Aba Opposition bebatambulira mu Drone nga bawamba abantu – Moses Ssimbwa
Moses Ssimbwa avuddeyo neyetondera Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olwakyayise okukonjera Gavumenti ye nti abakuuma ddembe baamutulugunya kyokka nga yali akozesebwa ab’oludda Oluvuganya Gavumenti. Ssimbwa agamba bano baamulimbalimba nti bamutwala mu ddwaliro bamujjanjabe okugulu okumuluma nebamusuubiza ensi n’eggulu nga bamusaba agenda ku ttivi ez’enjawulo alumirize Gavumenti okumutulugunya ekintu naye kyeyakkiriza. Wabula ono agamba nti amaze emyaka […]
Aba Opposition banimbisa nti Gavumenti yantulugunya – Ssimbwa
Moses Ssimbwa avuddeyo nalumiriza aba Opposition okumulimbalimba nti bamutwala mu Ddwaliro e Nairobi okufuna obuyambi wamu n’okumusuubiza ebintu ebiwerako byebatamuwa. Ono agamba nti bwebamutuusa e Nairobi gyeyakizuulira nti baali bamututte mu lukungaana era nti nebamugamba ayogere nti yali atulugunyiziddwa Gavumenti. Wabula Munnamawulire Ronald Muhinda ku mukutu gwe ogwa X (Twitter) nga 27-November-2022 yavaayo okwanukula @Faruk […]
Abakozo abasoba mu 1000 bonna Pulezidenti bamukolera ki? – Hon. Ssemujju
Omubaka akiikirira Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Uganda; “Osobola okutumatiza lwaki Pulezidenti Museveni alina abakozi 761 mu Offiisi ye n’abakozi 996 mu maka ge? Omukulembeze waffe alina abakozi abakolera ewuwe nga basasulwa ssente ya muni wa musolo; Abalongoosa 51, Abafumbi 52, abalabirira ennimiro 80, abalabirira awaka 29, ba ddobi 10, abawandiisi abekyaama 106, abaweereza 14, abayambi […]
Pulezidenti Museveni atuuse e Jinja ku mikolo gyamenunula
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ngalambula enyiriri z’abasirikale ku mukolo gwokujaguza emyaka 38 egyamenunula. Emikolo emikulu giri ku kisaawe kya St. John’s SS Wakitaka mu Jinja North City Division.
Ebyokwerinda binywezeddwa ku kitebe kya NUP ku Kavule
Uganda Police Force eyiye basajja baayo okunyweza ebyokwerinda ku Kitebe kya National Unity Platform NUP e Makerere Kavule. NUP erina enteekateeka olunaku olwaleero okulaga Documentary Film, Bobi Wine: The People’s President. Bya Kamali James
Ogwa Besigye okukuma omuliro mu bantu gwongezeddwayo
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road olunaku olwaleero ayongeddeyo omusango oguvunaanibwa Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Rt. Col. Dr. Kizza Besigye ogwokukuma omuliro mu bantu oluvannyuma lwoludda oluwaabi okulemererwa okuleeta obujulizi. Besigye avunaanibwa okukuma omuliro mu bantu nga ayagala bekalakaase olw’okulinnya kw’ebbeeyi y’amafuta nga gino yajizza mwaka guwedde. Besigye abadde ayagala omusango guno gugobwe […]
Abayizi 88,269 bebagudde ebigezo bya PLE 2023
Executive Director wa Uganda National Examinations Board-UNEB Dan Odongo avuddeyo nategeeza nti Division U (Ungraded) ewaabwe omuyizi abeera alemereddwa okufuna obubonero obuyinza okumuweebwa Div4. Bano baba tebalina kuweebwa kifo mu S1. Agamba nti omwaka guno abayizi abafunye Division U guli waggulu nga bali 88,269 (10.4%) nga kino kisaanye kitunulwemu. #PLE2023
Minisita ettaka bakuguza mpewo – Kkooti Enkulu e Lira
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kibuga Lira Alex Mackay Ajiji eragidde Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Abakozi n’ekikuka ky’abantu, Betty Amongi okuva mu bunnambiro ku ttaka lyeyazimbako emu ku nnyumba ze oluvanyuma lwa Kkooti okukizuula nti ettaka lino bamuguza mpewo. Okusinziira ku Kkooti mukyala wa Okaka Minisita Amongi gwagamba okuggulako ettaka teyassa mukono ku ndagaano ekkiriza […]
Bannamateeka ba Molly Katanga baagala Poliisi ebawe ebisumuluzo byawaka
Bannamateeka ba Molly Katanga basabye Kkooti eragire abasirikale ba Uganda Police Force okuva mu maka gaabwe e Mbuya webasiisira okuva nga 2-November-2023. Wabula oludda oluwaabi luwakanyizza kino nerutegeeza nti bambega ba Poliisi balina bisumuluzo bya kisenge byokka ekya Molly Katanda. DPP era ategeezezza nti tewali musirikale wa Uganda Police Force yenna akuuma maka gano. Bannamateeka […]