Hon. Aber yetondedde UPDF olwokwambala ekyambalo era tumusonyiye – Brig. Kulayigye
Omwogezi w’eggye lya UPDF Brig. Gen. Felix Kulayigye avuddeyo ku ky’Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kitgum eyalabiddwa mu bifaananyi ngayambadde ekyambalo ky’amaggye; “Twakutte omusirikale eyamwazise ekyambalo Hon. Lillian Aber. Omubaka ono yetondedde UPDF, era netumusonyiwa. Ekyabawagizi ba National Unity Platform tebavangayo kutwetondera, nabwekityo twabalekera amateeka gabalamule.”
Omubaka Kagabo (NUP) yetabye mu nsisikano yakabondo ka NRM ne Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yayanirizza Omubaka Twaha Kagabo eyagasse ku National Resistance Movement – NRM ngava mu Kibiina kya National Unity Platform kyeyakwatira bendera okujja mu Palamenti. Kagabo olunaku lw’eggulo yeggase ku Kabondo ka Babaka NRM ababadde bagenze mu Palamenti okusisinkana Pulezidenti Museveni okwogerezeganya ku nsonga ezenjawulo bano nga bayitiddwa Nampala wa Gavumenti Hamson Obua
Mukole enguudo Bannamityana babawa omusolo mungi – Babaka
Abamu ku Babaka ba Palamenti abakiikirira Disitulikiti y’e Mityana nga Bannakibiina kya National Unity Platform okuli; Omubaka Omukyala owa Disitulikiti Hon. Hon. Joyce Bagala Ntwatwa, MP Zaake Francis Butebi – Mityana Municipality ne Hon. Kalwanga David Lukyamuzi owa Busujju County olunaku lw’eggulo balambudde enguudo mu Disitulikiti eno okulaba embeera mweziri bwebatyo nebavaayo nebategeeza nga bwebatagenda […]
Lumu okunyigirizibwa kwetuyitamu kujja kukoma – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Munaffe Muwanga Owen, Councilor wa LC3 akiikirira Nabaziza-Kyengera eyawambibwa mu Lubigi ku lwokutaano lwa wiiki ewedde n’okutuusa olwaleero talabikanga era nga luno lwe lunaku 8. Yawambibwa abasajja abaali batambulira mu motoka nnamba UAL119V nga babagalidde emmundu bweyali adda awaka ngava ku mukolo kwetwalagira Documentary […]
Big Eye abuuza omusolo ogusasulwa Bannayuganda gyegulaga
Big Eye StarBoss avuddeyo; “Eggwanga lituuse mu mbeera nti kati Eddwaliro omuntu alina kulibanja muntu ssekinoomu eyakeera neyekolera ssente ze, sso ssi Gavumenti gyetuwa emisolo! Emisolo gyetuwa giraga wa?”
Aba Allied Health Professionals’ Council bakoze ekikwekweto e Wakiso
Abakwasisa amateeka okuva mu Allied Health Professionals’ Council mu Disitulikiti y’e Wakiso bakoze ekikwekweto ku malwaliro agakola omulimu gwokujanjaba abantu nga tegalina layisinsi. Abasawo abawerako abatalina bisaanyizo bakwatiddwa mu kikwekweto kino.
Abafamire ya Cecilia Ogwal baleese muwala we okumuddira mu bigere
Abafamire y’omugenzi Cecilia Barbara Atim Ogwal baleese muwala we, Rosemary Alwoc Ogwal okudda mu bigere bye, ng’omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Dokolo wadde ono abadde awangaalira Bungereza naye bagamba nti asobola bulungi okutuukiriza ebiruubirirwa bya Maama we. Bano bagamba nti ono bamuyitiddemu dda ku bizibu by’ kitundu era mwetegefu okukolera abantu. Wabula era bategeezezza nti […]
UNRA epakuse okukuba oluguudo Pulezidenti lweyayogeddeko ebiraka – Ofwono Opondo
Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo avuudeyo ku mukutu gwa X; “Oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo neyemulugunya ku X ngayagala bamunyonyole lwaki oluguudo lwa Mukono-Kisoga-Nkokonjeru-Jinja olwatongozebwa mu 2016/17 lwonooneka ku sipiidi etagambika. Uganda National Roads Authority – UNRA edduse misinde okuziba ebinnya ku luguudo lwa kiromita 68.”
Kibedi Cox asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi asindise blogger Kibedi Ronald Cox 48, ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa ku lwokutaano lwa wiiki eno lwokukola vidiyo ngavuma Maama ko ne muwala we. Ono avunaaniddwa emisango okuli Cyber Harassment wamu n’okutyoboola ekitiibwa ky’omukyala. Kigambibwa nti okuva omwaka gwa 2021 okutuusa nga 18-January-2024 Kibedi lweyakwatiddwa, […]