Sibuli ssente eziweebwa State House ne Office of the President nti ziriibwa Pulezidenti Museveni – Minisita Musasizi
Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by’Ensimbi Henry Musasizi, avuddeyo nasambajja ebyayogeddwa Ababaka nti Pulezidenti alina abakozi 1,757 n’emotoka 666 nga bino byonna bisaasanyizibwako ssente z’omuwi w’omusolo mpitirivu. Ono agamba nti sibuli nsimbi eziweebwa State House Uganda ne offiisi ya Pulezidenti nti ziriibwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng’omuntu.
Omu ku bagambibwa okubba ssente okuva mu maka g’omuwanika wa NRM akwatiddwa
Uganda Police Force ekutte omuvuzi wa Booda Booda, Ivan Lukungu 25, ateeberezebwa okwenyigira mu bubbi bwa ssente eziwerera ddala obuwumbi 2 n’obukadde 200 nga zino zabbibwa mu maka g’omuwanika w’ekibiina kya National Resistance Movement – NRM, Barbara Nekesa Oundo e Muyenga mu December w’omwaka oguwedde ng’ennaku z’omwezi 15. Ono yasangiddwa mu kibuga ky’e Masaka nga […]
Emotoka y’omwami w’Essaza Busujju eyabiddwa ezuuliddwa
Emmotoka y’omwami wa Kabaka ow’Essaza Busujju, Kasujju Mark Jjingo Byekwaso Kaberenge II eyabbiddwa mu kiro ekikeesezza olwaleero, ezuuliddwa mu ggalagi emu e Nakuwadde-Bulenga. Esangiddwa ng’etimbuddwako number plate y’emabega, n’okusiimuulako obulambe bwayo.
Ebyentambula bitaataganyiziddwa ku luguudo lw’e Masaka – UNRA
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority – UNRA kitegeeza abagoba b’ebidduka abakozesa oluguudo lwa Kampala – Masaka nti okusobozesa omulimu gwokuzimba amasanganzira ga Mpigi Interchange, emotoka zonna ezigenda e Masaka, Mbarara n’okusukka wo zakukyamira ku ssundiro lya Total zidde ku nkulungo ya Ttawuni y’e Mpigi olwo ziddemu okweyunga ku luguudo […]
Waliwo eddwaliro erikyamanja obukadde 15 olw’okujanjaba Ssimbwa – Dr. Besigye
Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye avuddeyo ku Moses Ssimbwa; “Amazima gal nti Moses Ssimbwa mumanyi nnyo era ayise mu bingi ebitiisa! Nkikakasa bulungi awatali kwekuba ndobo nti Ssimbwa yali mulwanirizi wa ddembe Munnakibiina kya FDC e Jinja era yatuuka ku bingi olwokubeera kino. Bwaba nga yafuna akabenje akabulijjo lwaki […]
Abalaalo mudde ewammwe ogwomulembe gwokubungeeta ggwagwako – Hon. Muwanga Kivumbi
Ababaka ba Palamenti abava mu Buganda abegattira mu Buganda Parliamentary Caucus bavuddeyo nebasitula eddoboozi lyabwe ku balaalo abagobwa okuva mu mambuka ga Uganda abatandise okwesenza mu bitundu byamasekkati ebyenjawulo. Ssente waabwe Muhammad Muwanga Kivumbi avuddeyo nategeeza nti abalaalo bano basaanye bakimanye nti omuzze gwokutambuza ensolo mutala ku mutala byali bya dda, era bakimenya nti omuddo […]
URA ekutte ababadde bakukusa sigala
Omwogezi w’ekitongole ekivunaanyizibwa kukuwooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) Ibrahim Bbosa ategeezezza nti bakutte abantu 4 ku bigambibwa nti babadde bakukusa bbokisi za sigala 64 nga ono abalirirwamu obukadde 140 nga bano babakwatidde ku kyalo Ssenge, mu Muluka gw’e Naluvule mu Disitulikiti y’e Wakiso. Sigala ono yayingiziddwa mu Ggwanga nga bamuyisa mu […]
Minisitule y’ebyenguudo mwanukule ku luguudo lw’e Buikwe olwakakolebwa – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Oluguudo oluva ku lutindo okudda e Mukono ngoyise e Buikwe bakalumaliriza emyaka 2 egiyise naye lutandise okufuna ebinnya. Nabyerabiddeko bwenabadde ngenda e Jinja era njagala Minisitule gyekikwatako ennyinyole. Oluguudo twakalumaliriza!”
Abasirikale 9 baweereddwa emiddaali
Abasirikale ba Uganda Police Force 9 okuli neyaliko omumyuuka w’omuduumizi wa Poliisi DIGP Maj. Gen. Sabiiti Muzeyi baweereddwa emiddaali ku mukolo gwokujaguza amenunula ogwa #NRMAt38 ougabadde ku kisaawe kya Wakitaka COU mu Kibuga Jinja. Abasirikale bano baweereddwa omuddaali gwa Exemplary Service Order Second Class Medal era nga basiimiddwa olw’ebbanga lyebaweerezza mu Poliisi, okwewayo n’emirala nga […]