Eddie bwebabuziddwawo olunaku lw’eggulo. Kyagulanyi agamba nti bano bawambiddwa ku mudumu gw’emmundu mu bitundu by’e Lungala mu Disitulikiti y’e MPigi bwebabadde bava okuziika e […]